‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
1 Bw’oba ng’osiimidde ddala ekintu ekirungi ky’ofunye, ekyo tokiraga mu ngeri gye weeyisaamu? Kya lwatu bw’otyo bw’okola! Weetegereze ebigambo omutume Pawulo bye yayogera ku birungi n’ekisa Yakuwa by’alaga abantu. Yagamba: “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitayogerekeka”! “Ekirabo” ekyo kizingiramu ki? ‘Ekisa kyonna Katonda’ ky’atulaze, era ng’ekikolwa ekisingirayo ddala obukulu kwe kuwaayo Omwana we ng’ekinunulo ku lw’ebibi byaffe.—2 Kol. 9:14, 15; Yok. 3:16.
2 Okusiima kwa Pawulo kwali mu bigambo bugambo? N’akatono! Yalaga okusiima kwe mu ngeri nnyingi. Yali afaayo nnyo ku mbeera ey’eby’omwoyo eya Bakristaayo banne era yayagala okubaako ky’akola okusobola okubayamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kisa kya Katonda. Pawulo yagamba bw’ati Bakristaayo banne: “Twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n’emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.” (1 Bas. 2:8) Ng’oggyeko okuyamba abo abaali munda mu kibiina okufuna obulokozi, Pawulo yanyiikirira okubuulira amawulire amalungi, ng’atambula enkumi n’enkumi za mayiro ku lukalu ne ku nnyanja ng’anoonya abo ‘abaagala obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48) Olw’okuba Pawulo yali asiima nnyo byonna Yakuwa bye yamukolera, kyamuleetera ‘okubuulira ekigambo kya Katonda mu bujjuvu.’—Bak. 1:25, NW.
3 Okusiima kwe tulina olw’ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde, tekutuleetera okuyamba abalala mu kibiina kyaffe abeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo? (Bag. 6:10) Era tekutukubiriza okwenyigira ennyo nga bwe tusobola mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu kitundu kyaffe?—Mat. 24:14.
4 Omukisa Gwe Tulina Okulaga Okusiima: Buli mwaka, Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kituwa omukisa ogw’enjawulo okulaga nti tusiima ebintu Yakuwa ne Yesu bye batukoledde. Luno teruba lukuŋŋaana lwa bulijjo oba ekijjukizo ekya bulijjo. Yesu yagamba: ‘Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.’ (Luk. 22:19) Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo guba mukolo gwe tufumiitiririzaako ku Yesu. Kiba kiseera okujjukira nti mulamu era nti alina ky’akola leero ng’ali mu kitiibwa eky’obwakabaka kye yaweebwa olw’obwesigwa bwe ne ssaddaaka gye yawaayo. Omukolo guno era gutuwa omukisa okulaga nti tugondera obukulembeze bwa Kristo mu kibiina Ekikristaayo. (Bak. 1:17-20) Abantu ba Katonda bonna basaanidde okubeerawo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Omwaka guno kijja kubaawo ku Lwakuna nga Maaki 28, 2002 oluvannyuma lw’enjuba okugwa.
5 Olw’okufuba okw’amaanyi okwakolebwa omwaka oguwedde ng’Ekijjukizo tekinnabaawo, twasobola okutuuka ku ntikko etabangawo ey’abantu 75,597 mu nsi eziri wansi w’ettabi lya Kenya. Bantu bameka abanaabeerawo omwaka guno? Kino kijja kusinziira nnyo ku ffe ‘okukola n’amaanyi,’ okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okubeerawo.—1 Tim. 4:10.
6 Ng’oggyeko okubeerawo ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe, era tuyinza okwongera ku bye tukola mu buweereza bw’ennimiro. Awatali kubuusabuusa, enkumi n’enkumi za baganda baffe ne bannyinaffe bajja kukola nga bapayoniya abawagizi omwezi gumu oba egisingawo. Buli mwaka tubadde tufuna omuwendo ogusingawo ogw’abo abakola nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo, kwe kugamba, okuva mu Maaki okutuuka mu Maayi. Oyinza okukola enteekateeka osobole okukola nga payoniya omuwagizi omwaka guno? Ejja kubeera ngeri nnungi okulaga nti osiima ekirabo kya Katonda eky’okuwaayo Kristo nga ssaddaaka. Oyinza okubeera omukakafu nti ojja kufuna emikisa gya Yakuwa, ng’ebyokulabirako ebiddako bwe biraga.
