LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 8 lup. 71-86
  • Ababuulizi b’Amawulire Amalungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ababuulizi b’Amawulire Amalungi
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABABUULIZI ABAPYA
  • EBISAANYIZO BY’OKUFUUKA OMUBUULIZI
  • OKUYAMBA ABAANA ABATO OKUFUUKA ABABUULIZI
  • OKWEWAAYO N’OKUBATIZIBWA
  • LIPOOTA EZIKWATA KU EBYO EBITUUKIDDWAKO MU BUWEEREZA
  • LIPOOTA YO EY’OBUWEEREZA
  • KAADI Y’OMUBUULIZI
  • LWAKI TUWAAYO LIPOOTA Z’OBUWEEREZA?
  • OKWETEERAWO EBIRUUBIRIRWA
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Apuli—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Yamba Abayizi Bo Okufuuka Ababuulizi b’Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 8 lup. 71-86

ESSUULA 8

Ababuulizi b’Amawulire Amalungi

YAKUWA yatuwa ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okugoberera​—Omwana we, Yesu Kristo. (1 Peet. 2:21) Omuntu bw’afuuka omugoberezi wa Yesu, atandika okubuulira amawulire amalungi era abeera muweereza wa Katonda. Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:28, 29) Ebigambo ebyo bituukiridde eri abo bonna ababikolerako!

2 Yesu ye muweereza wa Katonda asingayo, era waliwo abantu be yayita okuba abagoberezi be. (Mat. 9:9; Yok. 1:43) Yabatendeka era n’abatuma bagende bakole omulimu gw’okubuulira gwe yali akola. (Mat. 10:1–11:1; 20:28; Luk. 4:43) Oluvannyuma yatuma abayigirizwa be abalala 70 okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Luk. 10:1, 8-11) Yesu bwe yali abatuma, yabagamba nti: “Oyo abawuliriza, nange aba ampulirizza. Era oyo abagaana, nange aba aŋŋaanye. Ate oyo aŋŋaana aba agaana n’oyo eyantuma.” (Luk. 10:16) Ebigambo bye ebyo biraga nti omulimu gwe yali abawadde gwali mukulu nnyo. Baali bagenda kukiikirira Yesu ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna! Bwe kityo bwe kiri ne leero eri abagoberezi ba Yesu bonna (Luk. 18:22; 2 Kol. 2:17) Abo bonna abafuuka abagoberezi be balina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.​—Mat. 24:14; 28:19, 20.

3 Olw’okuba twakkiriza okugoberera Yesu, twafuna enkizo ‘okumanya’ Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Yok. 17:3) Twayiga Yakuwa by’ayagala era Yakuwa yatuyamba ne tusobola okufuna endowooza empya, okwambala omuntu omuggya, n’okugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu. (Bar. 12:1, 2; Bef. 4:22-24; Bak. 3:9, 10) Okusiima Yakuwa by’atukolera kyatuleetera okwewaayo gy’ali n’okukyoleka mu lujjudde nga tubatizibwa. Bwe twabatizibwa, twafuuka baweereza ba Katonda abatongozeddwa.

4 Kijjukirenga nti tulina okuweereza Katonda n’omutima omulongoofu era nga tetuliiko kya kunenyezebwa. (Zab. 24:3, 4; Is. 52:11; 2 Kol. 6:14–7:1) Tulina omuntu ow’omunda omuyonjo olw’okuba tukkiririza mu Yesu Kristo. (Beb. 10:19-23, 35, 36; Kub. 7:9, 10, 14) Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okukolanga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa, baleme kwesittaza balala. Omutume Peetero yalaga nti empisa zaffe ennungi ziyinza okusikiriza abantu okuyiga amazima. (1 Kol. 10:31, 33; 1 Peet. 3:1) Oyinza otya okuyamba omuntu okutuukiriza ebisaanyizo asobole okutwegattako mu kubuulira amawulire amalungi?

ABABUULIZI ABAPYA

5 Okuva lw’otandika okuyigiriza omuntu Bayibuli, mukubirize okubuulirako abalala ebyo by’ayiga. Asobola okubuulirako ab’eŋŋanda ze, mikwano gye, b’akola nabo, oba abantu abalala. Kino kiyamba abayizi ba Bayibuli okufuuka abagoberezi ba Yesu Kristo era ababuulizi b’amawulire amalungi. (Mat. 9:9; Luk. 6:40) Omuyizi wa Bayibuli bw’agenda yeeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era n’amanyiira okubuulira embagirawo, aba ajja kwagala okutwegattako mu kubuulira amawulire amalungi.

