LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/08 lup. 3-6
  • ‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Mulangirire Wonna Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Weeyongere Okubuulira Abalala Ebikolwa bya Yakuwa eby’Ekitalo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Ekiseera ky’Ekijjukizo—Kiseera kya Kubuulira na Bunyiikivu!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 1/08 lup. 3-6

‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi’

1. Mawulire ki amalungi ge tulina okubuulira abalala?

1 Olw’okuba si kyangu okufuna amawulire amalungi mu nsi eno, tulina enkizo ‘ey’okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi ag’ekisa kya Katonda ekitatugwanira.’ (Bik. 20:24) Kino kizingiramu okutegeeza abantu nti mu kiseera ekitali kya wala ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zijja kukoma era waddewo ensi ya Yakuwa empya ey’obutuukirivu, ng’era mu kiseera ekyo ‘eby’olubereberye biriba biweddewo.’ (2 Tim. 3:1-5; Kub. 21:4) Mu kiseera ekyo obulwadde buliba tebukyaliwo. (Is. 33:24) Abaagalwa baffe abaafa bajja kuzuukira era baddemu okubeera n’ab’omu maka gaabwe awamu n’emikwano gyabwe. (Yok. 5:28, 29) Ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda olulungi. (Is. 65:21-23) Gano ge gamu ku mawulire amalungi ge tulina okubuulira abalala!

2. Lwaki tujja kuba n’akakisa ak’enjawulo okubuulira amawulire amalungi mu kiseera ky’Ekijjukizo?

2 Mu mwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi tujja kuba n’akakisa ak’enjawulo okulangirira amawulire amalungi. Mu myezi gino embeera y’obudde mu bitundu by’ensi bingi eba nnungi, nga kino kijja kutusobozesa okumala ebiseera ebiwerako mu buweereza bw’ennimiro. Okugatta ku ekyo, omukolo gw’Ekijjukizo ogusingayo obukulu mu mwaka, gujja kukwatibwa mu nsi yonna ku Lwomukaaga nga Maaki 22 oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Kino kye kiseera okutandika okukola enteekateeka ez’okugaziya ku buweereza bwaffe.

3. Tuyinza tutya okugaziya ku buweereza bwaffe ng’amaka?

3 Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi: Osobola okukola enteekateeka n’oweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu oba ebiri, oba gyonna esatu? Lwaki temufissaawo akaseera mu kusoma kwammwe okw’amaka okunaddako, ne mukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno? Bwe mukolaganira awamu, omu ku mmwe oba n’okusingawo ayinza okusobola okuweereza nga payoniya omuwagizi. (Nge. 15:22) Ensonga eno bwe munaagiteeka mu kusaba, Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwammwe. (Nge. 16:3) Ne bwe kiba nti tewali n’omu ku b’omu maka gammwe asobola okuweereza nga payoniya omuwagizi, ab’omu maka bonna basobola okussaawo ebiruubirirwa eby’okugaziya ku buweereza bwabwe nga bakolera wamu n’abo abasobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi.

4. Bwe tuba n’omulimu ogw’ekiseera kyonna, nteekateeka ki ze tuyinza okukola ne tusobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi?

4 Bw’oba ng’olina omulimu ogw’ekiseera kyonna, bw’okola enteekateeka ennungi kiyinza okukusobozesa okuweereza nga payoniya omuwagizi. Oboolyawo osobola okukozesa ebimu ku biseera byo eby’ekyemisana okubuulira amawulire amalungi. Oba oyinza okufuna ekitundu ekiri okumpi n’awaka wo oba ne gy’okolera n’osobola okubuulira essaawo ng’emu oba n’okusingawo nga tonnagenda ku mulimu oba ng’ovuddeyo. Oboolyawo oyinza okwongera ku budde obw’okubuulira nga weerekereza ebintu ebimu ebitali bikulu nnyo n’obikola mu myezi emirala, oba ng’obuulira olunaku lwonna ku wiikendi. Abamu basobodde okwenyigira mu buweereza obw’ennimiro nga bakozesa olunaku lumu oba biri ku nnaku zaabwe ez’okuwummula.

