LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/01 lup. 3-6
  • Apuli—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Apuli—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Tuyinza Okufuula Apuli 2000 Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • “Tubakolenga Obulungi Bonna”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 3/01 lup. 3-6

Apuli​—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’

1 Wiiki ezibaawo ng’Ekijjukizo tekinnabaawo era nga kiwedde ziba za kiseera eky’okufumiitiriza eri abantu ba Yakuwa. Kino kye kiseera eky’okufumiitiriza ku ekyo ekyatuukirizibwa okufa kwa Yesu era n’okulowooza ku ssuubi Katonda lye yatuwa okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Bw’olowooza ku Apuli 19 ow’omwaka ogwayita, kiki ekikujjira mu birowoozo? Oyinza okujjukira abantu be walaba akawungeezi ako? Embeera ennungi ennyo ey’eby’omwoyo eyaliwo ku Kijjukizo? Okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli okukulu ennyo n’okusaba okuviira ddala mu mitima? Oboolyawo wasalawo okwolekera ddala mu bujjuvu okusiima kwo okw’amaanyi ennyo eri okwagala kwa Yakuwa ne Yesu kwe baakulaga. Okufumiitiriza ng’okwo kukukolako ki kati?

2 Kya lwatu nti abantu ba Yakuwa balaga okusiima okusingawo ku kwogera obwogezi ebigambo. (Bak. 3:15, 17) Nnaddala mu Apuli eyayita, twalaga okusiima kwaffe eri enteekateeka za Yakuwa ez’obulokozi nga twenyigira nnyo mu buweereza bw’Ekikristaayo. Bapayoniya abawagizi baaweera nkumi n’enkumi, ne basinga entikko eyaliwo gye buvuddeko mu Afirika ow’Ebuvanjuba obutundu 48 ku buli kikumi. Okufuba kwabwe, awamu n’okw’abalangirizi b’Obwakabaka abalala bonna, kwavaamu entikko empya mu ssaawa, magazini ezaagabibwa, n’okuddiŋŋana. Essanyu lyaffe lyeyongera bwe twalaba enkumi n’enkumi z’abayizi ba Baibuli abappya nga batandikibwa era n’entikko empya ey’abo abaaliwo ku Kijjukizo!

3 Mazima ddala, obukakafu bw’essuubi lyaffe butukubiriza okubaako kye tukola. Kituukagana n’omutume Pawulo bye yawandiika: ‘Kubanga kyetuva tukola n’amaanyi ne tufuba, kubanga tusuubirira mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, naddala abeesigwa.”​—1 Tim. 4:10, NW.

4 Mu kiseera kino eky’Ekijjukizo, onoolaga otya okukkiriza kwo mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obulamu? Mu Apuli eyayita twafuna omuwendo gw’abalangirizi b’Obwakabaka oguddirira ogusingirayo ddala obunene ogwali gubaddewo mu Afirika ow’Ebuvanjuba. Tuyinza okusukka ku muwendo ogwo mu Apuli ono? Kisoboka okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Naye buli mubuulizi yenna, omubatize n’atali mubatize, kijja kumwetaagisa okwenyigiramu. N’abalala abappya bangi bayinza okutuukiriza ebisaanyizo by’okwenyigiramu. Bwe kityo, ng’okola enteekateeka okukola n’amaanyi n’okufuba mu Apuli ono, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukubirizaamu abalala, nga mw’otwalidde n’abappya abatalina bumanyirivu, okugenda naawe.

5 Okuyamba Abamu Okuddamu Okubuulira: Bw’oba ng’omanyiyo abamu abatabadde mu buweereza bw’ennimiro okumala omwezi gumu oba ebiri, oboolyawo oyinza okubazzaamu amaanyi n’okubayita bakwegatteko mu buweereza bw’ennimiro. Bwe kiba nti abamu mu kibiina tebakyabuulira, abakadde bajja kufuba mu ngeri ey’enjawulo okubakyalira era n’okubakubiriza okuddamu nate mu Apuli.