EBISAANYIZO BY’OKUFUUKA OMUBUULIZI

6 Ng’omuyizi wo tannagenda kubuulira nnyumba ku nnyumba omulundi ogusooka, kakasa nti atuukiriza ebisaanyizo. Omuntu bw’agenda naffe mu buweereza, abamulaba bakitwala nti Mujulirwa wa Yakuwa. N’olwekyo, omuntu oyo alina okuba ng’amaze okutuukanya obulamu bwe n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu era ng’asobola okufuuka omubuulizi atali mubatize.

7 Ekiseera ky’oba omaze ng’oyiga n’omuntu Bayibuli, oyinza okuba ng’otegedde ebimukwatako. Oyinza okuba ng’okirabye nti akolera ku ebyo by’ayiga. Naye waliwo ebikwata ku muyizi wo abakadde bye baba beetaaga okwogerako nammwe mmwembi.

8 Omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde ajja kukola enteekateeka abakadde babiri (ng’omu ku bo ali ku kakiiko k’obuweereza) boogereko n’omuyizi wo nga naawe wooli. Mu bibiina omuli abakadde abatono, omukadde n’omuweereza alina ebisaanyizo bayinza okukikola. Ab’oluganda ababa balondeddwa okukola ku nsonga eyo basaanidde okugikolako awatali kulwa. Mu butuufu, singa bakimanya ng’olukuŋŋaana terunnatandika nti omuyizi ayagala kutandika kubuulira, bwe kiba kisoboka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana bayinza okwogerako n’omuyizi wo nga naawe wooli. Abakadde bwe baba boogera n’omuyizi, tebasaanidde kumuteeka ku bunkenke. Ng’omuyizi tannafuuka mubuulizi atali mubatize, alina okuba ng’atuukiriza ebisaanyizo bino:

  1. (1) Ng’akkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.​—2 Tim. 3:16.

  2. (2) Ng’amanyi era ng’akkiriza enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, ne kiba nti bw’aba abuuziddwa ebibuuzo, addamu nga Bayibuli bw’eyigiriza mu kifo ky’okuddamu nga yeesigama ku njigiriza ez’obulimba oba ku ndowooza ye.​—Mat. 7:21-23; 2 Tim. 2:15.

  3. (3) Ng’agondera ekiragiro ky’omu Bayibuli eky’okukuŋŋaana n’abantu ba Yakuwa embeera bw’eba ng’emusobozesa.​—Zab. 122:1; Beb. 10:24, 25.

  4. (4) Ng’amanyi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku bantu okwegatta nga si bafumbo, ku kuwasa abakazi abasukka mu omu, ne ku kulya ebisiyaga, era ng’obulamu bwe abutuukanya n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga ezo. Bw’aba alina gw’abeera naye gw’ayita mukyala we oba mwami we, obufumbo bwabwe bulina okuba nga bukkirizibwa mu mateeka.​—Mat. 19:9; 1 Kol. 6:9, 10; 1 Tim. 3:2, 12; Beb. 13:4.

  5. (5) Ng’agondera amateeka g’omu Bayibuli agagaana okutamiira era nga takozesa biragalalagala.​—2 Kol. 7:1; Bef. 5:18; 1 Peet. 4:3, 4.

  6. (6) Ng’ategeera obukulu bw’okwewala emikwano emibi.​—1 Kol. 15:33.

  7. (7) Nga yeekutulira ddala ku madiini gonna ag’obulimba, nga takyagenda mu masinzizo gaago, era nga takyenyigira mu ebyo bye gakola wadde okubiwagira.​—2 Kol. 6:14-18; Kub. 18:4.

  8. (8) Nga teyeenyigira mu kintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obufuzi.​—Yok. 6:15; 15:19; Yak. 1:27.

  9. (9) Nga teyeenyigira mu bukuubagano bw’amawanga.​—Is. 2:4.

  10. (10) Ng’ayagalira ddala okuba Omujulirwa ba Yakuwa.​—Zab. 110:3.

