Okweteekateeka—Kutusobozesa Okuddiŋŋana Obulungi Abantu
1. Mu ngeri ki omulimu gw’okubuulira ogwakolebwa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye gwandigaziyeemu?
1 Yesu yateekateeka bulungi abayigirizwa be basole okubeera ababuulizi abalungi ‘ab’amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Mat. 4:23; 9:35) Yabatendekera mu Palesitayini mwokka. Kyokka, bwe yali nga tannagenda mu ggulu, Yesu yakiraga bulungi nti obuweereza obw’Ekikristaayo bwandibadde bubuna mu nsi yonna kisobozese ‘abantu ab’amawanga gonna okufuuka abayigirizwa.’—Mat. 28:19, 20.
2. Kiki ekizingirwa mu kugondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa’?
2 Omulimu ogwo gwandizingiddemu okuddayo eri abantu abaasiima amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda era n’okubayigiriza okukwata byonna Kristo bye yalagira. Okusobola okuddiŋŋana obulungi abantu, kitwetaagisa okweteekateeka obulungi.
3. Kiki ky’oyinza okukola, ne ku mulundi ogusooka, okusobola okuddira omuntu?
3 Teekateeka nga Bukyali: Ababuulizi abamu babuuza nnyinimu ekibuuzo ku nkomerero y’olukyala olusooka era ne bamusuubiza okukiddamu ku mulundi omulala nga bazzeeyo. Bakizuudde nti bwe bakozesa ebyo ebiri mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza nga bazzeeyo eri oyo eyalaga okusiima, kibayambye okutandika okuyiga naye Baibuli.
4. Lwaki tetwandirinze okutuusa nga tufunye magazini empya ne tulyoka tuddayo eri omuntu?
4 Eky’okuba nti omuntu tumuwa magazini biri zokka buli mwezi tekitegeeza nti tulina kulinda okutuusa lwe tufuna ez’omwezi omulala ne tulyoka tumuddira. Tuyinza okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo nga tukozesa ebyo ebiri mu magazini ze twamulekera.
5. Muganyulo ki oguli mu kuba n’ekiruubirirwa ng’oddayo eri omuntu?
5 Beera n’Ekiruubirirwa: Nga tonnaddayo eri omuntu, funayo akadde wejjukanye ebyo bye wawandiika era osalewo ekyo ky’oyagala okutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, oyinza okwogera ku ebyo ebiri mu katabo oba mu magazini gye wamulekera. Oba oyinza okumuwa akatabo akalala akoogera ku nsonga gye mwakubaganyako ebirowoozo ku mulundi ogwayita. Bw’oba olina ekibuuzo kye wamulekera ku mulundi ogwayita, awatali kubuusabuusa, ojja kuba n’ekiruubirirwa eky’okuddamu ekibuuzo ekyo. Bwe kiba kisoboka, soma butereevu mu Baibuli ekyawandiikibwa ekiggumiza ensonga gy’oyogerako.
6. Ekiruubirirwa kyaffe mu kuddiŋŋana abantu kye kiruwa?
6 Ekiruubirirwa Kyaffe: Kya lwatu, ekiruubirirwa kyaffe kwe kutandika okusoma Baibuli n’omuntu oyo. Ow’oluganda omu alina omusajja gwe yali ayagala okutandika okuyigiriza Baibuli ku mulundi gwe yali azzeeyo okumukyalira, kyokka omusajja oyo n’agaana. Ow’oluganda yaddayo eri omwami oyo ng’amutwalidde magazini ezaali zaakafuluma era n’amugamba nti, “Leero waliwo ekibuuzo ekyesigamiziddwa ku Baibuli kye tukubaganyaako ebirowoozo n’abantu mu kitundu kino.” Ng’omusajja oyo amaze okubaako ky’addamu, ow’oluganda yamusomera ekyawandiikibwa awamu n’ekitundu ekituukirawo okuva mu katabo akakozesebwa okuyigiriza abantu Baibuli. Ekyo kyaviirako omusajja oyo okutandika okuyiga Baibuli obutayosa.
7. Okweteekateeka obulungi kikuyambye kitya okufuna abayizi ba Baibuli?
7 Kya muganyulo nnyo okweteekateeka nga tugenda okuddiŋŋana abantu. Kijja kutuyamba okweyongera okuba abasanyufu, era tuyinza n’okufuna enkizo ey’okuyamba “abalina endowooza ennuŋŋamu” okutambulira mu kkubo erinaabatuusa mu bulamu.—Bik. 13:48, NW.