ESSOMO 39
Okufundikira Obulungi
OYINZA okuba nga by’ogenda okwogerako wabinoonyerezzako bulungi era n’obisengeka bulungi. Oyinza n’okuba nga wategese ennyanjula esikiriza. Kyokka, ku ebyo olina okugattako okufundikira obulungi. Okufundikira obulungi emboozi yo kikulu nnyo. Emirundi egisinga obungi ebigambo by’osembayo okwogera bijjukirwa nnyo. Singa emboozi yo togifundikira bulungi, eyinza obutatuukiriza ekyo ky’oyagala.
Lowooza ku bino: Ng’anaatera okufa, Yoswa alina ebintu ebikulu ennyo bye yategeeza abakadde b’omu Isiraeri. Ng’amaze okubajjukiza engeri Yakuwa gye yali akolaganyeemu ne Isiraeri okuviira ddala mu biseera bya Ibulayimu, Yoswa yafundikira ng’abaddiramu buddizi ebyo bye yali ayogedde? Nedda. Wabula, yakubiriza bw’ati abantu: “Mutyenga Mukama, mumuweerezenga mu mazima awatali bukuusa.” Soma Yoswa 24:14, 15 olabe engeri gye yafundikiramu.
N’engeri omutume Peetero gye yayogeramu eri ekibiina ky’abantu ku mbaga ya Pentekoote 33 C.E. mu Yerusaalemi nga bwe tusoma mu Ebikolwa 2:14-36, nayo yali nnungi nnyo. Okusooka yabannyonnyola nti ekyo kye baali balaba kyali kituukiriza obunnabbi bwa Yoweeri obwayogera nti Katonda yali ajja kufuka omwoyo gwe ku bantu. Ate era yabalaga engeri kino gye kyali kikwataganamu n’obunnabbi obuli mu Zabbuli obukwata ku kuzuukizibwa kwa Yesu Kristo era n’okutuuzibwa kwe ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Oluvannyuma, Peetero yafundikira ng’abalaga kye baalina kukola. Yagamba: “Kale mazima ka bamanye ennyumba ya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.” Abaaliwo baabuuza nti: “Abasajja ab’oluganda, tunaakola tutya?” Peetero yabaddamu nti: “Mwenenye mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo.” (Bik. 2:37, 38) Ku lunaku olwo abantu nga 3,000 ku abo abaali bamuwuliriza, bakkiriza amazima agakwata ku Yesu Kristo.
By’Olina Okujjukira. By’oyogera ng’ofundikira birina okuba nga bikwatagana bulungi n’ensonga gy’obadde oyogerako mu mboozi yo yonna. Birina okuba nga biwumbawumbako bulungi ensonga enkulu z’ozze oyogerako. Wadde nga mu kufundikira oyinza okunokolayo ebigambo ebimu mu mutwe gw’emboozi yo, kiyinza obutakwetaagisa kuddamu kugwogera gwonna nga bwe gubadde.
Okutwalira awamu, ky’oba ogenderera mu kuwa emboozi yo kwe kukubiriza abalala okubaako kye bakolawo nga beeyambisa ebyo bye baba bawulidde. Ekimu ku bigendererwa ebikulu eby’okufundikira emboozi kwe kulaga abawuliriza eky’okukola. Bwe wabadde olonda omutwe gw’emboozi n’ensonga enkulu, walowoozezza ku ngeri by’ogenda okwogerako gye biyinza okuganyulamu abakuwuliriza? Bw’oba wakikoze, kati omanyi bulungi ky’oyagala bakole. Ekiba kisigadde kwe kubalaga kye balina okukola n’engeri ey’okukikolamu.
Ng’oggyeko okulaga abawuliriza kye balina okukola, engeri gy’ofundikiramu erina okubakubiriza okukikola. Olina okubalaga ensonga lwaki balina okukolera ku magezi g’obawadde, n’emiganyulo egiyinza okuvaamu. Singa ebigambo by’okozesa ng’ofundikira obironda n’obwegendereza, abawuliriza bajja kukubirizibwa okukolera ku bye bawulidde.