9 Singa abakadde baba tebategedde bulungi ndowooza muyizi gy’alina ku emu ku nsonga ezo, bayinza okwongera okumubuuza ebibuuzo, oboolyawo nga beeyambisa ebyawandiikibwa ebyo ebiragiddwa waggulu. Kikulu nnyo omuyizi okukitegeera nti abo abafuuka ababuulizi balina okuba nga batuukiriza ebisaanyizo ebyo ebiri mu Byawandiikibwa. By’addamu bijja kuyamba abakadde okumanya obanga ategeera bulungi ekimusuubirwamu era n’okumanya obanga atuukiriza ebisaanyizo ku kigero ekisaanira okusobola okutandika okubuulira awamu n’ekibiina.

10 Omuyizi bw’aba atuukiriza ebisaanyizo, abakadde basaanidde okumutegeeza awatali kulwa. Ebiseera ebisinga, baba basobola okukikola nga baakamaliriza okumubuuza ebibuuzo. Bw’aba ng’atuukiriza ebisaanyizo, abakadde bamutegeeza nti afuuse omubuulizi era ne bamuyozaayoza. Basaanidde okumukubiriza okutandika okubuulira amangu ddala nga bwe kisoboka era n’okuwaayo lipoota y’obuweereza ku nkomerero y’omwezi. Abakadde basobola okumunnyonnyola nti omuyizi wa Bayibuli bw’afuuka omubuulizi atali mubatize era n’awaayo lipoota ye esooka, wabaawo kaadi eggulwawo mu fayiro y’ekibiina mu mannya ge kwe bawandiika ebimu ku bimukwatako. Ebiwandiikibwa ku kaadi ezo bisobozesa ekibiina okulabirira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna n’okuyamba omubuulizi okwenyigira mu bintu eby’omwoyo n’okuyambibwa mu by’omwoyo. Ate era abakadde bayinza okumutegeeza nti ebintu ebimukwatako bikuumibwa nga bagobererera ebyo ebirambikiddwa ku jw.org. wansi wa Global Data Protection Policy of Jehovah’s Witnesses.

11 Bwe tufuba okumanya ebikwata ku mubuulizi omupya era ne tulaga nti tufaayo ku ebyo by’akola mu buweereza, kimuzzaamu nnyo amaanyi. Kiyinza okumukubiriza okuwaayo lipoota buli mwezi era n’okwongera okukola ekisingawo mu buweereza bwe.​—Baf. 2:4; Beb. 13:2.

12 Abakadde bwe bamala okukakasa nti omuyizi wa Bayibuli atuukiriza ebisaanyizo by’okutandika okubuulira, basaanidde okumuwa akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala. Bw’awaayo lipoota ye esooka, ekibiina kitegeezebwa nti afuuse omubuulizi atali mubatize.

OKUYAMBA ABAANA ABATO OKUFUUKA ABABUULIZI

13 Abaana abato nabo basobola okufuuka ababuulizi. Yesu yasembeza abaana abato era n’abawa omukisa. (Mat. 19:13-15; 21:15, 16) Wadde ng’abazadde be bavunaanyizibwa okuyamba abaana baabwe okufuuka ababuulizi, n’abalala mu kibiina bayinza okuyamba abaana abaagala okubuulira. Bw’oba ng’oli muzadde, era ng’oli munyiikivu mu buweereza, abaana bo baba bajja kukukoppa. Omwana bw’aba nga yeeyisa bulungi era ng’abuulirako abalala ebyo by’akkiririzaamu, kiki ekiyinza okukolebwa okumuyamba?

14 Kiba kirungi omuzadde okutuukirira omu ku bakadde abali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza. Omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde ajja kukola enteekateeka abakadde babiri (ng’omu ali ku kakiiko k’obuweereza) boogere n’omwana ng’ali wamu ne bazadde be abakkiriza, oba oyo amulinako obuvunaanyizibwa. Omwana bw’aba ng’amanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era ng’ayagala okubuulira, ekyo kiba kiraga nti akulaakulana mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’okwekenneenya obanga atuukiriza ebisaanyizo ebyo era n’ebimu ku ebyo abantu abakulu bye balina okutuukiriza, abakadde abo basobola okusalawo obanga omwana oyo asobola okufuuka omubuulizi atali mubatize. (Luk. 6:45; Bar. 10:10) Abakadde tekibeetaagisa kubuuza mwana bibuuzo birina kubuuzibwa bantu bakulu.