7 Mwannyinaffe omu alina omulimu ogw’ekiseera kyonna, yawandiika ku ngeri gye yasangamu okuweereza nga payoniya omuwagizi mu Maaki w’omwaka ogwayita, agamba: “Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2001 kaakubiriza buli muntu embeera ze gwe zaali zisobozesa okukola nga payoniya omuwagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo. Okuva omwezi gwa Maaki bwe gwalina wiikendi mukaaga, ekyo kyatuukagana bulungi n’entegeka yange. N’olwekyo, nnasalawo okuwaayo okusaba kwange.” Bwe yali atandika okuweereza omwezi ogwo, yateekawo ekiruubirirwa eky’okugezaako okufuna omuntu gw’ayigiriza Baibuli mu maka ge. Yamufuna? Yee, yamufuna bwe yali akola essaawa ye eya 52 mu mwezi ogwo! Kiki kye yagamba? “Tufuna emikisa egy’ekitalo bwe twongeramu amaanyi.”
8 Amaka agakolera awamu nga bapayoniya abawagizi gafuna miganyulo ki? Amaka agamu agalimu ababuulizi bana abaakola bwe batyo mu Apuli w’omwaka ogwayita, baanyumirwa nnyo ne kiba nti ogwo omwezi buli kiseera bajja kugujjukiranga. Maama yagamba: “Buli lunaku twanyumirwanga nnyo kubanga twalinga ffenna mu buweereza! Twanyumirwanga okwogera ku bye tukoze mu buweereza nga tulya ekyeggulo.” Mutabani waabwe yagamba: “Nnanyumirwa nnyo okukola ne Taata mu nnaku eza wakati mu wiiki, ng’ate mu mbeera eza bulijjo ekiseera ekyo abeera ku mulimu gwe.” Taata yagamba: “Nze ng’omutwe gw’amaka, nnafuna essanyu lingi olw’okumanya nti twali tukolera wamu mu mulimu ogusingayo obukulu mu kiseera kyaffe.” Muyinza okukola obwapayoniya awamu ng’amaka? Lwaki temukyogerako ng’amaka mulabe obanga kisoboka okukolera awamu mwenna nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo?
9 Tuyinza Okufuula Maaki Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi? Mu ntandikwa y’omwaka 2000, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kaabuuza ekibuuzo: “Tusobola Okufuula Apuli 2000 Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi?” Kiki ekyavaamu? Twafuna entikko empya eziwerako mu bapayoniya abawagizi, mu ssaawa, mu kugaba magazini, ne mu kuddiŋŋana. Ojjukira ebbugumu eryali mu kibiina kyammwe olw’okuba bangi beenyigira nnyo mu mulimu ogw’eby’omwoyo mu mwezi ogwo ogw’enjawulo? Tuyinza okukola kye kimu oba n’okusingawo omwaka guno? Singa ffenna tufuba nnyo, Maaki 2002 guyinza okubeera “Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi.” Lwaki mwezi gwa Maaki?
10 Waliwo ensonga bbiri lwaki omwezi gwa Maaki gusaanidde okubeera omwezi ogw’enjawulo. Okusookera ddala, Ekijjukizo kijja kubeerawo ku nkomerero y’omwezi ogwo. Ekyo kijja kutusobozesa okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okuviira ddala ku matandika g’omwezi ogwo. Ensonga ey’okubiri, eri nti omwaka guno omwezi gwa Maaki gujja kubaamu wiikendi ttaano. Ekyo kijja kusobozesa abo abakola oba abasomi okukola nga bapayoniya abawagizi. Lwaki totuula n’okola enteekateeka ennungi ng’okozesa kalenda eri ku lupapula luno olw’omunda? Okukola nga payoniya omuwagizi kiyinza okuba ekyangu okusinga bw’obadde olowooza. Ng’ekyokulabirako, singa okola enteekateeka okubuulira essaawa 8 ku buli wiikendi ezo ettaano, kijja kukwetaagisa okukolayo essaawa endala 10 zokka okusobola okuweza essaawa 50 ezeetaagisa.
