LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 31 lup. 372-383
  • “Musemberere Katonda Naye Anaabasemberera”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Musemberere Katonda Naye Anaabasemberera”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza Okwagala Katonda
  • Okuwuliziganya ne Yakuwa
  • Okusinza Yakuwa
  • Okukoppa Yakuwa
  • “Musemberere Katonda Naye Anaabasemberera”
  • Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Sigala ng’Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 31 lup. 372-383
b’oluganda ne bannyinaffe nga bayimba.

ESSUULA 31

“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda, Naye Anaabeera Mukwano Gwo”

1-3. (a) Enkolagana ebaawo wakati w’omuzadde n’omwana omuto etuyigiriza ki ku bantu? (b) Kiki ekibaawo singa omuntu atulaga okwagala, era kibuuzo ki ekikulu kye tuyinza okwebuuza?

ABAZADDE basanyuka okulaba omwana waabwe omuwere ng’amwenya. Batera okusembeza omutwe gwabwe okumpi n’ogw’omwana, ne boogera gy’ali mu ddoboozi erikkakkamu, ng’eno bwe bamwenya. Baba baagala okulaba omwana waabwe ky’anaakola. Mu kaseera katono, omwana waabwe atandika okumwenya. Bw’amwenya aba atandise okulaga bazadde be okwagala nabo kwe bamulaga.

2 Akamwenyumwenyu k’omwana katujjukiza ekintu ekikulu mu bantu. Bwe tulagibwa okwagala, naffe tulaga okwagala. Eyo ye ngeri gye twatondebwamu. (Zabbuli 22:9) Bwe tugenda tukula, tweyongera okulaga okwagala abo abatulaga okwagala. Oboolyawo ojjukira mu buto bwo engeri bazadde bo, ab’eŋŋanda zo, oba mikwano gyo gye baakulagamu okwagala. Muli wawulira ng’obaagala. Okwagala okwo kwagenda kukula naawe n’otandika okubalaga okwagala. Bwe kityo bwe kiri ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda?

3 Bayibuli egamba nti: “Ffe tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Mu Kitundu 1 okutuuka ku 3 mu katabo kano, wakiraba nti Yakuwa Katonda ayoleka amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’amagezi ge mu ngeri ey’okwagala asobole okukuyamba. Mu Kitundu 4, walaba nti alaga abantu bonna era naawe kinnoomu okwagala. Kati wajjawo ekibuuzo. Oyinza okwebuuza nti: ‘Kiki kye nsaanidde okukola okulaga Yakuwa nti mmwagala?’

Kye Kitegeeza Okwagala Katonda

4. Abantu babuzaabuziddwa batya ku kye kitegeeza okwagala Katonda?

4 Yakuwa, Ensibuko y’okwagala, amanyi bulungi nti okwagala kusobola okuleetera abalala okwoleka engeri ennungi. N’olwekyo, wadde ng’abantu abasinga obungi bamujeemedde, mukakafu nti abantu abamu basiima okwagala kwe. Mu butuufu, obukadde n’obukadde bw’abantu bakiraze nti basiima okwagala kwe. Kyokka eky’ennaku, amadiini gabuzaabuzizza abantu ku bikwata ku kwagala Katonda. Abantu bangi nnyo bagamba nti baagala Katonda, naye kirabika balowooza nti okwagala ng’okwo kulagibwa mu bigambo mwokka. Okwagala Katonda kuyinza okutandikira mu bigambo, ng’okwagala omwana kwalaga bazadde be bwe kuyinza okutandikira ku kamwenyumwenyu. Naye okwagala kwe tulina bwe kugenda kweyongera, tulina okukola ekisingawo ku ekyo.

5. Kitegeeza ki okwagala Katonda, era lwaki ekyo kya muganyulo gye tuli?

5 Yakuwa atubuulira kye kitegeeza okumwagala. Ekigambo kye kigamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.” N’olwekyo, okwagala Katonda kuteekwa okulagibwa mu bikolwa. Kyo kituufu nti bangi tebaagala kugondera muntu yenna. Naye olunyiriri olwo era lugamba nti: “Ebiragiro [bya Katonda] tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye byateekebwawo okutuganyula so si okutunyigiriza. (Isaaya 48:17, 18) Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi mingi egituyamba okubeera n’enkolagana ennungi naye. Mu ngeri ki? Ka tulabeyo ebintu bisatu bye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda. Ebintu ebyo bye bino: okuwuliziganya ne Katonda, okumusinza, n’okufuba okumukoppa.

Okuwuliziganya ne Yakuwa

6-8. (a) Tuyinza tutya okuwuliriza Yakuwa? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okunyumirwa okusoma Ebyawandiikibwa?

6 Essuula 1 yatandika egamba nti, “Kuba akafaananyi ng’onyumya ne Katonda!” Twalaba nti waliwo abantu abaanyumyako ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, Musa yanyumya ne Katonda okuyitira mu malayika. Naye ate ffe? Mu kiseera kyaffe Yakuwa tatuma bamalayika kwogera na bantu. Kyokka leero Yakuwa alina engeri ennungi gy’ayitiramu okwogera naffe. Tuyinza tutya okuwuliriza Yakuwa?