6 Fenna tuteekwa okweyongera okusaba omwoyo gwa Yakuwa okutunyweza mu buweereza bwe. (Luk. 11:13) Kiki kye tuteekwa okukola okufuna omwoyo ogwo? Soma Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (2 Tim. 3:16, 17) Era tuteekwa ‘Okuwulira omwoyo kye gugamba ekibiina’ nga tubeerawo mu nkuŋŋaana zonna ettaano. (Kub. 3:6) Kino kye kiseera ekituufu okuyamba abayosa okubuulira n’abatakyabuulira okulongoosaamu mu nkola yaabwe ey’okweyigiriza bokka n’okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa. (Zab. 50:23) Kino tukikola nga tufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo. Naye, waliwo ekirala ekyetaagisa.

7 Omutume Peetero yannyonnyola nti Katonda awa omwoyo gwe omutukuvu ‘abo abamugondera ng’omufuzi.’ (Bik. 5:32) Obuwulize ng’obwo butwaliramu okugondera ekiragiro ‘okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.’ (Bik. 1:8; 10:42) Bwe kityo, wadde kituufu nti twetaaga omwoyo gwa Katonda okutuwa amaanyi okubuulira, era kituufu nti bwe tutandika okulaga nti twagala okusanyusa Yakuwa, atuyamba n’okusingawo. Ka tuleme kubuusa maaso obukulu bw’okugoberera emitendera egyo egisooka egy’okumugondera kyeyagalire!

8 Okuyamba Abato: Abazadde, mulina obujulizi nti abaana bammwe baagala okwogera n’abalala ku bikwata ku mazima? Babadde bagenda nammwe mu buweereza bw’ennimiro? Bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nneeyisa yaabwe? Bwe kiba bwe kityo, lwaki olonzalonza? Tuukirira omu ku bali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza, olabe oba ng’omwana wo alina ebisaanyizo by’okukola ng’omuweereza mu Apuli. (Laba akatabo Our Ministry, empapula 99-100.) Tegeera nti omwana wo alina kinene nnyo ky’ayinza okukola mu kutendereza Yakuwa mu kiseera kino eky’Ekijjukizo.​—Mat. 21:15, 16.

9 Omuzadde omu Omukristaayo mu Georgia, Amereka, yakubirizanga muwala we omuto okwogera n’abalala ku bikwata ku Yakuwa. Omwaka oguwedde, omuwala ono bwe yali ng’ali mu buweereza ne maama we, yawa omusajja brocuwa Atwetaagisa era mu bufunze n’ayogera ku mitwe egikalimu. Omusajja yamubuuza: “Olina emyaka emeka?” Omuwala n’addamu: “Musanvu.” Omusajja yeewuunya nnyo okumulaba ng’awa ennyanjula ey’amakulu bw’etyo. Era kyali nti omusajja oyo yakolagananga n’Abajulirwa ng’akyali muto naye n’atakitwala ng’ekikulu mu bulamu bwe. Mangu ddala, omusajja, mukyala we, ne muwala we batandika okuyigirizibwa Baibuli.

10 Abato bangi kati bakola ng’ababuulizi, era tunyumirwa bwe tukola nabo mu buweereza. Abavubuka bano basobola okukubiriza n’okuzzaamu amaanyi abalala bwe benkana obukulu. Era Apuli kiba kiseera kirungi amaka okunyweza enkolagana zaago n’okuzimba embeera zaago ez’eby’omwoyo nga gakolera wamu mu buweereza obutukuvu. Emitwe gy’amaka balina okutwala obukulembeze mu kino.​—Nge. 24:27.

11 Okuyamba Abappya: Naye ate abappya b’osoma nabo Baibuli? Bayinza okwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo mu Apuli ono? Oboolyawo baalaga nti baali baagala okubuulira abalala bye baali bayiga bwe mwali musoma essuula 2, akatundu 22, oba essuula 11, akatundu 14, mu katabo Okumanya. Bwe muba nga munaatera okutuuka ku nkomerero y’akatabo ako, teekateeka okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno nga musoma essuula 18, akatundu 8, akagamba: “Oboolyawo oyagala okubuulira ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, n’abalala ku by’obadde oyiga. Mu butuufu, oyinza okuba watandika dda okukikola, okufaananako ne Yesu bwe yabuulira abalala amawulire amalungi mu ngeri ey’embagirawo. (Lukka 10:38, 39; Yokaana 4:6-15) Kati oyinza okuba ng’oyagala okukola ekisingawo.” Kino bwe kiri eri abo b’osoma nabo?