11 Kiki abakadde kye basobola okukola okuyamba bonna abali mu kibiina ‘okubuulira ekigambo kya Katonda mu bujjuvu’? Nga babakubiriza okuyitira mu bitundu bye baba nabyo mu nkuŋŋaana era nga banyumyamu n’ababuulizi kinnoomu. Abakubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina n’abo ababayambako bayinza okwogera na buli omu ku abo ali mu kabinja kaabwe era n’okubawa obuyambi bwe beetaaga. Oluusi ekiba kyetaagisa biba ebigambo ebitonotono ebizzaamu amaanyi oba ebirowoozo ebirungi. (Nge. 25:11) Bangi bajja kukizuula nti singa bakola enkyukakyuka entonotono mu nteekateeka zaabwe, basobola okukola nga bapayoniya abawagizi. Mu bibiina bingi, abakadde n’abaweereza abasinga obungi, kabekasinge bonna, awamu ne bakazi baabwe bassaawo ekyokulabirako ekirungi nga bakolera wamu nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo. Ekyo kikubiriza ababuulizi bangi okubeegattako. Olw’obulwadde oba embeera endala, ababuulizi abamu bayinza obutasobola kukola nga bapayoniya, naye bayinza okukubirizibwa okulaga okusiima kwabwe nga bakola kyonna kye basobola mu buweereza awamu n’ekibiina.
12 Byonna okutambula obulungi, kijja kusinziira ku ntegeka ennungi ey’abakadde. Wateekwa okubeerawo enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro mu biseera ebisaanira wiiki yonna. Bwe kiba kisoboka, omulabirizi w’obuweereza ajja kutegeeza nga bukyali ow’oluganda alina ebisaanyizo okukulembera enkuŋŋaana ezo ez’okugenda mu nnimiro. Kyetaagisa okukola entegeka ennungi enkuŋŋaana ezo zireme kusukka ddakiika 10 oba 15, nga mw’otwalidde okugaba abagenda okubuulira, okubawa ekitundu eky’okubuuliramu, era n’okusaba. (Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2001.) Enteekateeka eraga engeri omulimu gye gunaakolebwamu mu mwezi ogwo esaanidde okunnyonnyolebwa obulungi eri ekibiina era etimbibwe mu kifo awatimbibwa ebirango by’ekibiina.
13 Wateekwa okubaawo ebitundu ebimala eby’okubuuliramu. Akubiriza obuweereza bw’ennimiro n’ow’oluganda akola ku kugaba mmaapu eziraga ebitundu eby’okubuuliramu basaanidde okukola enteekateeka ey’okubuulira mu bitundu ebitatera kubuulirwamu. Essira lisaanidde liteekebwe ku kubuulira mu maka agatasangibwamu bantu, okubuulira ku nguudo ne mu bifo abantu gye bakolera emirimu, era n’okubuulira mu biseera eby’akawungeezi. We kyetaagisa, ababuulizi bayinza okuyambibwa okukozesa essimu nga babuulira.
14 Bayambe Okuddamu Okuweereza: Mu kitundu kye mubuuliramu mulimu ab’oluganda abatakyabuulira mawulire malungi? Abalinga abo bakyali mu kibiina era beetaaga okuyambibwa. (Zab. 119:176) Okuva enkomerero y’ensi eno bw’eri okumpi okutuuka ng’ate n’ensi empya eri kumpi ddala, tulina ensonga ennungi okufuba okuyamba abo abatakyabuulira. (Bar. 13:11, 12) Mu myaka egisukka mu etaano egiyise, abantu abasoba mu 1,700 buli mwaka baddamu okubuulira oluvannyuma lw’okuyambibwa. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abalala bangi okuddamu okubeera n’okwagala era n’obugumu bwe baalina mu kusooka?—Beb. 3:12-14.