15 Abakadde bwe baba boogera n’omwana, basaanidde okumwebaza olw’okukulaakulana kw’atuuseeko era ne bamukubiriza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubatizibwa. Okuva bwe kiri nti abazadde baba bafubye nnyo okuyigiriza omwana waabwe amazima, nabo bagwana okwebazibwa. Okusobola okuyamba abazadde abo okulaba engeri gye bayinza okuyamba omwana waabwe okweyongera okukulaakulana, abakadde basaanidde okukubiriza abazadde okusoma ebyo ebiri mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Eri Abazadde,” ekisangibwa ku lupapula 179-181.

OKWEWAAYO N’OKUBATIZIBWA

16 Eky’okuba nti watuukiriza ebisaanyizo n’ofuuka omubuulizi, kiraga nti omanyi Yakuwa era omwagala, naye weetaaga okweyongera okunyweza enkolagana yo naye. Ekyo oyinza kukikola otya? Nga weewaayo gy’ali era oluvannyuma n’obatizibwa.​—Mat. 28:19, 20.

17 Omuntu eyeewaddeyo eri Yakuwa aba ayawuliddwawo okumuweereza. Okwewaayo eri Yakuwa kitegeeza okumusaba ng’omutegeeza nti ojja kumuweereza era nti ojja kutambulira mu makubo ge. Bwe weewaayo eri Yakuwa, oba weeyamye okusinza Yakuwa yekka emirembe gyonna. (Ma. 5:9) Kino okyesalirawo ku lulwo; tewali ayinza kukusalirawo.

18 Kyokka, oba olina okukola ekisingawo ku kugamba obugambi Yakuwa nti oyagala kumuweereza. Olina okulaga abalala nti weewaddeyo gy’ali. Kino okikola ng’obatizibwa mu mazzi, nga Yesu bwe yakola. (1 Peet. 2:21; 3:21) Bw’oba osazeewo okuweereza Yakuwa era ng’oyagala okubatizibwa, osaanidde okutegeeza omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Ajja kukola enteekateeka abakadde boogereko naawe okukakasa obanga otuukiriza ebisaanyizo. Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe “Eri Omubuulizi Atali Mubatize,” ekiri ku lupapula 182-184 mu katabo kano, n’ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebibuuzibwa Abo Abaagala Okubatizibwa,” ekiri ku lupapula 185-207.

LIPOOTA EZIKWATA KU EBYO EBITUUKIDDWAKO MU BUWEEREZA

19 Okumala emyaka mingi, tubaddenga tutegeezebwa ebituukiddwako mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, era nga kino kituzzaamu nnyo amaanyi. Okuviira ddala Yesu lwe yagamba abayigirizwa be nti amawulire amalungi galina okubuulirwa mu nsi yonna, Abakristaayo ab’amazima babaddenga baagala nnyo okumanya engeri ekyo gye kyandituukiriziddwamu.​—Mat. 28:19, 20; Mak. 13:10; Bik. 1:8.

20 Abagoberezi ba Yesu ab’edda baasanyukanga nnyo nga bawulidde ebirungi ebyabanga bivudde mu mulimu gw’okubuulira. (Mak. 6:30) Omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., abayigirizwa bonna awamu abaaliwo baali 120. Tewaayita bbanga ddene omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera ne bawera nga 3,000, ate oluvannyuma ne bawera nga 5,000. Ebyawandiikibwa biraga nti “Yakuwa yabongerangako buli lunaku abantu abaalokolebwanga,” era nti ‘bakabona bangi baafuuka abakkiriza.’ (Bik. 1:15; 2:5-11, 41, 47; 4:4; 6:7) Ng’amawulire ago gateekwa okuba nga gazzaamu nnyo abayigirizwa amaanyi! Gateekwa okuba nga gaabawa amaanyi okweyongera okubuulira, wadde ng’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali babayigganya nnyo.

21 Awo nga wakati w’omwaka gwa 60 ne 61 E.E., omutume Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi ebbaluwa n’abategeeza nti amawulire amalungi gaali ‘gabala ebibala era nga geeyongerayongera mu nsi yonna,’ era nti gaali ‘gabuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ (Bak. 1:5, 6, 23) Abakristaayo abaasooka baagondera Ekigambo, era omwoyo omutukuvu gwabawa amaanyi agaabasobozesa okukola omulimu ogwali omunene ennyo ogw’okubuulira, ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu ey’Abayudaaya tennatuuka mu mwaka gwa 70 E.E. Abakristaayo abo abeesigwa kiteekwa okuba nga kyabazzaamu nnyo amaanyi okuwulira ebikwata ku mulimu ogwali gukoleddwa!

