ESSOMO 14
Okuggyayo Ensonga Enkulu
Abebbulaniya 8:1
MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okugoberera by’oyogera era n’okulaba engeri buli nsonga enkulu gy’ekwataganamu n’omutwe awamu n’ekigendererwa ky’emboozi yo.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Beera n’ekigendererwa. Manya ekigendererwa ky’emboozi yo, era ogikulaakulanye ng’osinziira ku kigendererwa ekyo. Kakasa nti buli nsonga enkulu ekuyamba okutuuka ku kigendererwa ekyo.
Ggumiza omutwe gw’emboozi yo. Bw’oba owa emboozi, ggumiza omutwe gwayo ng’okozesa ebigambo ebikulu ebiri mu mutwe ogwo, oba ebigambo ebirala ebirina amakulu ge gamu.
Ggyayo bulungi ensonga enkulu. Londa ensonga enkulu ezikwatagana n’omutwe gw’emboozi, era z’osobola okunnyonnyola obulungi mu budde obukuweereddwa. Tobeera na nsonga nkulu nnyingi; buli nsonga enkulu gyogere, siriikiriramu ng’ova ku nsonga emu okudda ku ndala, era laga engeri gye zikwataganamu.