LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 39-lup. 42
  • Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Wekkaanye, Londa era Sengeka
  • Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okuggyayo Ensonga Enkulu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okutegeka Emboozi ya Bonna
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okukozesa Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 39-lup. 42

Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa

ABANTU bangi bwe baweebwa emboozi, bawandiika byonna bye bagenda okwogera, okuva ku nnyanjula okutuuka ku kufundikira. We bamalira okuteekateeka, nga bagiwandiise emirundi n’emirundi. Ekyo kibatwalako ebiseera bingi.

Naawe bw’otyo bw’otegeka emboozi zo? Wandyagadde okuyiga engeri esingako obwangu? Singa oyiga okukola ekiwandiiko okuzimbirwa emboozi, tekijja kukwetaagisanga kuwandiika byonna by’ogenda okwogera. Ekyo kijja kukusobozesa okufuna ebiseera ebisingawo okwegezaamu. Emboozi yo tejja kukoma ku kukwanguyira kugiwa naye era ejja kunyumira abakuwuliriza era ebakubirize okubaako kye bakolawo.

Kya lwatu, abo abawa emboozi za bonna mu kibiina baweebwa ekiwandiiko okuli ensonga kwe basinziira okutegeka emboozi zaabwe. Kyokka, tekiba bwe kityo ku mboozi ezisinga obungi. Oyinza kuweebwa mutwe gwokka oba ensonga ey’okwogerako. Oba oyinza okusabibwa okwesigamya emboozi yo ku kitundu ekimu okuva mu kitabo. Ate oluusi oyinza kuweebwa bulagirizi obw’okugoberera. Ng’oweereddwa emboozi ez’engeri eyo, oba olina okwekolera ekiwandiiko ekikyo ku bubwo.

[Akasanduuko akali ku lupapula 41]

Ku lupapula 41 kuliko ekyokulabirako ekiraga engeri ekiwandiiko okuzimbirwa emboozi gye kyandifaananyeemu. Weetegereze nti ensonga enkulu ziwandiikiddwa mu nnukuta nnene. Wansi wa buli nsonga nkulu, waliwo ebirowoozo ebigiwagira. Ensonga endala ezigaziya ku birowoozo ebyo ziri wansi waabyo era nga zitandikira mundako. Wekkaanye bulungi ekiwandiiko ekyo. Weetegereze nti ensonga enkulu ebbiri eziriko zikwatagana butereevu n’omutwe. Era weetegereze nti buli kirowoozo ekiri wansi w’ensonga ezo enkulu kyongera okuziwagira.

Ekiwandiiko ky’oyinza okukola ng’otegeka, kiyinza obutafaananira ddala n’ekyo ekiweereddwa mu kyokulabirako. Naye singa ogoberera amagezi agaweereddwa mu katundu akavuddeko, ojja kusobola okutegeka obulungi emboozi yo ate nga tekikutwalidde budde bungi. Wanditandise otya okukola ekiwandiiko kw’onoozimbira emboozi yo?

Wekkaanye, Londa era Sengeka

Weetaaga okufuna omutwe. Omutwe gw’emboozi yo teba nsonga eyinza okuwumbawubibwako mu kigambo kimu kyokka. Omutwe gw’emboozi bye bigambo ebiraga ensonga enkulu gy’onooyogerako, era gwoleka ekinaateekebwako essira mu mboozi yo. Bw’oba oweereddwa omutwe, wekkaanye buli kigambo ekikulu ekigulimu. Bw’oba ogenda kwogera ku mutwe ogwesigamye ku kitundu okuva mu kitabo ekimu, soma ekitundu ekyo ng’olina omutwe ogwo mu birowoozo. Singa obeera otegeezeddwa ensonga ey’okwogerako, awo ggwe oba olina okwerondera omutwe. Kyokka, nga tonnalonda mutwe, kiyinza okuba eky’omuganyulo okusooka okunoonyereza. Ate era, beera mwetegefu okukkiriza ebirowoozo ebirala ebirungi eby’okukozesa.

Ng’ogoberera amagezi ago agaweereddwa waggulu, weebuuze: ‘Lwaki bye ŋŋenda okwogerako bikulu eri abanaabiwuliriza? Nnina kiruubirirwa ki?’ Ekiruubirirwa kyo tekyandibadde kwogera bwogezi ku byonna ebikuweereddwa oba okusesa abakuwuliriza, wabula okwogera ekyo ekinaaganyula abakuwuliriza. Bw’otegeera ky’oyagala okwogerako, kiwandiike. Ate era kirowoozeeko bw’oba ng’otegeka.

Oluvannyuma lw’okutegeera ekiruubirirwa kyo era ng’omaze n’okulonda omutwe ogutuukana nakyo (oba ng’omaze okulaba engeri omutwe ogwakuweereddwa gye gutuukana n’ekiruubirirwa kyo), osobola okutandika okunoonyereza. Essira lisse ku nsonga enkulu ezinaaganyula abawuliriza. Noonyereza ku ebyo byokka ebyetaagisa. Emirundi mingi ojja kufuna bingi okusinga ku ebyo bye weetaaga okukozesa, n’olwekyo kijja kukwetaagisa okwerobozaamu.