Ofuba okuwa obujulirwa mu bujjuvu ng’enkomerero tennatuuka?

22 Ne leero, ekibiina kya Yakuwa kifuba okuwandiika lipoota ezikwata ku mulimu gw’okubuulira ogwogerwako mu Matayo 24:14, awagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” Omulimu ogwo gulina okukolebwa mu bwangu, era buli omu ku ffe abeewaayo eri Yakuwa alina okufuba okuwa obujulirwa mu bujjuvu ng’enkomerero tennatuuka. Yakuwa ajja kukola kyonna ekyetaagisa okukakasa nti omulimu ogwo gumalirizibwa, era singa tugwenyigiramu, ajja kutusiima.​—Ezk. 3:18-21.

LIPOOTA YO EY’OBUWEEREZA

23 Biki bye tulina okuwandiika ku lipoota yaffe ey’obuweereza? Akapapula ka Lipoota y’Obuweereza akatuweebwa mu kibiina katulaga ebyo bye tulina okuwandiikako.

24 Okuliraana ebigambo “Bye Wagaba (Omuli ne Bye Waggya ku Mukutu Gwaffe),” wandiikawo omugatte gw’ebyo bye wawa abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa ababatize. Ate okuliraana ebigambo “Emirundi gye Walaga Vidiyo,” wandiikawo emirundi gye walaga abantu vidiyo nga si Bajulirwa ba Yakuwa ababatize.

25 Okuliraana ebigambo “Okuddiŋŋana,” wandiikawo emirundi gye waddayo eri abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa ababatize n’ekigendererwa eky’okubayamba okumanya ebisingawo. Osobola okubala okuddiŋŋana singa oba ozzeeyo eri omuntu n’omusangayo, oba ng’omuwandiikidde ebbaluwa, oba ng’omukubidde essimu, oba ng’omuweerezza kamesegi ku ssimu oba e-mail, oba ng’omutwalidde ebitabo. Buli mulundi gw’oyigiriza omuyizi wa Bayibuli, okwo nakwo kuba kuddiŋŋana. Omuzadde ayinza okubala okuddiŋŋana kwa mulundi gumu buli wiiki singa akubiriza okusinza kw’amaka nga waliwo omwana atali mubatize.

26 Wadde ng’omuyizi wa Bayibuli tumuyigiriza buli wiiki, ku lipoota y’omwezi ogwo tumubala ng’omuyizi omu. Omuwendo gw’Abayizi ba Bayibuli b’oyigirizza mu mwezi guwandiike okuliraana ebigambo, “Abayizi ba Bayibuli b’Oyigirizza Omwezi Guno.” Omuwendo gw’abayizi ba Bayibuli b’owandiika ku lipoota gwe gw’abo abatannabatizibwa. Ate era singa omu ku bakadde abali ku kakiiko k’obuweereza akusaba okubaako ow’oluganda oba mwannyinaffe atakyabuulira gw’oyigiriza Bayibuli, oba singa oba oyigiriza omuntu eyaakabatizibwa atannaba kumalako kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! oyo naye oyinza okumubala ng’omuyizi wa Bayibuli.

27 Kikulu nnyo okuwaayo lipoota ng’eriko “Essaawa” entuufu. Essaawa z’owaayo zeezo z’omala ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, ng’oddayo eri abantu, ng’oyigiriza abayizi ba Bayibuli, oba ng’obuulira embagirawo oba ng’obuulira mu ngeri endala yonna abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Omubuulizi bw’abuulira n’omubuulizi omulala, bombi bayinza okubala essaawa, naye omu ku bo y’abala okuddiŋŋana oba omuyizi gwe baba bayigirizza Bayibuli. Abazadde bombi bwe beenyigira mu kuyigiriza abaana baabwe mu Kusinza kw’Amaka, bayinza okubala obutasussa ssaawa emu buli wiiki. Ab’oluganda bayinza okubala ebiseera bye bamala nga bawa emboozi ya bonna. Emboozi bw’eba evvuunuddwa, oyo aba agivvuunudde naye ayinza okubala ebiseera ebyo. Waliwo ebintu ebikulu bye tukola naye nga tetulina kubala biseera bye tumala nga tubikola, gamba ng’okweteekateeka okugenda okubuulira, okubaawo mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira, n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