12 Omuyizi wo akkiriza Ekigambo kya Katonda? Abadde assa mu nkola emitindo gya Baibuli? Atuukanyizza obulamu bwe n’emitindo gya Katonda? Abadde abaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina? Ayagala okuweereza Yakuwa Katonda? Kati olwo lwaki tomukubiriza okwogera n’abakadde balabe obanga alina ebisaanyizo by’okukola ng’omubuulizi atannabatizibwa era akole naawe mu Apuli? (Laba akatabo Our Ministry, empapula 97-9.) Mu ngeri eno ajja kutandika okulaba engeri entegeka ya Yakuwa bw’ejja okumuyamba mu kufuba kwe okuweereza Yakuwa.

13 Kituufu nti abayizi abamu bakulaakulana mangu okusinga abalala. Bwe kityo, nga kituukagana n’obulagirizi obwaweebwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2000 olupapula 4, obutundu 5-6, bangi babadde basoma ekitabo eky’okubiri n’abantu abaayagala okumanya ebisingawo mu ntandikwa naye abaali beetaaga obuyambi obulala okutandika okubaako kye bakola. Tetuggwaamu ssuubi nti bano ab’emitima emyesigwa bajja kufuuka abayigirizwa ba Kristo aba nnamaddala, ‘ka kibe mu kiseera ekimpi oba ekiwanvu.’ (Bik. 26:29, NW) Bwe kiba nti ekiseera ky’omaze ng’osoma n’abantu abo kiyinza okuyitibwa ‘ekiseera ekiwanvu,’ ekiseera kino eky’Ekijjukizo kiyinza okuba omukisa omulungi eri omuyizi wo okutandika okwoleka okusiima kwe okw’amaanyi eri ekinunulo kya Kristo?

14 Engeri y’Okubayamba Okwenyigiramu: Tuyiga bingi ebikwata ku kuyamba abantu abalina ebisaanyizo okutandika okubuulira nga twekenneenya engeri Yesu gye yayambamu abalala. Teyasanga busanzi kibiina ky’abantu n’agamba abayigirizwa be okutandika okwogera nabo. Yasooka kuggumiza obukulu bw’omulimu gw’okubuulira, n’abakubiriza okusaba, awo n’alyoka abateekerawo enteekateeka enkulu ssatu: omuntu ow’okukola naye, ekifo eky’okukolamu, n’obubaka. (Mat. 9:35-38; 10:5-7; Mak. 6:7; Luk. 9:2, 6) Oyinza okukola kye kimu. Ka kibe nti onooba oyamba mwana wo, omuyizi omuppya, oba omuntu amaze akaseera nga tawaayo lipoota y’omulimu gw’obuweereza, kyandibadde kisaanira okufuba ennyo okutuukiriza ebiruubirirwa bino wammanga.

15 Yogera ku Bwetaavu: Yamba omuntu okulaba obukulu bw’omulimu gw’okubuulira. Gwogereko n’essanyu. Yogera ku byokulabirako ebiraga ekibiina bye kituukiriza mu buweereza. Yoleka omwoyo Yesu gwe yayogerako mu Matayo 9:36-38. Kubiriza omuntu ayinza okufuuka omubuulizi oba oyo abadde takyabuulira okusaba ku bikwata ku kwenyigira mu buweereza awamu n’okukulaakulana kw’omulimu gw’ensi yonna.

16 Kubiriza Omuntu Okulowooza ku Mikisa Emingi Egiriwo egy’Okubuulira: Yogera ku nteekateeka y’okusinsinkana awamu n’ekibinja bwe basoma ekitabo okusobola okugenda okubuulira nnyumba ku nnyumba. Yogera ku ky’okunyumya n’ab’eŋŋanda n’abamanyi oba okwogera ne b’akola nabo oba b’asoma nabo mu kiseera eky’okuwummulamu okulya eky’emisana. Bw’oba ng’oli mu ntambula eya lukale, oyinza okutandika emboozi ne batambuze banno ng’obalaga okufaayo. Ffe bwe tutandika, kino kitera okutuwa emikisa egy’okubuulira. Mazima ddala waliwo emikisa mingi egy’okubuulira abalala essuubi lyaffe “buli lunaku.”​—Zab. 96:2, 3.