5. Tuyinza tutya okuyamba ab’oluganda abakaddiye n’abo abalina obunafu mu mubiri okuweereza nga bapayoniya abawagizi?

5 Bw’oba ng’oli mukadde oba ng’olina obunafu mu mubiri, oyinza okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’obuulira essaawa entonotono buli lunaku. Saba Yakuwa akuwe ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’ (2 Kol. 4:7) Mwannyinaffe omu yasobola okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’alina emyaka 106! Ng’ayambibwako eb’eŋŋanda ze Abakristaayo awamu n’abalala mu kibiina, yasobola okubuulira nnyumba ku nnyumba, yaddiŋŋana abo abaalaga okusiima, yayigiriza abantu Baibuli, era yeenyigira ne mu ngeri endala ez’obuweereza. Yayamba abantu kumi okutandika okuyiga Baibuli. Mwannyinaffe oyo agamba nti, “Bwe ndowooza ku nkizo ey’ekitalo gye nnafuna ey’okuweereza nga payoniya omuwagizi, muli mpulira nga nneeyongedde okwagala n’okusiima Yakuwa n’ekibiina kye awamu n’Omwana we. Mazima ddala nneebaza nnyo Yakuwa!”

6. Abavubuka ababatize abakyasoma, bayinza batya okuweereza nga payoniya abawagizi?

6 Bw’oba ng’oli muvubuka omubatize akyasoma, naawe osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi. Okufaananako abo abalina omulimu ogw’ekiseera kyonna, oboolyawo ojja kwenyigira mu buweereza okusingira ddala mu nnaku za wiikendi. Mu nnaku ezimu, oyinza okubuulirayo essaawa ng’emu oba n’okusingawo ng’ovudde ku ssomero. Waliwo oluwummula lw’oyinza okukozesa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro? Bw’oba nga wandyagadde okuweereza nga payoniya omuwagizi, yogerako ne bazadde bo.

7. Abakadde bayinza batya okuleetera abalala okukola ekisingawo mu buweereza mu kiseera ky’Ekijjukizo?

7 Mukubirize Abalala: Ekyokulabirako ky’abakadde kisobola okuleetera abalala okwagala okuweereza nga bapayoniya abawagizi. (1 Peet. 5:2, 3) Basobola okukola enteekateeka ne wabaawo enkuŋŋaana endala ez’okugenda mu nnimiro ku lw’abo abaagala okubuulira ku makya, nga bavudde ku ssomero, oba nga bavudde ku mulimu. Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okulaba nti ababuulizi abalina ebisaanyizo bakubiriza enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro era nti waliwo ekitundu eky’okubuuliramu ekimala awamu ne magazini n’ebitabo eby’okukozesa mu myezi egyo gyonna.

8. Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyaliwo mu kibiina ekimu?

8 Mu kibiina ekimu, abakadde baatandika okukubiriza ab’oluganda okuweereza nga bapayoniya abawagizi nga wakyabulayo emyezi egiwerako. Buli wiiki baategeezanga ekibiina abo ababanga bakkiriziddwa okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Kino kyaleetera abo abaali baagala okugaziya ku buweereza bwabwe okuba abakakafu nti bandifunye ab’okukola nabo mu buweereza bw’ennimiro. Waateekebwawo enkuŋŋaana endala ez’okugenda mu nnimiro mu biseera eby’oku makya n’olw’eggulo. N’ekyavaamu, ababuulizi 53 beewaayo okukola nga bapayoniya abawagizi mu mwezi gwa Apuli, era ng’omuwendo ogwo gwali kumpi ekitundu kimu kya kubiri eky’ababuulizi abaali mu kibiina ekyo!

9. Lwaki ekiseera ky’Ekijjukizo kyandibadde kirungi nnyo eri abo abatuukiriza ebisaanyizo eby’okutandika okubuulira amawulire amalungi?