Zuula ensonga ezijja okukusobozesa okunnyonnyola omutwe gwo n’okutuukiriza ekiruubirirwa kyo. Ensonga zino z’ojja okusinziirako okukola ekiwandiiko. Ensonga enkulu zandibadde mmeka? Emboozi bw’eba nnyimpimpi ebbiri ziyinza okumala, ate bw’eba mpanvu gamba nga ya ssaawa ng’emu, ensonga nga ttaano ziba zimala. Singa ensonga enkulu teziba nnyingi, kijja kwanguyira abakuwuliriza okuzijjukira.

Ng’omaze okutegeera omutwe gw’emboozi yo n’ensonga enkulu, sengeka by’onoonyerezzaako. Londamu ebyo ebikwatagana obulungi n’ensonga zo enkulu. Gattako ebirala ebinaafuula emboozi yo okuba ennyuvu. Ng’olonda ebyawandiikibwa ebikwatagana n’ensonga enkulu, mu by’onoonyerezza londamu ebirowoozo ebinaakuyamba okunnyonnyola obulungi ebyawandiikibwa ebyo. Buli kirowoozo ekikwatagana n’ensonga enkulu kiwandiike wansi waayo. Singa ebimu biba nga tebikwatagana na nsonga zo enkulu, tobikozesa ne bwe biba nga birungi nnyo, sinakindi osobola okubitereka n’obikozesa omulundi omulala. Weeyambise ebyo byokka ebituukirawo. Singa obeera n’ensonga nnyingi ez’okwogerako, kijja kuba kikwetaagisa okwogera ng’oyanguyiriza era n’engeri gy’ononnyonnyolamu tejja kumatiza bakuwuliriza. Kiba kirungi okwogera ku nsonga ntono ezinaaganyula abakuwuliriza, ate era z’osobola okunnyonnyola obulungi. Tosussa mu biseera ebikuweereddwa.

Kati, tandika okusengeka ensonga zo mu ngeri gye zirina okuddiriŋŋanamu bw’oba obadde tonnakikola. Lukka omuwandiisi w’Enjiri bw’atyo bwe yakola. Oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza ‘yasengeka bulungi’ ensonga ze. (Luk. 1:3) Osobola okusengeka ensonga zo ng’osinziira ku ngeri ebintu gye byagenda biddiriŋŋanamu, oba nga by’onooyogera obiteeka wansi w’emitwe emitonotono, oba ng’osooka okwogera ku kintu ekiriwo oluvannyuma n’olaga ekikiviiriddeko okubaawo, oba ng’osooka okwogera ku kizibu ekiriwo ate n’olaga engeri y’okukigonjoolamu. Oyinza okulonda emu ku ngeri ezo eneekusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Tobuuka bubuusi kuva ku nsonga emu okugenda ku ndala. Abakuwuliriza balina okumanya nti kati ova ku nsonga emu era ogenda ku ndala. By’oyogera byandiyambye abakuwuliriza okutegeera ky’oliko. Ng’osengeka ensonga zo, lowooza ku ngeri emboozi yo gy’eneewulikikamu eri abanaakuwuliriza. Banaayanguyirwa okugoberera by’oyogera? Banaakubirizibwa okukolera ku bye banaawulira?

Ekyo ng’okimaze, teekateeka ennyanjula esikiriza era eneeraga nti by’ogenda okwogerako bya mugaso gye bali. Kiyinza okukuyamba singa sentensi ezisooka oziwandiika. Mu nkomerero, tegeka okufundikira okunaakubiriza abakuwuliriza okubaako kye bakolawo, kyokka nga kutuukana n’ekigendererwa kyo.

Singa otegeka ekiwandiiko kw’onoozimbira emboozi yo nga bukyali, ojja kuba n’ebiseera ebimala okukitereeza nga tonnaba kuwa mboozi yo. Oyinza okulaba nga kyetaagisa okugaziya ku nsonga ezimu ng’owa emiwendo, ekyokulabirako, oba ng’oyogera ku byaliwo. Okwogera ku kintu ekyakabaawo oba ku ekyo ekikwata ku bantu ab’omu kitundu, kiyinza okuyamba abakuwuliriza okulaba omugaso gw’ebyo by’oyogera. Nga bw’ogenda oddamu okuyita mu mboozi yo, oyinza okulaba engeri endala by’otegese gye binaayambamu abakuwuliriza. Kyetaagisa okuddamu okuyita mu kiwandiiko kyo era n’okukirongoosa okusobola okuwa obulungi emboozi yo.

Aboogezi abamu bayinza okwetaaga okuwandiika bingi okusinga abalala. Naye singa osengeka bulungi by’onooyogera, n’oggyamu ebiteetaagisa, ojja kuba tokyetaaga kuwandiika buli kintu. Ekyo nga kiyinza okukuyamba obutayonoona biseera! Ate era n’omutindo gw’emboozi zo gujja kweyongera. Kijja kweyoleka nti ddala oganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

ENGERI Y’OKUKOLAMU EKIWANDIIKO OKUZIMBIRWA EMBOOZI

  • Manya ekiruubirirwa kyo era n’ensonga lwaki ky’ogenda okwogerako kikulu eri abanaakuwuliriza

  • Londa omutwe; bwe guba gukuweereddwa, gwekkaanye

  • Noonyereza ebinaaganyula abawuliriza

  • Londa ensonga zo enkulu

  • Sengeka ensonga z’onookozesa; kozesa ezo zokka ezeetaagisa

  • Tegeka ennyanjula esikiriza

  • Tegeka ebigambo ebifundikira mu ngeri eneekubiriza abakuwuliriza

  • Ddamu oyite mu mboozi yo; yongera okugirongoosa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share