Ng’ofundikira, by’oyogera birina okukiraga. Ne sipiidi gy’oyogererako esaanidde okuba ng’etuukirawo. Toyogera ng’oyanguyiriza ate oluvannyuma n’osirika mbagirawo. Ku luuyi olulala, tokendeeza ddoboozi. Eddoboozi ly’okozesa lirina kuba nga limala bumazi. Ebigambo by’osembayo okwogera bisaanidde okulaga nti ofundikira. Engeri gy’oyogeramu erina okulaga nti by’oyogera bikulu era ggwe kennyini obikkiririzaamu. Ng’otegeka emboozi yo, weegezeemu engeri gy’onoofundikiramu.
Okufundikira kwandibadde kuwanvu kwenkana wa? Obuwanvu bwakwo tebwandipimiddwa ng’otunuulira biseera byokka. Weewawo tekulina kubeera kuwanvu nnyo. Okufundikira okuwanvu ekimala kwekwo okusobozesa abakuwuliriza okutegeera kye balina okukola. Okufundikira okulimu ebigambo ebitonotono ate nga bitegeerekeka bulungi, kwe kusinga obulungi. Naye ne bwe kubaamu ekyokulabirako ekimpimpi era nga kutegekeddwa bulungi, kuyinza okuba okulungi ennyo. Geraageranya ebigambo ebifundikira ekitabo ky’Omubuulizi ebisangibwa mu Omubuulizi 12:13, 14, n’ebyo Yesu bye yakozesa ng’afundikira Okubuulirira kwe okw’Oku Lusozi ebisangibwa mu Matayo 7:24-27.
Mu Buweereza bw’Ennimiro. Tewali walala we kikwetaagisiza kufundikira by’oba oyogedde emirundi mingi nga bwe kibeera mu buweereza bw’ennimiro. Singa weeteekateeka bulungi era n’olaga nti abantu b’oyogera nabo obafaako, ojja kufundikira mu ngeri ennungi. Bw’onookozesa amagezi agakuweereddwa mu ssomo lino, ojja kufundikira bulungi ne bw’onooba ng’oli mu buweereza obw’ennimiro.
Singa omuntu aba talina budde osobola okukozesa eddakiika emu yokka okunyumyako naye. Oyinza okumugamba: “Ndaba olina eby’okukola bingi. Naye waliwo ekintu kitono kye njagala okukutegeeza. Baibuli eraga nti Omutonzi waffe alina ekigendererwa eky’okufuula ensi eno Olusuku olulungi abantu mwe bayinza okubeera emirembe gyonna. Kisoboka okubeera mu Lusuku olwo naye kitwetaagisa okuyiga ebyo Katonda by’atwetaagisa.” Oba, oyinza okumusaba okomewo olulala ng’alinawo akadde.
Singa omuntu takukkiriza kubaako ky’oyogera oba n’akukambuwalira, okyayinza okubaako eky’omugaso ky’okolawo. Jjukira okubuulirira okuli mu Matayo 10:12, 13 ne mu Abaruumi 12:17, 18. Singa obeera mukkakkamu, kiyinza okukyusa endowooza omuntu oyo gy’abadde nayo ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kijja kuba kirungi.
Ku luuyi olulala, nnyinimu ayinza okuba ng’awulirizza bulungi. Lwaki toddamu n’omutegeeza ensonga gy’oyagala ajjukire? Baako ky’oyogera ekinaamukubiriza okubaako ky’akolawo ku by’omugambye.
Singa olaba nga kijja kusoboka okuddamu okukubaganya naye ebirowoozo omulundi omulala, kola naye enteekateeka. Mubuuzeeyo ekibuuzo—oboolyawo ekiddibwamu mu katabo Reasoning From the Scriptures oba mu katabo akalala konna akakozesebwa okuyigiriza abantu Baibuli. Beera n’ekiruubirirwa Yesu kye yayogerako mu Matayo 28:19, 20.
Mutuuse ku nkomerero y’ekitundu ky’obadde osoma n’omuntu? Okuddamu okumutegeeza omutwe gwakyo kisobola okumuyamba okujjukira bye muyize. Ate era, singa obaako ebibuuzo eby’okwejjukanya by’omubuuza, kijja kumuyamba okujjukira ensonga enkulu naddala singa okwejjukanya okwo tokukola ng’oyanguyiriza. Okubuuza omuyizi engeri gy’aganyuddwa mu ebyo bye musomyeko oba engeri gy’asobola okubibuulirako abalala kiyinza okumuyamba okukitegeera nti asaanidde okussa mu nkola by’ayiga.—Nge. 4:7.
Jjukira nti okufundikira kulina engeri gye kukwataganyamu awamu byonna by’obadde oyogerako.