Kakasa Nti Oddayo!
1 “Ng’ebadde mboozi nnungi! Nnina okuddayo.” Wali oyogeddeko ebigambo ng’ebyo, kyokka oluvannyuma ne weerabira omuntu oyo gy’abeera? Bwe kiba bwe kityo, omanyi nti engeri yokka gy’oyinza okukakasaamu nti oddayo kwe kubaako w’owandiika.
2 Byonna Biwandiike: Ng’okyajjukira bulungi bye mwogeddeko n’omuntu ayagala okuyiga, wandiika byonna ebyetaagisa ebikwata ku kukyala okwo. Wandiika erinnya ly’omuntu oyo n’ebinaakuyamba okumujjukira. Wandiika endagiriro ye, naye togiteebereza buteebereza—kakasa nti by’owandiika bituufu. Wandiika kye mwogeddeko, ebyawandiikibwa byonna by’osomye, era n’ebitabo by’omulekedde.
3 Bwe kiba nti omuntu omulekedde ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeeyo, kiwandiike. Olina ky’otegedde ku muntu oyo, ku maka ge, oba ku ddiini ye? Bwe kiba bwe kityo, nakyo kiwandiike. Kati olwo, bw’onoddayo, n’okyogerako kijja kulaga omuntu oyo nti omufaako. Mu nkomerero, wandiika essaawa n’olunaku lw’ogenzeeyo era ne lw’onoddayo. Bw’obaako by’owandiika ebiganyula, ojja kuba n’ebinaakujjukiza era tekijja kuba kyangu okwerabira okuddayo nga bwe wasuubiza.—1Tim. 1: 12.
4 Ng’omaze okubiwandiika, biteeke wamu n’ebintu ebirala by’okozesa mu buweereza bw’omu nnimiro—ensawo y’ebitabo, Baibuli, akatabo Reasoning, n’ebitabo ebirala—osobole okuba nabyo buli kiseera. Kiba kirungi okuwandiika amaka mw’otasanze bantu ku lupapula olwawufu ku olwo lw’owandiikako b’onoddiŋŋana. Kya lwatu, k’obeere ng’owandiise bulungi otya ebikwata ku b’okuddiŋŋana, ekisinga obukulu kwe kukakasa nti oddayo!
5 Lowooza ku Muntu Oyo: Nga weeteekerateekera obuweereza, yitaayita mu bye wawandiika ku bantu ab’okuddiŋŋana. Lowooza ku buli muntu kinnoomu era n’engeri ennungi gy’oyinza okumutuukiriramu ng’ozzeeyo. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okwagazisaamu omuntu oyo okuyiga Baibuli mu maka ge. Okuteekateeka ng’okwo kujja kukusobozesa okufuna ebibala ebisingawo ng’omubuulizi w’amawulire amalungi, era, kijja kukuleetera essanyu.—Nge. 21:5a.
6 N’olwekyo, lw’onoddako okusanga omuntu ayagala okuwuliriza, togamba bugambi nti ojja kujjukira okuddayo. Mu kifo ky’ekyo, baako w’owandiika, yitaayita mu by’owandiise, lowooza ku muntu oyo, ate era kakasa nti oddayo!