17 Kyokka, kyandibadde kirungi ggwe n’omubuulizi omuppya okukolera awamu nnyumba ku nnyumba mangu ddala nga bwe kisoboka. Bw’oba ng’otaddewo ekiruubirirwa eky’okugaziya obuweereza bwo mu Apuli, buuza omuweereza akola ku bitundu eby’okukolamu akuwe ekitundu ekisaanira bwe kiba nga weekiri. Bwe kibaawo, kino kijja kukuwa emikisa egy’okukikolamu kyonna. Ng’ekyokulabirako, ng’omaliriza obuweereza oba ng’ogenda mu nkuŋŋaana oba mu bifo ebirala, oyinza okulaba nti mu maka agamu gye mutaasanga muntu ku mulundi ogwayita oba awaali ayagala okumanya ebisingawo, kati eriyo omuntu. Bwe kiba nga kisoboka, genda yo. Kino kijja kukusobozesa okufuna okumatira n’essanyu mu buweereza.

18 Teekateeka Obubaka Obusikiriza: Wadde omuntu ayinza okwagala okubuulira obubaka bw’Obwakabaka, kiba kimwetaagisa okuba nga yeekakasa mu ngeri y’okubuuliramu, nnaddala singa aba muppya oba ng’abadde takyabuulira okumala ekiseera kiwanvu. Okuyamba abappya n’abatakyabuulira okutegeka kya muganyulo. Enkuŋŋaana z’Obuweereza n’enkuŋŋaana z’obuweereza obw’ennimiro ziyinza okutuwa ebirowoozo ebirungi, naye okweteekateeka gwe kennyini kye kisinga okuba eky’omuganyulo.

19 Oyinza otya okuyamba abappya okweteekateekera obuweereza? Tandika n’ennyanjula ey’okugaba magazini nga nnyangu era ng’eri mu bufunze! Bagambe balowooze ku bintu ebifulumidde mu mawulire ebiyinza okuba nga bikwata ku bantu mu kitundu eky’okubuulirwamu, n’oluvannyuma funayo ensonga okuva mu magazini ezaakafuluma ekwatagana n’ebintu ebyo. Ennyanjula mugyegezeemu, era mugikozese mu kubuulira amangu ddala nga bwe kisoboka.

20 Kulaakulanya Obusobozi obw’Okweyongera mu Biseera eby’Omu Maaso: Omwaka oguwedde abaaliwo ku Kijjukizo mu nsi yonna baasukka mu bukadde kumi na buna n’obutundu munaana. Omuwendo gw’abo abaawaayo lipoota zaabwe ng’ababuulizi gwasukka mu bukadde mukaaga. Kino kitegeeza nti abantu ng’obukadde munaana n’obutundu munaana baayagala okumanya ebisingawo ne batuuka n’okujja mu programu eno ey’enjawulo gye baawulirira emu ku njigiriza enkulu ez’omu Baibuli ng’ennyonnyolebwa. Baategeera abamu ku ffe kinnoomu, ekiyinza okuba nga kya bakola bulungi. Bangi ku bo batwogerako bulungi, bawaayo eri omulimu gwaffe ogw’ensi yonna, era batuwolerezza eri abalala. Ekibinja kino ekinene kiraga obusobozi bw’okweyongera mu biseera eby’omu maaso. Kiki kye tuyinza okukola okubayamba okweyongera okukulaakulana?

21 Abasinga obungi ku abo abappya ababeerawo ku Kijjukizo bajja olw’okuba omu ku ffe aba abayise. Emirundi egisinga kino kitegeeza nti balinayo waakiri omuntu omu gwe bamanyi mu abo abaliwo. Singa omuntu abaawo olw’okuba twamuyita, tulina obuvunaanyizibwa okumwaniriza era n’okumuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu programu. Okuva bwe wajja okubaawo abantu bangi, muyambe okufuna w’anaatuula. Mwazike Baibuli, era mukozeseze wamu akatabo ko ak’ennyimba. Ddamu ebibuuzo byonna by’ayinza okubuuza. Bw’omufaako mu ngeri ey’okwagala kiyinza okumuleetera okukulaakulana. Kya lwatu, fenna tulina obuvunaanyizibwa buno​—bwe tulaba omuntu gwe tutamanyi, tumwanirize n’essanyu era tunyumyeko naye okumala akaseera okusobola okumanyagana.