28 Buli mubuulizi alina okukolera ku bulagirizi bw’omuntu we ow’omunda ng’abala essaawa z’amaze mu buweereza. Ababuulizi abamu ebitundu bye babuuliramu birimu abantu bangi, so ng’ate abalala ebitundu bye babuuliramu birimu abantu batono era nga kibeetaagisa okutambula akabanga akawerako okuva ku nnyumba emu okugenda ku ndala. Tubuulira mu bitundu bya njawulo, era n’ababuulizi engeri gye batwalamu obuweereza bwabwe eyawukana. Akakiiko Akafuzi tekasalirawo ba luganda ku ngeri gye balina kubalamu ssaawa ze bamala mu buweereza, era tewali muntu yenna aweereddwa lukusa kusalirawo balala ku nsonga eyo.​—Mat. 6:1; 7:1; 1 Tim. 1:5.

29 Bwe tuba tujjuzaamu lipoota y’obuweereza, tusaanidde kuwandiikako ssaawa nzijuvu; tetusaanidde kuwandiikako ddakiika. Kyokka, omubuulizi akaddiye ennyo, oyo atasobola kuva mu nju, oba oyo ali ku ndiri, ayinza okuwandiika ku lipoota ye eddakiika 15, 30, oba 45, bw’aba nga z’asobodde okubuulira omwezi ogwo. Bw’akola bw’atyo, aba abalibwa ng’omubuulizi atayosa kubuulira. N’omubuulizi aba afunye ekizibu eky’amaanyi gamba ng’akabenje oba obulwadde obw’amaanyi, n’aba nga tasobola kuva waka okumala omwezi mulamba oba okusingawo, ayinza okuganyulwa mu nteekateeka eyo. Abo bokka abali mu mbeera ebakugira ennyo be bakkirizibwa okuwaayo eddakiika ezo. Akakiiko k’obuweereza ke kasalawo obanga omubuulizi akkirizibwa okuwaayo eddakiika ezo.

KAADI Y’OMUBUULIZI

30 By’owandiika ku lipoota yo ey’obuweereza eya buli mwezi biwandiikibwa ku kaadi eyitibwa Kaadi y’Omubuulizi. Kaadi eyo eba ya Kibiina mw’okuŋŋaanira. Bw’oba oteekateeka okusenguka okudda mu kibiina ekirala, tegeeza abakadde. Omuwandiisi w’ekibiina ajja kukakasa nti ebikukwatako biweerezebwa mu kibiina gy’oba ogenze. Bwe kityo, abakadde basobola okukwaniriza n’okukuwa obuyambi bwe weetaaga mu by’omwoyo. Bw’oba togenda kuba mu kibiina kyo okumala ebbanga eritaweza myezi esatu, osabibwa okweyongera okuweereza lipoota yo mu kibiina kyo.

LWAKI TUWAAYO LIPOOTA Z’OBUWEEREZA?

31 Oluusi weerabira okuwaayo lipoota yo ey’obuweereza? Kyo kituufu nti ffenna oluusi twetaaga okujjukizibwa. Naye bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kuwaayo lipoota era ne tutegeera n’ensonga lwaki tuziwaayo, kiyinza okutwanguyira okujjukira okuziwaayo.

32 Ababuulizi abamu bayinza okwebuuza nti: “Okuva bwe kiri nti Yakuwa amanyi bye nkola mu buweereza, lwaki mpaayo lipoota y’obuweereza?” Kyo kituufu nti Yakuwa amanyi bye tukola, era amanyi obanga tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna oba tutuukiriza butuukiriza luwalo. Kyokka, kijjukire nti Yakuwa yakakasa nti ennaku Nuuwa ze yamala mu lyato n’emyaka Abayisirayiri gye baamala mu ddungu biwandiikibwa mu Bayibuli. Yakuwa yawandiisa n’ebikwata ku abo abaali abeesigwa gy’ali era n’abaamujeemera. Ate era yawandiisa ebikwata ku ngeri ensi ya Kanani gye yajja ewambibwamu era n’ebyo abalamuzi ba Isirayiri abeesigwa bye baakola. Mazima ddala, yawandiisa kalonda mungi akwata ku ebyo abaweereza be bye baakola. Yakakasa nti ebintu ebyo biwandiikibwa mu Kigambo kye, okutulaga nti akitwala nga kikulu nnyo okussa ebintu mu buwandiike.

