Ekiseera ky’Ekijjukizo—Kiseera kya Kubuulira na Bunyiikivu!
1. Nsonga ki ezandituleetedde okugaziya ku buweereza bwaffe mu Maaki, Apuli, ne Maayi?
1 Onoogaziya ku buweereza bwo mu kiseera ky’Ekijjukizo? Ababuulizi abamu bajja kuba bawummudde okuva ku mirimu oba ku ssomero ekijja okubasobozesa okukozesa ekiseera ekyo okwenyigira mu buweereza mu bujjuvu. Okuva nga Apuli 2, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okuyita abantu okutwegattako nga tukuza omukolo gw’Ekijjukizo nga Apuli 17. Oluvannyuma, tujja kufuba okukulaakulanya okwagala kw’abo abanaaba bazze ku Kijjukizo era tubayite okuwuliriza okwogera okw’enjawulo okujja okuweebwa mu wiiki etandika nga Apuli 25. Mu butuufu, waliwo ensonga nnyingi ezandituleetedde okugaziya ku buweereza bwaffe mu Maaki, Apuli, ne Maayi.
2. Emu ku ngeri ezisingayo obulungi gye tuyinza okugaziyaamu obuweereza bwaffe y’eruwa?
2 Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi: Emu ku ngeri ezisingayo obulungi gye tuyinza okugaziyaamu obuweereza bwaffe kwe kuweereza nga payoniya omuwagizi. Okuva bwe kiri nti ffenna tulina eby’okukola bingi, kino kyetaagisa okweteekateeka nga bukyali n’okukola enkyukakyuka mu nteekateeka yaffe. (Nge. 21:5) Oboolyawo ebintu ebimu ebitali bikulu nnyo bye wandikoze mu kiseera ky’Ekijjukizo oyinza okubikola mu kiseera eky’omu maaso. (Baf. 1:9-11) Lwaki tobuulirako abalala abali mu kibiina kyo nti oyagala okuweereza nga payoniya omuwagizi olabe obanga bayinza okukwegattako?
3. Amaka gayinza kukola nteekateeka ki okugaziya ku buweereza?
3 Mu Kusinza kwammwe okw’Amaka okunaddako kyandibadde kirungi ne mukubaganya ebirowoozo ku biruubirirwa byammwe ng’amaka. (Nge. 15:22) Bwe mukolera awamu, oboolyawo abamu mu maka gammwe bayinza okuweereza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi gumu oba okusingawo. Watya singa mulaba nga ekyo tekisoboka? Ab’omu maka bayinza okukola enteekateeka okugaziya ku buweereza bwabwe nga babuulira olweggulo oba nga bamala ekiseera kiwanvuko nga babuulira ku wiikendi.
4. Mikisa ki gye tunaafuna olw’okugaziya obuweereza bwaffe mu kiseera eky’Ekijjukizo?
4 Yakuwa alaba era asiima okwefiiriza kwe tukola nga tumuweereza. (Beb. 6:10) Essanyu erya nnamaddala liva mu kuwa Yakuwa n’okugabira abalala. (1 Byom. 29:9; Bik. 20:35) Onoogaziya ku buweereza bwo mu kiseera eky’Ekijjukizo osobole okweyongera okufuna essanyu n’emikisa?