22 Okubeerawo ku Kijjukizo kiyinza okubaako ekinene kye kikola ku ndowooza y’omuntu. Olw’okuba aze mu lukuŋŋaana kiyinza okutegeeza nti tannaba kuzuula ky’anoonya walala wonna era nti tulina kye tuyinza okumuwa ky’awulira nga yeetaaga okwongera okwekenneenya. Ennyinnyonnyola ekwata ku nteekateeka y’ekinunulo ey’ekitalo eyinza okubeera eky’okuyiga ekikulu ennyo eri omuntu atamanyi kwagala kwa Yakuwa okutaliiko kkomo. Ayinza okukirabirawo nti tuli ba njawulo​—abeesimbu, ab’omukwano, ab’okwagala era abawa abalala ekitiibwa. Ekifo kyaffe kye tukuŋŋaaniramu tekifaanagana n’akamu n’ekyo ky’ayinza okuba nga yalaba mu makanisa agalimu ebifaananyi era agagoberera emikolo egitaliimu makulu. Abappya bajja kulaba nti mu baliwo mulimu abantu okuva mu ngeri zonna ez’obulamu era nti tewali sente zisoloozebwa. Kino kiyinza okubakubiriza okukomawo.

23 Oluvannyuma lw’Ekijjukizo, wandibaddewo omuntu omwetegefu okuddiŋŋana buli muntu omuppya abaddewo. Bw’oba nga wayita abappya, olina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Nga tebannaba kugenda, kakasa nti bamanya ebikwata ku nkuŋŋaana endala ezibeera mu Kingdom Hall. Yogera ku mutwe gw’emboozi ya bonna ennaddako. Bategeeze ekifo n’ekiseera eky’Okuyiga Ekitabo okw’Ekibiina ekiri okumpi ne gye babeera. Oluvannyuma, bawe kopi y’akatabo Creator, era bategeeze nti essuula ejja okusomebwa mu wiiki etandika Apuli 30 ejja kuba “What Can You Learn About the Creator From a Book?” Nnyonnyola ensonga lwaki ekibiina kyonna kiteekateeka okubaawo mu lukuŋŋaana lwa district olubali okumpi olutegekeddwa okubaawo mu kiseera ekitali ky’ewala.

24 Teekateeka okubakyalira mu maka gaabwe. Kakasa nti balina kopi ya brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya, ebibayamba okutegeera enjigiriza za Baibuli enkulu. Bwe kiba nga tebannatandika kuyiga, bategeeze ku nkola y’okubayigiriza Baibuli. Bawe amagezi basome brocuwa Jehovah’s Witnesses, eraga obulungi engeri entegeka gy’ekolamu. Bayite bajje balabe vidiyo zaffe, gamba nga Our Whole Association of Brothers. Kola enteekateeka basisinkane abalala mu kibiina. Mu myezi egiddirira, abappya tobeerabira; bayite babeerewo mu nkuŋŋaana ng’omulabirizi wa circuit abakyalidde oba nga mulina olukuŋŋaana lwa circuit oba olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu. Bawe emikisa gyonna beerage nti ‘baagala obulamu obutaggwaawo’!​—Bik. 13:48.

25 Abakadde Kye Bayinza Okukola: Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu kaweefube w’okubuulira mu Apuli kujja kwesigama, okusingira ddala ku bakadde. Bw’oba okubiriza okuyiga ekitabo okw’ekibiina, kola olukalala lw’ebintu by’osobola okukola okuyamba buli muntu ali mu kibinja kyo eky’okuyiga ekitabo okwenyigira mu mulimu ogw’enjawulo. Mu kibinja kyo mulimu abato, abappya, abayosa okubuulira, oba abatakyabuulira? Weetegereze olabe oba abazadde, bapayoniya, oba ababuulizi abalala balina kye bakozeewo okubayamba. Bawe obuyambi bwonna bw’osobola okubawa. Mwannyinaffe omu eyali ayosayosa mu kubuulira okumala emyaka ebiri yamala essaawa ezisukka mu 50 mu buweereza mu Apuli eyayita. Kiki ekyamuleetera okulabawo enjawulo? Yagamba nti kwali okukyalirwa abakadde enfunda n’enfunda okwali kuzimba.

