Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 3
WIIKI ETANDIKA MAAKI 3
Oluyimba 112 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 3 ¶19-21, akas. ku lup 34 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Olubereberye 36-39 (Ddak. 10)
Na. 1: Olubereberye 37:1-17 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Abanaazuukizibwa Tebajja Kuvunaanibwa Bibi Bye Baakola nga Tebannafa—rs-E lup. 338 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Okukozesa Ebifaananyi mu Kusinza Tekisanyusa Katonda—td 5A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Mugabe Magazini mu Maaki. Kukubaganya birowoozo. Sooka olage ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma, yogera ku nnyanjula zombi. Ng’ofundikira basabe boogere ku ngeri gye muyinza okugabamu magazini nga mugabirako akapapula akayita abantu ku Kijjukizo ku wiikendi ebbiri ezisembayo mu Maaki.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri gye baaganyulwamu bwe baakolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuwandiika Ebikwata ku Oyo Aba Asiimye Obubaka Bwaffe.” Basabe boogere ku birungi bye baafunamu.
Oluyimba 95 n’Okusaba