Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
Lwaki Kikulu: Omuntu bw’asiima obubaka bwaffe, tuba twagala okuddayo tufukirire ensigo ey’amazima gye tuba tusimbye. (1 Kol. 3:6) Nga tetunnavaawo tuba twetaaga okumubuuza olunaku lwe tunaamusanga awaka. Okugatta ku ekyo, kiba kirungi ne tulekawo ekibuuzo kye tunaddamu nga tuzzeeyo okumukyalira. Ekyo kijja kumuleetera okwesunga olunaku lwe tunaddayo, era ekibuuzo ekyo bwe kiba kiddibwamu mu kitabo kye tumulekedde, ajja kwagala okukisoma. Bwe tulekawo kye tunaayogerako omulundi omulala kiba kyangu okuddayo kubanga tuba tumanyi kye tugenda okwogerako, era naye aba atusuubira. Bwe tuba tuzzeeyo tuyinza okutandika nga tumugamba nti, “Tukomyewo okuddamu ekibuuzo kye twakulekera.”
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Bw’oba otegeka ennyanjula gy’onookozesa, tegeka n’ekibuuzo ky’onoolekera omuntu. Oyo gw’onooba obuulidde naye mubuulireko ekibuuzo ekyo.