26 Abakadde n’abaweereza balina okukolaganira awamu okulaba nti waliwo ebifo ebimala eby’okukolamu, magazini, n’ebitabo eby’okukozesa mu mwezi ogujja. Wayinza okutegekebwawo enkuŋŋaana endala ez’obuweereza bw’ennimiro? Bwe kiba bwe kityo, bategeeze ku nteekateeka ezo ez’enjawulo. Okusinga byonna, mu kusaba kwo okw’omu lujjudde era ng’oli wekka, saba emikisa gya Yakuwa okubeera ku mwezi gwaffe ogw’okukola ennyo mu mulimu gw’Obwakabaka.​—Bar. 15:30, 31; 2 Bas. 3:1.

27 Apuli eyayita mu kibiina ekimu mu North Carolina, abakadde baakubiriza okukola ennyo mu mulimu gw’okubuulira. Mu nkuŋŋaana eza buli wiiki, baasaba ababuulizi okukirowoozaako nga bwe basaba oba nga basobola okwewandiisa nga bapayoniya abawagizi. Buli lwe baafunanga akakisa, abakadde n’abaweereza baayogeranga n’ebbugumu ku kufuula Apuli omwezi ogukyasinze okuba omulungi. Ekyavaamu, ababuulizi 58 ku buli kikumi, nga mw’otwalidde abakadde bonna n’abaweereza, baakola nga bapayoniya omwezi ogwo!

28 Essanyu ery’Okwenyigiramu mu Bujjuvu: Mikisa ki egiri mu “kukola n’amaanyi era n’okufuba” mu buweereza? (1 Tim. 4:10) Ku bikwata ku bunyiikivu bw’ekibiina kyabwe mu Apuli eyayita, abakadde aboogeddwako waggulu baawandiika: “Baganda baffe ne bannyinaffe batera okwogera ku mukwano n’enkolagana ey’oku lusegere bye balina buli omu eri munne okuva lwe baatandika okukola ennyo mu buweereza.”

29 Ow’oluganda omuto eyali teyesobola bulungi yeegomba okwenyigira mu mulimu ogw’enjawulo mu Apuli eyayita. Olw’enteekateeka ennungi era n’obuyambi bwa maama we ne baganda be ne bannyina ab’eby’omwoyo, yanyumirwa okukola nga payoniya omuwagizi omwezi ogwo. Yawulira atya ku ekyo ekyamutuukako? Yagamba: “Omulundi ogwasookera ddala mu bulamu bwange, nneewulira ng’omuntu eyeesobola.”

30 Tewaliwo kubuusabuusa nti Yakuwa awa emikisa mingi abo abatwala enkizo yaabwe ey’okwogera ku bwakabaka bwe nga ey’omuwendo. (Zab. 145:11, 12) Nga tujjukira okufa kwa Mukama waffe, tukitegeera nti emikisa gy’okwemalira ku Katonda gijja kuba mingi n’okusingawo mu kiseera eky’omu maaso. Omutume Pawulo yeesunga nnyo empeera y’obulamu obutaggwaawo. Kyokka, yakimanya nti kino si kintu eky’okusuubira obusuubizi nga tolina ky’okozeewo. Yawandiika: “Kyenva nkola n’amaanyi, ne nfuba, ng’okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n’amaanyi.” (Bak. 1:29, NW) Yakuwa okuyitira mu Yesu, yawa Pawulo amaanyi okutuukiriza omulimu ogw’okuwonya obulamu, era Ayinza okutukolera ekintu kye kimu leero. Ekyo kye kinaakutuukako mu Apuli ono?

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Ani gw’Oyinza Okukubiriza Okubuulira mu Apuli?

Omwana wo?

Omuyizi wa Baibuli?

Omuntu atakyabuulira?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share