Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuwandiika Ebikwata ku Oyo Aba Asiimye Obubaka Bwaffe
“Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.” (1 Tim. 4:16) Ebigambo ebyo omutume Pawulo bye yawandiikira Timoseewo biraga nti ka tube nga tuli babuulizi bapya oba nga tulina obumanyirivu, tusaanidde okweyongera okukulaakulana. Ekinaatuyamba okweyongera okukulaakulana kye kitundu ekipya ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe,” ekijja okufulumiranga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Buli mwezi, tujja kukubaganyanga ebirowoozo ku kimu ku bintu ebisobola okutuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. Tukubirizibwa okukissa mu nkola mu mwezi ogwo gwonna. Omwezi bwe gunaabanga guweddeko, tujja kubanga n’ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza eky’okukubaganya ebirowoozo ku birungi ebinaabanga bivuddemu. Omwezi guno, tukubirizibwa okuwandiika ebikwata ku oyo aba asiimye obubaka bwaffe.
Lwaki Kikulu?: Okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe, tetulina kukoma bukomi ku kubuulira mawulire malungi, naye era tulina okufukirira ensigo ez’amazima ze tuba twasimba. Ekyo kitegeeza nti tulina okuddayo eri abo abaasiima obubaka bwaffe ne tweyongera okubayigiriza. (Mat. 28:19, 20; 1 Kol. 3:6-9) N’olwekyo, omuntu bw’asiima obubaka bwaffe, kiba kikulu nnyo okuwandiika ebimukwatako.
Gezaako Kino:
Bw’oba olina by’owandiika ebikwata ku muntu gwe mubuulidde, tegeezaako oyo gw’okoze naye by’owandiika.