LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 37 lup. 212-lup. 214 kat. 5
  • Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okuggyayo Ensonga Enkulu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ddamu Ofumiitirize ku Nsonga Enkulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okukozesa Ebikuweereddwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 37 lup. 212-lup. 214 kat. 5

ESSOMO 37

Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu

Kiki ky’osaanidde okukola?

Sengeka emboozi yo era ogiwe ng’oggyayo bulungi ensonga enkulu.

Lwaki Kikulu?

Kiyamba abakuwuliriza okujjukira ensonga enkulu, okuzifumiitirizaako era n’okuzissa mu nkola.

ENSONGA enkulu mu mboozi ze ziruwa? Si bye birowoozo by’oyogerako obwogezi ekitonotono. Wabula bye birowoozo ebikulu by’onnyonnyolera ddala. Bino biba birina okukuyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyo.

Ekinaakuyamba okuggyayo obulungi ensonga enkulu, kwe kuzironda era n’okuzisengeka obulungi. Bw’okola okunoonyereza, oyinza okufuna ebintu bingi kyokka nga tosobola kubyeyambisa byonna mu mboozi yo. Onoosinziira ku ki okulondawo by’onookozesa?

Ekisooka, lowooza ku bagenda okukuwuliriza. Ensonga gy’ogenda okwogerako balina kye bagimanyiiko oba nedda? Abasinga obungi bakkiriziganya n’ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyo oba bakibuusabuusa? Bizibu ki bye basanga mu bulamu bwabwe nga bagezaako okukolera ku magezi Baibuli geewa ku nsonga eyo? Eky’okubiri, kakasa nti otegeerera ddala bulungi ekiruubirirwa ky’oyagala okutuukiriza ng’oyogera ku nsonga eyo. Ng’olowooza ku bintu bino ebibiri, yitaayita mu by’onoonyerezzaako olondemu ebyo byokka ebituukirawo.

Singa oba oweereddwa ekiwandiiko ky’emboozi okuli omutwe n’ensonga enkulu ez’emboozi, osaanidde okukigoberera. Kyokka, by’oyogera bijja kuganyula nnyo abakuwuliriza singa onoogoberera amagezi agaweereddwa waggulu ng’onnyonnyola ensonga enkulu. Singa oba toweereddwa kiwandiiko kya mboozi, ggwe oba olina okwerondera ensonga enkulu.

Bw’oba ng’otegedde bulungi ensonga zo enkulu era n’ozisengeka bulungi, kijja kukwanguyira okuwa emboozi yo. Era n’abakuwuliriza bajja kuganyulwa nnyo.

Engeri ez’Enjawulo gy’Oyinza Okusengekamu Emboozi Yo. Osobola okusengeka emboozi yo mu ngeri nnyingi. Era bwe weemanyiiza engeri ezo, ojja kukisanga nti osobola okweyambisa eziwerako okusinziira ku kiruubirirwa ky’oba nakyo.

Emu ku zo, kwe kugenda ng’onnyonnyola ensonga enkulu kinneemu. (Buli emu ku nsonga ezo eba ya mugaso kubanga esobozesa abawuliriza okutegeera obulungi ky’oyogerako, ate era ekuyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyo.) Engeri ey’okubiri, kwe kusengeka ebintu mu ngeri gye by’agenda biddiriŋŋanamu. (Ng’ekyokulabirako, oyinza okutandika ng’oyogera ku byaliwo ng’Amataba tegannajja, n’ozzaako ebyo ebyaliwo nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa mu 70 C.E., ate n’osembyayo ebiriwo mu kiseera kyaffe.) Engeri ey’okusatu, kwe kwogera ku kintu n’ensonga lwaki weekiri. (Ng’ekyokulabirako, oyinza okwogera ku mbeera eriwo, engeri gy’etukwatako, ate oluvannyuma n’olaga ekigireeseewo.) Engeri ey’okuna, kwe kulaga enjawulo eriwo wakati w’ebintu ebibiri. (Oyinza okulaga enjawulo eriwo wakati w’ekirungi n’ekibi.) Oluusi oyinza okweyambisa engeri eziwerako ku ezo ezimenyeddwa ng’owa emboozi yo.

Mu kwogera kwe bwe yali ng’avunaanibwa eby’obulimba mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, Sutefaano yassengeka ebintu nga bwe byagenda biddiriŋŋanamu. Bw’osoma mu Ebikolwa by’Abatume 7:2-53, ojja kukyetegereza nti ensonga ze yazisengeka bulungi nnyo. Okusooka, Suteefano yayogera ku byafaayo abaali bamuwuliriza bye baali bamanyi obulungi. Awo ate n’alaga nti wadde nga Yusufu baganda be baamuyisa bubi, Katonda yamukozesa okubaggya mu mbeera enzibu. Bwe yava ku ekyo yabalaga nti Abayudaaya baajeemera Musa, Katonda gwe yali ayitiramu okubakulembera. Awo n’afundikira ng’aggumiza nti omwoyo Abayudaaya ab’edda gwe baayoleka gwegwo gwennyini n’abo abatta Yesu Kristo gwe baayoleka.

