Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 11: Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okuddayo eri Abaalaga Okusiima
1 Omuyizi wa Baibuli bw’atandika okubuulira, ajja kusanga abantu abaagala okuwuliriza amawulire amalungi. Tuyinza tutya okumuyamba n’asobola okuddayo eri abo abalaze okusiima n’okubayamba okukulaakulana?
2 Omulundi gwe tusooka okubuulira omuntu, gwe tulina okukolerako enteekateeka ez’okuddayo. Kubiriza omubuulizi omuppya okufaayo ku abo b’ayogera nabo. (Baf. 2:4) Mutendeke engeri gy’ayinza okumanyamu endowooza y’abo b’abuulira, okubawuliriza, n’okumanya ebintu ebibeeraliikiriza. Omuntu bw’aba alaze okusiima, gamba omubuulizi omuppya awandiike ebintu ebiyinza okumuyamba ng’azzeeyo. Kozesa by’awandiise okumuyamba okuteekateeka by’anaayogera nga muzzeeyo.
3 Nga Muteekateeka Okuddayo: Mwejjukanye bye yawandiika era omulage engeri gy’ayinza okulondamu ekintu ky’anaayogerako ekinaasikiriza nnyinimu. (1 Kol. 9:19-23) Muteeketeeke mwembi ennyanjula eri mu bufunze ng’erimu okusoma ekyawandiikibwa kimu n’akatundu kamu mu katabo ke mukozesa okuyiga. Ate era, mutegekeyo ekibuuzo kye munaaleka bwe munaaba nga mufundikira era nga kye mujja okuddamu nga muzzeeyo. Mulage engeri gy’ayinza okuyigirizaamu omuntu ekintu ekippya okuva mu Baibuli buli lw’aba azzeeyo okumukyalira.
4 Ate era kiba kirungi okuyigiriza omubuulizi omuppya ennyanjula ennyangu. Ng’amaze okubuuza nnyinimu, ayinza okugamba: “Nnannyumirwa nnyo lwe nnannyumya naawe ku mulundi guli era nkomyewo tweyongere okukubaganya ebirowoozo ku biri mu Baibuli [yogera omutwe].” Era oyinza okumuyigiriza ky’ayinza okwogera singa awaka asangawo muntu mulala.
5 Nnyiikira Okuddayo eri Abo Abaalaga Okusiima: Kubiriza omuyizi okussaawo ekyokulabirako ekirungi ng’addayo mangu eri abo bonna abaalaga okusiima. Okusobola okusanga abantu awaka kiyinza okwetaagisa okuddangayo enfunda n’enfunda. Muyigirize engeri gy’ayinza okukolamu enteekateeka okuddayo okukyalira omuntu era omuyambe okutegeera nti kikulu nnyo okuddayo nga bw’aba asuubizza. (Mat. 5:37) Muyigirize okuba ow’ekisa, okufaayo, era n’okuwa abalala ekitiibwa ng’anoonya abo abali ng’endiga era ng’abayamba okukulaakulana.—Tito 3:2.