Tujja Kusoma Akatabo “Essanyu mu Maka”
1. Katabo ki ke tujja okusoma mu Kusoma Bayibuli okw’Ekibiina mu wiiki etandika nga Maaki 14?
1 Mujja kuba basanyufu okukimanya nti mu wiiki etandika nga Maaki 14, 2011, tujja kutandika okusoma akatabo Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka mu Kusoma Bayibuli okw’Ekibiina. Tewali n’omu yandyagadde kusubwa kusoma kuno okw’ekibiina okuwa obulagirizi obw’omu Byawandiikibwa obuyamba amaka okubeera amasanyufu. Enteekateeka y’okusoma kuno ejja kutusobozesa okwekenneenya obulungi buli katundu na buli Kyawandiikibwa ekiri mu katabo kano.
2. Ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo buli wiiki bijja kuba byenkana wa, era lwaki?
2 Essuula z’akatabo kano zijja kugabanyizibwamu ebitundu ebitonotono ebijja okusomebwa buli wiiki. N’olwekyo, tujja kuba n’ebiseera ebimala okusoma n’okukubaganya ebirowoozo ku byawandiikibwa byonna ebiweereddwa nga kw’otadde n’okwekenneenya engeri gye tuyinza okukolera ku byawandiikibwa ebijuliziddwa mu buli katundu. Ekintu ekikulu ekijja okuba mu kusoma kuno kwe kukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kasanduuko akali ku nkomerero ya buli ssuula. N’olwekyo, wajja kubaawo ebiseera ebimala okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa mu kasanduuko.
3. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma akatabo kano?
3 Abakubiriza Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina bakubirizibwa okuteekateeka obulungi n’okukubiriza bonna nga mw’otwalidde n’abapya okutegeka obulungi, okubaawo mu lukuŋŋaana luno obutayosa, n’okubaako bye baddamu.—km 10/08 lup. 1 kat. 3.