Yamba Abo ‘Abaagala’
1. Baani Yakuwa b’akuŋŋaanya mu kiseera kyaffe?
1 Buli muntu alina ky’ayagala mu mutima gwe ogw’akabonero. (Mat. 12:35) Baibuli eyogera ku abo ‘abaagala okulwana.’ (Zab. 55:21) Abalala bo ‘ba kiruyi.’ (Nge. 29:22) Naye ate eriyo n’abo abaagala ‘obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48) Mu kiseera kyaffe, Yakuwa akuŋŋaanya abali ng’abo. (Kag. 2:7) Tuyinza tutya okubayamba okufuuka abasinza ba Yakuwa?
2. Kiki ekizingirwa mu kutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa?
2 Ddayo ng’Olina Ekigendererwa: Kikulu nnyo okumanya obukulu bw’okuddayo eri abantu abaagala okumanya ebisingawo bwe tuba ab’okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Twanguwa okuddayo eri abalinga abo be tusanga? Tuddayo eri buli omu akkirizza ebitabo byaffe oba eri buli alaga nti asiimye amawulire amalungi? Tufuba okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo? Okuva obulamu bwabwe bwe bukwatibwako, twandifubye okuddayo eri buli ayoleka okusiima.
3. Kiki kye twandikoze oluvannyuma lw’okwogera n’omuntu mu buweereza?
3 Ng’okyajjukira bulungi kye mwogeddeko n’omuntu, wandiika ensonga gye mwogeddeko, ebyawandiikibwa bye musomye, n’akatabo k’omulekedde. Era wandiika erinnya lye n’endagiriro. Oluvannyuma, kola enteekateeka okumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka.
4. Tuyinza tutya okukola okuddiŋŋana okulungi?
4 Engeri y’Okukolamu Okuddiŋŋana: Bw’oddayo eri omuntu, kiba kirungi okwogera mu ngeri ey’ebbugumu era ey’omukwano era n’omulaga nti omufaako. Yogera ku bintu ebyangu okutegeera ate nga byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Mwogere ku nsonga esikiriza eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, era ng’ofundikira lekawo ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeeyo. Kiba kirungi okwewala okukaayana ku nsonga eziteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa nnyinimu z’ayinza okuleetawo. Fuba okuzimbira ku bintu bye mukkiriziganyako mwenna.—Bak. 4:6.
5. Kiruubirirwa ki payoniya omu kye yateekawo, era biki ebyavaamu?
5 Okuddayo eri abo abaalaga okusiima kyetaagisa okufuba kwa maanyi, naye emiganyulo egirimu ntoko. Payoniya omu mu Japan yeeteekerawo ekiruubirirwa eky’okuddira abantu bangi buli mwezi. Yatandika okuwandiika amannya g’abo be yasanganga ng’abuulira nnyumba ku nnyumba, era mu nnaku musanvu zokka n’abaddira. Yategeka bulungi nnyo by’anaayogera ng’azzeeyo era n’atuukiriza ekigendererwa kye olw’okuba yali yeekakasa ebyo bye yali ayogera. Ku lukyala lwe olumu, yasobola okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli eyagamba: “Mbaddenga mbagoba. Guno gwe mulundi gwe nsoose okuwuliriza.” Obugumiikiriza bwa Payoniya ono bwavaamu emiganyulo mingi. Ku nkomerero y’omwezi gumu yasobola okuwaayo lipoota eriko abayizi ba Baibuli kkumi.
6. Lwaki twandinyiikiridde okuddayo eri abantu?
6 Embeera z’abantu zikyukakyuka enkya n’eggulo. (1 Kol. 7:31) Okusobola okusanga omuntu eyalaga okusiima awaka we kiyinza okwetaagisa okuddayo emirundi egiwera. Singa tuddayo nga tulina ekigendererwa, tusobola okuyamba abo abaagala okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.—Mat. 7:13, 14.