33 Bye tusoma mu Bayibuli biraga nti abantu ba Yakuwa baafangayo nnyo okuwandiika ebintu nga bwe byali, era n’okubitereka obulungi. Ebintu ebisinga obungi bye tusoma mu Bayibuli tebyanditukutteko nnyo singa abaabiwandiika tebaalaga miwendo gyennyini. Lowooza ku byokulabirako bino: Olubereberye 46:27; Okuva 12:37; Ekyabalamuzi 7:7; 2 Bassekabaka 19:35; 2 Ebyomumirembe 14:9-13; Yokaana 6:10; 21:11; Ebikolwa 2:41; 19:19.

34 Wadde nga lipoota zaffe tezisobola kulaga byonna bye tuba tukoze mu buweereza, za mugaso nnyo mu kibiina kya Yakuwa. Mu kyasa ekyasooka, abatume bwe baagenda okubuulira oluvannyuma ne bakomawo eri Yesu, baamutegeeza “ebintu byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza.” (Mak. 6:30) Ebiseera ebimu lipoota ziyinza okulaga we twetaaga okwongeramu amaanyi mu buweereza bwaffe. Emiwendo giyinza okulaga nti wadde nga wabaddewo okukulaakulana mu bintu ebimu, ebintu ebirala, gamba ng’omuwendo gw’ababuulizi, tebyeyongeddeeko. Wayinza okubaawo ebintu ab’oluganda bye beetaaga okwongeramu amaanyi oba ebizibu ebyetaaga okugonjoolwa. Abakadde beetegereza ebiri ku lipoota ne bafuba okugonjoola ekizibu ekiyinza okuba nga kye kiremesa ababuulizi abamu oba ab’oluganda bonna mu kibiina okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe.

35 Ate era lipoota zisobozesa ekibiina kya Yakuwa okumanya ebitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, ebitundu ebikulaakulana ennyo, ebitundu ebikulaakulana empola, ssaako n’okumanya ebitabo ebyetaagisa okuyamba abantu okuyiga amazima. Lipoota era ziyamba ekibiina kya Yakuwa okumanya ebitabo ababuulizi mu bitundu by’ensi ebitali bimu bye beetaaga mu mulimu ogw’okubuulira era ne kikola ku bwetaavu obwo nga bukyali.

36 Abasinga obungi ku ffe tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tumanya ebyo baganda baffe bye bakola mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Lipoota zituyamba okutegeera obulungi engeri ekibiina kya Yakuwa gye kikulaakulanamu. Bye tuba tuwulidde ebikwata ku mulimu gw’okubuulira bitubuguumiriza nnyo era ne bituleetera okweyongera okuba abanyiikivu. (Bik. 15:3) Okuwaayo lipoota zaffe ez’obuweereza kikulu nnyo era kiraga nti tufaayo ku baganda baffe mu nsi yonna. Bwe tuwaayo lipoota, tuba tulaga nti tugoberera enteekateeka z’ekibiina kya Yakuwa.​—Luk. 16:10; Beb. 13:17.

OKWETEERAWO EBIRUUBIRIRWA

37 Olw’okuba embeera zaffe tezifaanana, tetusaanidde kugeraageranya buweereza bwaffe na bwa muntu mulala. (Bag. 5:26; 6:4) Kyokka tusobola okuganyulwa ennyo bwe tweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako, ne tusobola okwongeramu amaanyi mu buweereza bwaffe. Bwe tutuuka ku biruubirirwa ebyo, tufuna essanyu lingi.

38 Kyeyoleka kaati nti Yakuwa ayanguya omulimu gw’okukuŋŋaanya abo b’anaawonyaawo mu “kibonyoobonyo ekinene.” Tuli mu kiseera eky’okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Isaaya obugamba nti: “Omutono alifuuka lukumi era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi. Nze Yakuwa, ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.” (Kub. 7:9, 14; Is. 60:22) Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okuba ababuulizi b’amawulire amalungi mu kiseera kino eky’enkomerero!​—Mat. 24:14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share