LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Jjanwali lup. 6
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Lekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Lekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI KIKULU:
  • ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okudiŋŋaana
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ddi Lwe Twandizzeeyo eri Abo Abaalaga Okusiima?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Okweteekateeka—Kutusobozesa Okuddiŋŋana Obulungi Abantu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Jjanwali lup. 6

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Lekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo

LWAKI KIKULU:

Twagala okufukirira ensigo ez’amazima ze tusiga. (1Ko 3:6) Omuntu bw’asiima obubaka bwaffe, kiba kirungi n’olekawo ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo. Ekyo kijja kumuleetera okwesunga, era naawe kijja kukwanguyira okuddayo. Bw’oddayo, omugamba bugambi nti nkomyewo okuddamu ekibuuzo kye nnakulekera.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

Omubuulizi ateekateeka okuddira omuntu, ayogera n’omuntu oyo, era abaako by’awandiika
  • Bw’oba otegeka ennyanjula gy’onookozesa ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, tegeka n’ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo. Ekibuuzo ekyo kiyinza okuba nga kiddibwamu mu katabo k’ogenda okumuwa, oba mu kimu ku bitabo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli ky’onoomuwa ng’ozzeeyo.

  • Bw’oba omaze okwogera n’omuntu asiimye obubaka bwaffe, mutegeeze nti wandyagadde okukubaganya naye ebirowoozo omulundi omulala era olekewo ekibuuzo kye wateeseteese. Bwe kiba kisoboka, musabe akubuulire engeri gye musobola okuddamu okusisinkana.

  • Bw’omubuulira ekiseera ky’ojja okuddirayo, fuba okukituukiriza.​—Mat 5:37.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share