15 Abakadde bayinza okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye bayinza okuyambamu abo abalekedde awo okubuulira mu myaka egyakayita. (Mat. 18:12-14) Omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okukebera Kaadi z’Ababuulizi bonna asobole okumanya abo abatakyabuulira. Wasaanidde wabeewo enteekateeka ey’enjawulo okubakyalira n’okubawa obuyambi. Omukadde ayinza okukyalira omubuulizi omu gwe yali amanyi obulungi, oba ababuulizi abalala bayinza okusabibwa okumuyamba. Bayinza okuba nga be baayiga Baibuli n’omubuulizi oyo atakyabuulira era nga bandyagadde okufuna omukisa ogw’okumuyamba mu ngeri ey’enjawulo mu kiseera kino. Kisuubirwa nti bangi ku abo abatakyabuulira bajja kukubirizibwa okuddamu okubuulira ekigambo kya Katonda. Singa baba n’ebisaanyizo, bandibadde batandikirawo okubuulira mu kiseera kino eky’Ekijjukizo!—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2000 okusobola okufuna ebirowoozo ebisingawo.
16 Waliwo Abalala Abatuukiriza Ebisaanyizo eby’Okubuulira? Yakuwa yeeyongera okuwa abantu be omukisa ‘ng’aleeta ebintu ebyegombebwa okuva mu mawanga gonna.’ (Kag. 2:7) Buli mwaka enkumi n’enkumi bafuuka ababuulizi abatali babatize. Be baani abo? Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa n’abayizi ba Baibuli abakulaakulana. Tumanya tutya nti balina ebisaanyizo eby’okukola ng’ababuulizi b’amawulire amalungi?
17 Abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa: Abaana bangi babadde bawerekerako bazadde baabwe okubuulira nnyumba ku nnyumba, wadde nga tebannafuuka babuulizi abatali babatize. Maaki guyinza okubabeerera omwezi omulungi okubayamba okufuuka ababuulizi. Oyinza otya okumanya obanga omwana wo atuukiriza ebisaanyizo by’okubuulira? Olupapula 100 mu katabo Organized to Accomplish Our Ministry luddamu nti “omwana bw’abeera ng’alina empisa ennungi era ng’asobola okwogera n’abalala ku bikwata ku mawulire amalungi, era ng’ekyo kiviira ddala mu mutima gwe.” Bw’oba ng’olowooza nti omwana wo alina ebisaanyizo ebyo, yogerako n’omu ku bakadde ali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza.
18 Abayizi ba Baibuli Abatuukiriza Ebisaanyizo: Omuyizi wa Baibuli bw’aba ng’amaze okufuna okumanya okwetaagisa era ng’ajja mu nkuŋŋaana, ayinza okwagala okufuuka omubuulizi w’Obwakabaka. Bw’oba ng’oyiga Baibuli n’omuyizi oyo, lowooza ku bibuuzo bino: Akulaakulana okusinziira ku myaka gye n’obusobozi bwe? Atandise okubuulira abalala by’ayiga? ‘Ayambadde omuntu omuggya’? (Bak. 3:10) Atuukiriza ebisaanyizo eby’okubeera omubuulizi atali mubatize ebiri ku mpapula 97-9 mu katabo Our Ministry? Bwe kiba bwe kityo, osaanidde okutuukirira Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza enteekateeka esobole okukolebwa abakadde babiri bakusisinkane n’omuyizi wo. Bw’aba ng’alina ebisaanyizo, abakadde abo bajja kumutegeeza nti asobola okutandika okwenyigira mu buweereza.
