ESSOMO 36
Okukulaakulanya Omutwe
ABANTU abalina obumanyirivu mu kuwa emboozi bamanyi omugaso gw’okuba n’omutwe gw’emboozi. Bwe baba bateekateeka emboozi, omutwe gubayamba obutava ku mulamwa era n’okussa essira ku ekyo kye bagenda okwogerako. Ekivaamu, mu kifo ky’okwogera ku nsonga ennyingi eziteetaagisa, baggumiza ezo zokka ezinaaganyula abawuliriza. Ensonga enkulu bwe ziba zikwatagana bulungi n’omutwe, kisobozesa abawuliriza okumanya obukulu bwazo n’okuzijjukira.
Ojja kukizuula nti emboozi zo zijja kwongera okuganyula abakuwuliriza singa omutwe gw’emboozi ogutwala nga y’ensonga enkulu gy’okulaakulanya. Obwakabaka, Baibuli, n’okuzuukira nsonga ngazi nnyo. Emitwe egitali gimu gisobola okuggibwa mu nsonga ezo. Egimu ku gyo gye gino: “Obwakabaka, Gavumenti ya Ddala,” “Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kufuula Ensi Olusuku Lwe,” “Baibuli Yaluŋŋamizibwa Katonda,” “Baibuli Etuwa Obulagirizi Obulungi mu Kiseera Kyaffe,” “Okuzuukira Kuwa Essuubi Abennyamivu,” “Essuubi ery’Okuzuukira Lituyamba Okusigala nga Tuli Banywevu bwe Twolekagana n’Okuyiganyizibwa.” Emitwe egyo gyonna gikulaakulanyizibwa mu ngeri za njawulo.
Nga kituukagana n’omutwe gwa Baibuli, ebyo Yesu Kristo bye yabuulira byali byesigamiziddwa ku mutwe ogugamba: “Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Mat. 4:17) Omutwe ogwo Yesu yagukulaakulanya atya? Mu Njiri ennya, Obwakabaka obwo bwogerwako emirundi egisukka mu 110. Naye Yesu teyayogera bwogezi kigambo “obwakabaka.” Okuyitira mu ebyo bye yayigiriza n’ebyamagero bye yakola, Yesu yakiraga kaati nti ye yali Masiya, Omwana wa Katonda, gwe yali agenda okuwa Obwakabaka. Ate era Yesu yakiraga nti okuyitira mu ye, ekkubo lyali ligguliddwawo eri abantu abamu okusobola okufugira awamu naye mu Bwakabaka obwo. Yanokolayo engeri ennungi ezirina okukulaakulanyizibwa abo abandiweereddwa enkizo eyo. Mu kuyigiriza kwe n’eby’amagero bye yakola, yalaga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukolera abantu, era n’agamba nti okugoba badayimooni nga yeeyambisa omwoyo gwa Katonda kyali kiwa obukakafu nti ‘Obwakabaka bwa Katonda bwali buzze.’ (Luk. 11:20) Obwo bwe Bwakabaka Yesu bwe yalagira abagoberezi be okulangirira.—Mat. 10:7; 24:14.
Okukozesa Omutwe Ogutuukirawo. Tekiri nti olina okukulaakulanya omutwe gw’emboozi yo nga bwe kiri mu Baibuli, naye kikulu nnyo okuba n’omutwe ogutuukirawo.
Bwe kiba nti gwe olina okwerondera omutwe, sooka weetegereze ekigendererwa ky’emboozi yo. Oluvannyuma bw’oba ng’olonda ensonga enkulu z’onookozesa kakasa nti ziwagira omutwe gw’olonze.
Singa oba oweereddwa omutwe, manya engeri gy’olina okugukulaakulanyamu. Fuba okutegeera ekigendererwa ky’omutwe ogwo. Bw’oba nga gwe weerondera eby’okwogerako, kakasa nti biggumiza bulungi omutwe. Ku luuyi olulala, singa oba oweereddwa eby’okwogerako mu mboozi yo, olina okubikwataganya obulungi n’omutwe. Ate era weetaaga okumanya lwaki by’ogenda okwogerako bikulu eri abanaakuwuliriza awamu n’ekiruubirirwa ky’olina mu kuwa emboozi eyo. Kino kijja kukusobozesa okumanya by’olina okuggumiza mu mboozi yo.
Engeri y’Okuggumizzaamu Omutwe. Okusobola okuggumiza obulungi omutwe, olina okuteekateeka obulungi. Singa okozesa ebyo byokka ebiwagira omutwe gw’emboozi yo era n’ogoberera obulagirizi obukwata ku kukola ekiwandiiko ky’emboozi ekirungi, ojja kusobola okuggumiza omutwe.
Okuddiŋŋana ensonga enkulu kiyamba okuggumiza omutwe. Lowooza ku luyimba olukwata ku mukwano. Mu luyimba lwonna omuyimbi ayogera ku mutwe gwalwo, kwe kugamba, omukwano gw’alina eri omuntu gw’aba ayimbako. Ayinza okuddiŋŋana omutwe ogwo mu ngeri ezitali zimu. Ayinza okukozesa ebigambo ebirala ebirina amakulu ge gamu n’ekigambo “omukwano.” Ayinza n’okukozesa engero ensonge, ebisoko oba ebyokulabirako. Wadde kiri kityo, oluyimba olwo luba lukyali ku nsonga y’emu. N’omutwe gw’emboozi bwe gutyo bwe gusaanidde okuba. Okufaananako ebigambo ebyoleka omukwano ebiddiŋŋanwa mu luyimba lwonna, naawe osobola okuddiŋŋana ebigambo ebikulu ebiri mu mutwe gw’emboozi. Oyinza okukozesa ebigambo ebirala ebirina amakulu ge gamu n’ago agali mu bigambo ebiri mu mutwe gw’emboozi oba n’oddamu okwogera ku mutwe ng’okozesa ebigambo ebirala. Singa okola bw’otyo, ojja kuyamba abakuwuliriza okujjukira omutwe gw’emboozi yo.
Enkola eno tekoma ku kuba ya mugaso ng’owa emboozi lwokka, naye era eganyula ne mu buweereza bw’ennimiro. Emboozi ennyimpimpi ebeera nyangu okujjukira singa omutwe guggumizibwa. Omuyizi wa Baibuli ajja kusobola okujjukira by’oba omuyigirizza singa oggumiza omutwe gwe muba mwogerako. Singa ofuba okulonda emitwe egituukirawo era n’ogikulaakulanya bulungi, ojja kubeera omwogezi omulungi era omuyigiriza omulungi ow’Ekigambo kya Katonda.