Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutendeka Ababuulizi Abapya
Lwaki Kikulu: Abayigirizwa ba Yesu abapya bateekwa okukola “ebintu byonna” bye yatulagira, nga muzingiramu okuyigiriza abantu abalala amazima. (Mat. 28:19, 20) Abayizi ba Bayibuli bangi baayingira dda Essomero ly’Omulimu gwa Katonda era bayinza okuba nga babuulirako ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe ku ebyo bye bayiga. Bwe beeyongera okusiima ebyo bye bayiga ne bakitegeera nti Yakuwa ayagala abantu bonna bawulire amawulire amalungi, bayinza okusaba okufuuka ababuulizi. (Bar. 10:13, 14) Abayizi abo bwe batuukiriza ebisaanyizo ne bafuuka ababuulizi abatali babatize, baba beetaaga okutendekebwa obulungi basobole okufuna obuvumu okubuulira n’obunyiikivu era ekyo kibayamba okukulaakulana mu by’omwoyo.—Lukka 6:40.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Buulirako wamu n’omuyizi wo nnyumba ku nnyumba, era genda naye ng’ogenda okuddira omuntu oba okuyigiriza omuyizi wa Bayibuli. Bw’oba tolina muyizi wa Bayibuli akulaakulana, kozesa amagezi ago okuyamba omubuulizi yenna atalina bumanyirivu.