Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 24, 2014.
Kiki Sitaani kye yaleetera Kaawa okumalirako ebirowoozo bye, era Kaawa okulya ku bibala ebyagaanibwa kyalaga ki? (Lub. 3:6) [Jan. 6, w11 5/15 lup. 16-17 kat. 5]
Kiki ekyayamba Abbeeri okuba n’okukkiriza okunywevu, era okukkiriza kwe kwamuganyula kutya? (Lub. 4:4, 5; Beb. 11:4) [Jan. 6, w13 1/1 lup. 12 kat. 3; lup. 14 kat. 4-5]
Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe baleme okwegomba abantu b’ensi ‘ab’amaanyi’ era ‘abaatiikirivu’? (Lub. 6:4) [Jan. 13, w13 4/1 lup. 13 kat. 2]
Biki bye tuyiga mu ebyo bye tusoma mu Olubereberye 19:14-17, ne 26, ebikwata ku Lutti ne mukazi we? [Jan. 27, w03 1/1 lup. 27 kat. 20]
Ibulayimu yalaga atya nti yali akkiririza mu kuzuukira ne mu kisuubizo kya Yakuwa nti ezzadde lye lyandivudde mu lunyiriri lwa Isaaka? (Lub. 22:1-18) [Feb. 3, w09-E 2/1 lup. 18 kat. 4]
Kiki kye tuyiga mu bunnabbi obuli mu Olubereberye 25:23, awagamba nti “omukulu anaaweerezanga omuto”? [Feb. 10, w03-E 10/15 lup. 29 kat. 2]
Makulu ki agali mu kirooto kya Yakobo ekikwata ku ‘madaala’? (Lub. 28:12, 13) [Feb. 10, w04 2/1 lup. 16 kat. 6]
Lwaki Labbaani yafuba nnyo okunoonya baterafi abaali babbiddwa? (Lub. 31:30-35) [Feb. 17, it-2-E lup. 186 kat. 2]
Kiki kye tuyigira ku ngeri malayika gye yaddamu Yakobo nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 32:29? [Feb. 24, w13 8/1 lup. 10]
Ekizibu Dina kye yafuna kyava ku ki, era kiki kye tuyigamu? (Lub. 34:1, 2) [Feb. 24, w01-E 8/1 lup. 20-21]