19 Ate Apuli ne Maayi? Egyo nagyo gijja kuba myezi gya njawulo egy’okwongera okugaziya ku bye tukola mu buweereza bw’ennimiro. Bangi abanaakola nga bapayoniya abawagizi mu Maaki, era bayinza okusobola okuweereza ne mu Apuli ne Maayi. Mu Apuli ne Maayi essira tujja kusinga kulissa ku kugaba magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! mu buweereza bwaffe. Abo abasoma magazini ezo nga bafunye emiganyulo mingi nnyo mu bulamu bwabwe! Magazini ezo zirina kinene nnyo kye zikoze mu kuleetawo okweyongera okw’amaanyi okubaddewo mu nsi yonna. Wajja kubeerawo okufuba okw’enjawulo mu Apuli ne Maayi okuwa abantu bangi nga bwe kisoboka magazini ezo. Kola entegeka kati okusobola okwenyigiramu mu bujjuvu.
20 Okusinziira ku ntegeka yo ey’okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira, wandyagadde okwongera ku bungi bwa magazini z’ofuna okuyitira mu kibiina? Okumalako omwaka gwonna ogw’obuweereza, Tugaba Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! buli Lwamukaaga. Kyokka, okuva abangi bwe bajja okukola nga bapayoniya abawagizi, ate nga ffenna tujja kuba nga tugaba magazini okumala emyezi ebiri, kyandibadde kirungi singa oyongera ku muwendo gwa magazini z’ofuna okuyitira mu kibiina. Bwe kiba bwe kityo, ow’oluganda akola ku magazini mutegeeze nga bukyali. Mu kiseera kye kimu, ow’oluganda akola ku bitabo asaanidde okukakasa nti tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? weeziri mu bungi bonna basobole okuzikozesa.
21 Bangi basiimye nnyo akatundu akabeera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalina omutwe “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini.” Weeyambisizza akatundu ako okusobola okuyiga by’oyinza okwogera ng’ogaba magazini? Lwaki temukozesa ku biseera eby’okuyiga kwammwe okw’amaka buli wiiki okusobola okwegezaamu mu nnyanjula ezo?
22 Kozesa Nnyo Ekiseera Kino eky’Ekijjukizo: Okufaananako omutume Pawulo, ka tulage Yakuwa nti tusiima nnyo ekirabo kye ‘ekitayogerekeka’ nga twenyigira mu bujjuvu mu by’okukola eby’eby’omwoyo ebitegekeddwa okukolebwa mu kiseera kino eky’Ekijjukizo. Ebyo bizingiramu (1) okubeerawo ku mukolo ogusingira ddala obukulu mu mwaka, Eky’Ekiro kya Mukama Waffe ku Lw’Okuna nga Maaki 28, 2002; (2) okuyamba abo abatakyabuulira okuddamu okubeera n’okwagala kwe baalina “olubereberye” (Kub. 2:4; Bar. 12:11); (3) okuyamba abaana baffe n’abayizi baffe aba Baibuli abalina ebisaanyizo okukulaakulana bafuuke ababuulizi abatali babatize; ne (4) okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira nga bwe tusobola nga tukola nga bapayoniya abawagizi mu Maaki ne mu myezi emirala.—2 Tim. 4:5.
23 Kwe kusaba kwaffe nti ffenna tujja kwenyigira mu bujjuvu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu kiseera kino eky’Ekijjukizo, mu ngeri eyo tujja kuba tulaga nti tusiima byonna Yakuwa by’atukoledde.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Enteekateeka Yange ey’Obuweereza mu Maaki 2002
Ssande Bbalaza Lwakubiri Lwakusatu Lwakuna Lwakutaano Lwamukaaga
Day
3 4 5 6 7 8 9
Magazine Day
10 11 12 13 14 15 16
Magazine Day
17 18 19 20 21 22 23
Magazine Day
24 25 26 27 28 29 30
KIJJUKIZO Magazine Day
OLUVANNYUMA LW’EJUBA
31 OKUGWA Oyinza okuteekateeka okukola essaawa 50 osobole okubuulira nga payoniya omuwagizi mu Maaki?