Toba na Nsonga Nkulu Nnyingi. Emboozi teyeetaagisa kubeeramu nsonga nnyingi. Ensonga enkulu tezitera kusukka mu ttaano emboozi yo k’ebeere ya ddakiika 5, 10, 30 oba n’okusingawo. Togezaako kuggyayo nsonga nnyingi. Abakuwuliriza tebajja kuzijjukira zonna. Emboozi gy’ekoma okuba empanvu, gye kikoma n’okukwetaagisa okunnyonnyola obulungi ensonga enkulu.

Ka kibe nti olina ensonga enkulu mmeka, kakasa nti buli emu oginnyonnyola mu ngeri ematiza. Buli nsonga giwe ekiseera okuginnyonnyola obulungi esobole okutegeerekeka eri abawuliriza.

Emboozi yo esaanidde okuba nga etegeerekeka bulungi. Ekyo tekitera kusinziira ku bungi bw’ebyo by’oyogera. Singa emboozi yo ogyawulamu emitwe mitonotono era emitwe egyo n’oginnyonnyola bulungi, ejja kuba etegeerekeka era tebajja kugyerabira.

Ensonga Zo Enkulu Ziggyeyo Bulungi. Singa obeera osengese bulungi emboozi yo, tekijja kukuzibuwalira kuggyayo nsonga nkulu.

Ekiyinza okukuyamba okuggyayo obulungi ensonga enkulu, kwe kuwa obukakafu obumatiza, okusoma ebyawandiikibwa, n’okwongerako ekirala kyonna ekiyinza okutangaaza ku nsonga eyo. Ebirala byonna by’oyongerezaako birina kuba nga biyamba buyambi okukkaatiriza ensonga enkulu. Toteekamu bintu biteetaagisa ne bwe kiba nti bijja kusesa. Laga abawuliriza engeri ebyo by’oyogera gye bikwataganamu n’ensonga enkulu. Tobaleka kuteeba buteebi ky’otegeeza. Oyinza okulaga engeri gye bikwataganamu ng’oddiŋŋana ebigambo ebimu oba ng’oddamu okuggumiza ensonga enkulu yennyini buli luvannyuma lwa kiseera.

Aboogezi abamu bategeeza ababawuliriza ensonga enkulu eziri mu mboozi gye bagenda okuwa. Wadde ng’engeri eno nnungi, tulina okulonda n’obwegendereza bye tunaayogera era ne tubisengeka mu ngeri etegeerekeka obulungi.

Oyinza okusalawo okusooka okutegeeza abawuliriza ensonga enkulu oluvannyuma n’olyoka oginnyonnyola. Kino kijja kuyamba abakuwuliriza okutegeera by’ogenda okwogerako, ate era kijja kukuyamba okuggumiza ensonga enkulu. Oyinza okwongera okukaatiriza ensonga enkulu ng’ogiwumbawumbako oluvannyuma lw’okuginnyonnyola.

Mu Buweereza bw’Ennimiro. Amagezi agaweereddwa waggulu tegajja kukuyamba ng’owa mboozi mu kibiina lwokka, naye era gajja kukuyamba ng’oyogera n’abantu mu nnimiro. Bw’oba weetegekera ennimiro, lowooza ku kizibu ekikwata ku bantu b’omu kitundu. Londa eky’okwogerako ekinaakusobozesa okulaga essuubi lya Baibuli ku ngeri ekizibu ekyo gye kijja okugonjoolwamu. Londayo ensonga enkulu nga bbiri z’onoggumiza. Funayo ebyawandiikibwa by’onookozesa. Oluvannyuma teekateeka engeri gy’onootandikamu mboozi. Okutegeka mu ngeri eyo kujja kukusobozesa okutuukana obulungi n’embeera y’abo b’oyogera nabo. Ate era kijja kukuyamba okwogera ku kintu abantu kye bajja okujjukira obulungi.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Nga tonnalonda nsonga nkulu mu mboozi, lowooza ku biki abanaakuwuliriza bye bamanyi ku nsonga gy’ogenda okwogerako era manya ekiruubirirwa kyo. Sengeka ensonga zo ng’olina ebyo mu birowoozo.

  • Kakasa nti obukakafu bw’owa, ebyawandiikibwa by’ojuliza, n’ebirala by’okozesa bikwatagana bulungi n’ensonga enkulu.

  • Buli nsonga nkulu giggumize. Kino oyinza okukikola ng’omenya ensonga z’ogenda okwogerako nga tonnazinnyonnyola, oba ng’oddamu okuzoogera oluvannyuma lw’okuzinnyonnyola.

EKY’OKUKOLA: Yita mu kitundu kya Omunaala gw’Omukuumi ekinaasomebwa wiiki eno. Gezaako okuzuula ensonga enkulu ezirimu ng’okozesa emitwe emitono n’ebibuuzo ebiri mu kasanduuko ak’okwejjukanya. Ojja kuganyulwa nnyo bw’onookikola buli wiiki.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share