Ddi Lwe Twandizzeeyo eri Abo Abaalaga Okusiima?
1. Kiki ekizingirwa mu kufuula abantu abayigirizwa?
1 Okufuula abantu abayigirizwa kizingiramu okuddayo eri buli muntu aba alaze nti ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku nteekateeka y’Obwakabaka bwa Yakuwa. (Mat. 28:19, 20) Ekiseera ekisingayo obulungi eky’okuddayo eri abo ababa balaze okusiima kisinziira ku nteekateeka zaffe n’ezaabwe. Lwaki twandizzeeyo mangu eri oyo aba alaze okusiima?
2, 3. Lwaki twandifubye okuddira abantu amangu ddala nga bwe kisoboka?
2 Lwaki Twandizzeeyo Mangu? Omulimu gw’okubuulira “amawulire gano amalungi ag’obwakabaka” gunaatera okukoma, era n’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno eri kumpi okutuuka. (Mat. 24:14; 1 Peet. 4:7) N’olwekyo, ‘ng’olunaku olw’obulokozi’ lukyaliwo eri abo abalaga okusiima, tulina okugoberera okubuulirira okukwata ku ‘kubuulira n’obunyiikivu,’ era nga kino kizingiramu okubaddira amangu ddala nga bwe kisoboka okubayamba okumanya ebisingawo.—2 Kol. 6:1, 2; 2 Tim. 4:2.
3 Sitaani mwetegefu okusaanyaawo ensigo y’Obwakabaka gye tuba tusize mu mutima gw’omuntu ayagala okumanya amazima. (Mak. 4:14, 15) Abo ababa balaze okusiima batera okusekererwa ab’omu maka gaabwe, bakozi bannaabwe, n’abantu abalala. Okuddayo amangu eri abantu abo kitusobozesa okuzimbira ku ebyo bye twakubaganyaako nabo ebirowoozo ku mulundi ogwasooka ng’abalala tebannabamalamu maanyi.
4. Kiki kye tuyinza okukola lwe tuba tusoose okukyalira omuntu ekinaatusobozesa okumuddira?
4 Mulagaane Ekiseera: Ku mulundi ogusooka, kiba kirungi okulagaana n’omuntu ekiseera lw’onoddayo okumukyalira. Mubuuze ekibuuzo ky’onooddamu ng’ozzeeyo. Kiba kirungi okuwandiika bye mwogeddeko n’ekiseera kye mulagaanye. Bwe kiba kisoboka, oyinza okumubuuza obanga yandyagadde okomewo enkeera oba nga wayiseewo ekiseera kitono. Bwe kiba nti olunaku lw’osoose okumukyalira lwa wiikendi era nga ku wiikendi takola, oboolyawo ayinza okukkiriza okomewo ku wiikendi eddako. Bw’olagaana n’omuntu, kakasa nti oddayo.—Mat. 5:37.
5. Okuddayo amangu kinaatuyamba kitya okutuukiriza omulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa?
5 Tulina ensonga ennungi ezitukubiriza okuddayo amangu ddala nga bwe kisoboka eri abo ababa baagala okumanya ebisingawo. N’olwekyo, lagaana nabo ekiseera era obaddire mangu, kubanga “ekiseera ekisigaddeyo kitono.” (1 Kol. 7:29) Singa tuddayo mangu eri abo abalaga okusiima, kijja kusobozesa obuweereza bwaffe okuvaamu ebibala ebirungi.