Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 21
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 21
Oluyimba 97 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 31 ¶1-9 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Nekkemiya 12-13 (Ddak. 10)
Na. 1: Nekkemiya 13:15-22 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Kye Kitegeeza Okwemalira ku Yakuwa Katonda—Kuv. 20:5 (Ddak. 5)
Na. 3: Yokaana 5:18 Lulina Makulu ki?—rs-E lup. 214 ¶4-5 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Yakuwa Talireka Batukuvu Be. (Zab. 37:28) Kukubaganya birowoozo okwesigamiziddwa ku katabo 2010 Yearbook, olupapula 149, katundu 2, okutuuka ku lupapula 150, akatundu 4; n’olupapula 175, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 179, katundu 5, nga totwaliddemu ebyo ebiri ku lupapula 176 ne 177. Ng’omaze okwogera ku buli kyakulabirako, saba abawuliriza boogere ebyo bye bayize.
Ddak. 10: Okufundikira Obulungi ng’Oli mu Buweereza. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 221, akatundu 5, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 222. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa ensonga eziweereddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: “Tujja Kusoma Akatabo ‘Essanyu mu Maka.’” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 31 n’Okusaba