Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 10: Okutendeka Abayizi ba Baibuli Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba
1 Abakadde bwe balaba ng’omuyizi wa Baibuli atuukiriza ebisaanyizo by’okubeera omubuulizi atali mubatize, ayinza okutandika okubuulira awamu n’ekibiina. (Laba Organized to Do Jehovah’s Will, lup. 79-81.) Tuyinza tutya okuyamba omuyizi ng’oyo okubuulira nnyumba ku nnyumba?
2 Tegekera Wamu Naye: Kikulu nnyo okweteekateeka obulungi. Laga omuyizi ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ne mu katabo Reasoning, z’ayinza okukozesa ng’abuulira abantu, era muyambe okulondako ennyanjula ennyangu, etuukagana n’abantu b’omu kitundu kye mubuuliramu. Okuviira ddala ku ntandikwa, mukubirize okukozesa Baibuli ng’ali mu buweereza.—2 Tim. 4:2.
3 Kiba kya muganyulo omubuulizi omuppya okusooka okwegezaamu ennyanjula gy’agenda okukozesa. Bw’aba yeegezaamu, mulage engeri gy’ayinza okuddamu ebibuuzo ebitera okubuuzibwa mu kitundu kye mubuuliramu. (Bak. 4:6) Mutegeeze nti ababuulizi tekibeetagisa kumanya buli kya kuddamu mu bibuuzo ebibuuzibwa abantu be tusanga. Ebiseera ebisinga kiba kirungi okutegeeza oyo aba akubuuzizza ekibuuzo nti ojja kusooka kunoonyereza olyoke oddeyo okuddamu ekibuuzo kye.—Nge. 15:28.
4 Mubuulirire Wamu: Omuyizi bw’agenda naawe okubuulira nnyumba ku nnyumba ku mulundi gwe ogusooka, gwe oba osooka okubuulira ng’okozesa ennyanjula gye wategese naye, alabe engeri y’okugikozesaamu. Oluvannyuma muleke naye abeeko ky’ayogera. Emirundi egimu kiba kirungi n’asooka kusoma busomi kyawandiikibwa n’okukinnyonnyola. Olina okulowooza ku busobozi bw’omuyizi n’engeri ze ng’omuyamba okubuulira. (Baf. 4:5) Bw’oba omutendeka mu kubuulira, mwebaze olw’okufuba kwe.
5 Kikulu nnyo okuyamba omubuulizi omuppya okuba n’enteekateeka ey’okubuulira buli wiiki bwe kiba nga kisoboka. (Baf. 3:16) Kola enteekateeka ennungi ey’okubuulira naye buli wiiki era omukubirize okubuulira n’abantu abalala abanyiikivu. Ekyokulabirako kyabwe kijja kumuyamba okufuna obumanyirivu n’essanyu mu kubuulira nnyumba ku nnyumba.