9 Yamba Abalala Okubuulira: Abapya n’abavubuka bwe batuukiriza ebisaanyizo eby’okubuulira, bayinza okusabibwa okubuulira awamu n’ababuulizi abalina obumanyirivu. Omukisa ng’ogwo bayinza okugufuna mu kiseera eky’Ekijjukizo abangi mu kibiina lwe bafuba ennyo okugaziya ku buweereza bwabwe. Olina omuyizi wa Baibuli akulaakulana era eyeeyisa mu ngeri etuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu? Olina abaana abeeyisa obulungi era abakulaakulana naye nga tebannafuuka babuulizi? Bwe kiba nti abali ng’abo baagala okufuuka ababuulizi abatali babatize era ng’owulira nti batuukiriza ebisaanyizo, tegeeza omu ku bakadde. Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde ajja kukola enteekateeka abakadde babiri bakubaganye ebirowoozo n’omwana wo oba n’omuyizi wo ng’ali wamu naawe.

10. Kiki abakadde kye bayinza okukola okusobola okuyamba abo abatakyabuulira?

10 Ekiseera ky’Ekijjukizo kyandibadde kirungi nnyo n’eri abo abatakyabuulira okuddamu okubuulira awamu n’ekibiina. Abalabirizi Abakubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina n’abakadde abalala basaanidde okufuba okukyalira abalinga abo era n’okubasaba okubuulirako awamu nabo. Bwe baba nga bamaze ebbanga ddene nga tebabuulira, abakadde babiri basaanidde okwogerako nabo balabe obanga bakyatuukiriza ebisaanyizo.​—km 11/00 lup. 3.

11. Kintu ki ekisingira ddala okwoleka ‘ekisa kya Katonda ekitatugwanira?’

11 Weetegekere Ekijjukizo: Ekinunulo kye kintu ekisingira ddala okwoleka ‘ekisa kya Katonda ekitatugwanira.’ (Bik. 20:24) Okwetooloola ensi yonna, obukadde n’obukadde bw’abantu abasiima ekirabo ekyo bajja kukuŋŋaana wamu okukwata Ekijjukizo ky’Okufa kwa Kristo ku Lwomukaaga nga Maaki 22, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Twagala okuyita era n’okuyamba abantu abeesimbu okubaawo ku mukolo guno omukulu ennyo oguwa obujulirwa ku kisa kya Yakuwa ekitatugwanira.

12. Ani gwe tusaanidde okuyita okubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo?

12 Kola olukalala lw’abantu b’oyagala okuyita. Awatali kubuusabuusa olukalala lwo lujja kubaako ab’eŋŋanda zo, baliraanwa bo, mikwano gyo b’okola nabo oba b’osoma nabo, abo abaaliko abayizi bo aba Baibuli n’abo b’osoma nabo Baibuli, awamu n’abalala b’otera okukyalira. Abamu ku abo b’onooyita bwe banaaba n’ebibuuzo ebikwata ku Kijjukizo, oyinza okukozesa ekitundu eky’ebyongerezeddwako ekyogera ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe ekiri ku lupapula 206-8 mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kino kiyinza n’okukusobozesa okutandika okuyiga nabo Baibuli, okuva bwe kiri nti kijja kukuwa akakisa okubanjulira akatabo ke tukozesa okuyigiriza abantu Baibuli.

13. Yakuwa yawa atya omukisa okufuba kw’ababuulizi ababiri abaayita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

13 Mwannyinaffe omu yakola olukalala lw’amaka 48 ge yali ayagala okuyita. Buli maka ge yamalanga okuyita yagalambangako, era ku bbali awo n’awandiikawo ennaku z’omwezi z’agayitiddeko. Nga kyamusanyusa nnyo abantu 26 ku abo be yayita bwe bajja ku Kijjukizo! Ow’oluganda omu alina edduuka yayita omukozi we omu eyaliko kabona. Omusajja oyo yajja ku mukolo gw’Ekijjukizo era oluvannyuma yagamba nti, “Mu ssaawa emu yokka, nnayiga bingi ebikwata ku Baibuli okusinga ebyo bye nnayiga mu myaka 30 gye nnamala mu ddiini y’Ekikatuliki.” Amangu ddala ng’Ekijjukizo kiwedde, yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza.

