Okuddiŋŋana Kuviirako Okufuna Abayizi ba Baibuli
1. Lwaki okuddiŋŋana mulimu mukulu nnyo?
1 Yesu teyasindika bagoberezi be kubuulira kyokka naye era ‘n’okufuula abayigirizwa nga babayigiriza.’ (Mat. 28:19, 20) Omubuulizi alangirira obubaka naye omusomesa akola ekisingawo. Ayigiriza, annyonnyola, era n’awa n’obukakafu. Engeri emu gye tuyigirizaamu abalala kwe kuddiŋŋana abo abaagala okumanya ebisingawo nga tulina ekigendererwa eky’okutandika okuyiga nabo Baibuli.
2. Baani be twandiddiŋŋanye?
2 Ani gwe wandiddiŋŋanye? Fuba okuddayo eri abo bonna abatwala ebitabo oba n’abo abasiima ekitono amawulire amalungi. Bw’osanga abasiima amazima mu bifo ebya lukale, gezaako okufuna endagiriro oba essimu yaabwe osobole okulaakulanya okusiima kwabwe. Beera mukakafu nti ojja kufuna b’oyigiriza Baibuli. Weeyongere okunoonya abo abanakkiriza okuyiga Baibuli, era ojja kubafuna.—Mat. 10:11.
3, 4. Biki ekizingirwa mu kuddiŋŋana okulungi?
3 Faayo ku Balala: Okweteekerateekera okudiŋŋana okw’omuganyulo, kitandikirawo ku kukyala okusooka. Ababuulizi abatuuka ku buwanguzi beetegereza ebyo ebisikiriza oyo gwe basanze mu maka, era okwo kwe basinziira okweyongera okubaganya ebirowoozo. Abamu bakisanga nga kya muganyulo okubuuza ekibuuzo ku nkomerero y’okukyala kwabwe okusobola okumuleetera okwesunga omulundi ogunaddako. Okufaayo ku bantu kituyamba okusigala nga tubalowoozaako wadde nga tumaze okubakyalira, era kino kitukubiriza okuddayo mu bwangu. Bwe kiba kisoboka, gezaako okuddayo nga okwagala tekunawola—oboolyawo mu lunaku lumu oba bbiri.
4 Bw’oddayo, gezaako okuzimbira ku ebyo bye mwakubaganyako ebirowoozo omulundi ogwasembayo. Kifuule kiruubirirwa kyo waakiri okusomayo Ekyawandiikibwa kimu ekizimba, era beera mwetegefu okuwuliriza. Weeyongere okumanya oyo gw’oddiŋŋana ekisingawo. Bw’oddayo, yogera ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda ebimukwatako obutereevu.
5. Ngeri ki ennyangu eyinza okukozesebwa okutandika abayizi ba Baibuli?
5 Kozesa Buli Kakisa Okufuna Omuyizi wa Baibuli: Ddamu okukyala abantu ng’olina ekigendererwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Kino kiyinza kukolebwa kitya? Mutegeeze nti wandyagadde okunyumyako naye ku nsonga emu, era bikkula akatundu k’olowooza nti kanaamusikiriza mu katabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa. Mukasome, mwekenneenye ekibuuzo, era mukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba bibiri ebijuliziddwa. Kino kiyinza okukolebwa butereevu ku mulyango mu ddakiika nga ttaano oba kkumi bwe kiba nga kyetaagisa. Fundikira ng’obuuza ekibuuzo ekiddako era mukole entegeka okweyongera okukubaganya ebiroowozo omulundi omulala.
6. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obukulu bw’okuddiŋŋana?
6 Okuddayo eri buli alaze okusiima kikulu nnyo mu buweereza bwaffe. N’olwekyo, kola enteekateeka buli wiiki okuddiŋŋana abantu. Okukola kino kijja kuleetera obuweereza bwo okwongera okuba n’amakulu era kikuleetere n’essanyu erya nnamaddala.