Oluyimba 95
“Mulege Mutegeere nga Yakuwa Mulungi”
Printed Edition
(Zabbuli 34:8, NW)
1. Enkizo y’okubuulira,
Yamuwendo nnyo gye tuli.
Ebiseera byaffe tubiwaayo,
Tutuuke ku bantu bangi.
(CHORUS)
Ka ‘tulegeko tutegeere
Nga Yakuwa mulungi.’
Bwe twemalira ku Katonda,
Tuganyulwa nnyo nnyini.
2. Emikisa mingi ddala
Egiri mu buweereza.
Bwe tumwesiga Katonda waffe,
Tuba bamativu ddala.
(CHORUS)
Ka ‘tulegeko tutegeere
Nga Yakuwa mulungi.’
Bwe twemalira ku Katonda,
Tuganyulwa nnyo nnyini.
(Era laba Mak. 14:8; Luk. 21:2; 1 Tim. 1:12; 6:6.)