14. Kaweefube ki ow’ensi yonna ajja okutandika nga Maaki 1?

14 Kaweefube: Okuva ku Lwomukaaga, nga Maaki 1 okutuukira ddala nga Maaki 22, obupapula obw’enjawulo obuyita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo bujja kugabibwa mu nsi yonna. Ffenna tujja kwenyigira mu kaweefube ono omukulu ennyo. Kiba kirungi akapapula kano n’okakwasa nnyinimu mu kifo ky’okukaleka obulesi mu maka ge. Wadde kiri kityo, bwe muba n’ekitundu ekinene eky’okubuuliramu, abakadde bayinza okulaba nga kyetaagisa ababuulizi okuleka obupapula obwo mu maka gye baba batasanze bantu. Ku nnaku za wiikendi tujja kugaba ne magazini.

15. Biki bye tuyinza okwogera nga tugaba akapapula akayita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjuzo?

15 Okuva bwe kiri nti tulina ekiseera kitono eky’okugabiramu obupapula buno, kiba kirungi ne tukozesa ennyanjula ennyimpimpi. Yoleka omukwano n’ebbugumu. Oyinza okugamba bw’oti: “Tukuyita awamu n’ab’omu maka go ne mikwano gyo okubaawo ku mukolo omukulu ennyo ogunaabaawo nga Maaki 22. Kano ke kapapula ko akakuyita okubaawo. Ebisingawo ojja kubisanga mu kapapula kano.” Nnyinimu ayinza okuba n’ebibuuzo, oba ayinza okukkiriza akapapula ako era n’asuubiza okujja ku mukolo ogwo. Wandiika abo abalaze okusiima era okole enteekateeka okubaddira.

16. Kyakulabirako ki ekiraga omugaso oguli mu kuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo?

16 Omwaka oguwedde omujaasi omu yasanga akapapula akayita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo nga kateekeddwa ku luggi lw’ennyumba ye. Yasalawo okubeerawo ku mukolo ogwo naye kyali kimwetaagisa okufuna olukusa okuva eri mukama we. Bwe yalaga mukama we akapapula ako, mukama we yasooka n’asiriikiriramu n’oluvannyuma n’amugamba nti bazadde be Bajulirwa ba Yakuwa era nti yagendanga nabo mu nkuŋŋaana. Mukama we ono teyakoma ku kumuwa lukusa naye era yagenda naye ku mukolo ogwo.

17. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekisa kya Katonda ekitatugwanira?

17 Laga Okusiima: Ng’Ekijjukizo ky’omwaka 2008 kinaatera okutuuka, ka buli omu ku ffe afumiitirize ku kisa ekitatugwanira Yakuwa kye yatulaga. Omutume Pawulo yawandiika bw’ati: “Tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda.” (2 Kol. 6:1) Tuyinza tutya okukyoleka nti tusiima ekisa kya Katonda ekitatugwanira? Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Naye mu byonna tulaga nti tuli baweereza ba Katonda.’ (2 Kol. 6:4) N’olwekyo, tulaga nti tusiima ekirabo kya Yakuwa kino nga tweyisa bulungi era nga tubuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi. Mu kiseera kino eky’Ekijjukizo tujja kuba n’omukisa ogw’enjawulo okugaziya ku buweereza bwaffe, nga tubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi.

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Baani Abayinza Okuweereza nga Bapayoniya Abawagizi?

◼ Amaka

◼ Abalina omulimu ogw’ekiseera kyonna

◼ Abakaddiye n’abo abalina obunafu mu mubiri

◼ Abasoma

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Bwe Tuba Tugaba Obupapula Obuyita Abantu Okubaawo ku Kijjukizo:

◼ Yogera n’ebbugumu era mu bufunze

◼ Wandiika abo abalaga okusiima era obaddire

◼ Gaba magazini ku wiikendi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share