7 Olw’okuba “buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda,” tuwuliriza Katonda nga tusoma Ekigambo kye, Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Eyo ye nsonga lwaki omuwandiisi wa Zabbuli yakubiriza abaweereza ba Yakuwa okusomanga Bayibuli “emisana n’ekiro.” (Zabbuli 1:1, 2) Okukola ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo. Kyokka okufuba okwo kuvaamu ebirungi. Nga bwe twalaba mu Ssuula 18, Bayibuli eringa ebbaluwa ey’omuwendo Kitaffe ow’omu ggulu gye yatuwandiikira. N’olwekyo, okugisoma tegwandibadde mugugu. Tulina okufuba okulaba nti tunyumirwa okusoma Bayibuli. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

8 Kuba akafaananyi ku ebyo by’osoma. B’osomako mu Bayibuli batwale ng’abantu aba ddala. Gezaako okutegeera embeera zaabwe n’ebiruubirirwa byabwe. Era lowooza nnyo ku by’osoma, nga weebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Bino bye nsoma binjigiriza ki ku Yakuwa? Ngeri ki eza Yakuwa ze ndabye mu ebyo bye nsomye? Misingi ki Yakuwa gy’ayagala njige, era nnyinza ntya okugikozesa mu bulamu bwange?’ Soma, fumiitiriza, era ssa mu nkola by’oyize. Bw’onookola bw’otyo, Ekigambo kya Katonda kijja kufuuka kiramu gy’oli.—Zabbuli 77:12; Yakobo 1:23-25.

9. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ y’ani, era lwaki kikulu okuwuliriza ‘omuddu’ oyo n’obwegendereza?

9 Yakuwa era ayogera naffe okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Nga Yesu bwe yagamba, abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okutuwa ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu’ mu nnaku zino enzibu, ez’enkomerero. (Matayo 24:45-47) Bwe tusoma ebitabo ebituyamba okufuna okumanya okutuufu okuva mu Bayibuli, era bwe tubaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono, tuba tuliisibwa omuddu oyo. Olw’okuba omuddu oyo Kristo ye yamussaawo, kiba kya magezi okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.” (Lukka 8:18) Tuwuliriza n’obwegendereza kubanga tumanyi nti Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu muddu omwesigwa.

10-12. (a) Lwaki okusaba kirabo kya muwendo okuva eri Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okusaba mu ngeri esanyusa Yakuwa, era lwaki tuli bakakafu nti okusaba kwaffe akutwala nga kwa muwendo?

10 Tulabye nti Yakuwa ayogera naffe. Naye naffe tusobola okwogera naye? Ekyo bwe tukirowoozaako kiyinza okututiisa. Singa wali wa kugezaako okutuukirira omukulembeze w’eggwanga lyo omutegeeze ku bizibu byo, ddala wandisobodde okumutuukirira n’oyogera naye? Oluusi ekyo kiyinza okukuviiramu emitawaana! Mu kiseera kya Eseza ne Moluddekaayi, omuntu yali ayinza okuttibwa olw’okugezaako okutuukirira Kabaka wa Buperusi nga tafunye lukusa. (Eseza 4:10, 11) Kati kiteeberezeemu okugenda mu maaso g’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Bayibuli eraga nti n’abafuzi abasingayo okuba ab’amaanyi bw’obageraageranya naye balinga “amayanzi.” (Isaaya 40:22) Twanditidde okumutuukirira? N’akatono!

11 Yakuwa ataddewo enkola ennyangu ey’okumutuukiriramu, nga kuno kwe kusaba. N’omwana omuto asobola okusaba Yakuwa, okuyitira mu linnya lya Yesu. (Yokaana 14:6; Abebbulaniya 11:6) Ate era okusaba kutusobozesa okumutegeeza byonna ebituli ku mutima, ka bibe ebyo ebitulumya ennyo oba ebituzibuwalira okwogera. (Abaruumi 8:26) Yakuwa tasanyuka bwe twogera naye nga tukozesa ebigambo ebiwuniikiriza oba ebingi ennyo. (Matayo 6:7, 8) Ku luuyi olulala, tateeka kkomo ku kiseera kye tumala nga twogera naye oba emirundi gye twogera naye. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okusabanga obutayosa.’—1 Abassessalonika 5:17.

12 Jjukira nti Yakuwa yekka y’ayitibwa “Awulira okusaba,” era mu butuufu awuliriza essaala zaffe. (Zabbuli 65:2) Essaala z’abaweereza be abeesigwa aziwuliriza buwuliriza kyokka? Nedda. Asanyukira essaala zaabwe. Ekigambo kye kigeraageranya essaala ng’ezo ku bubaani obuvaamu akaloosa akambuka waggulu nga bwokeddwa. (Zabbuli 141:2; Okubikkulirwa 5:8; 8:4) Kizzaamu amaanyi okukimanya nti essaala zaffe zambuka waggulu mu ngeri y’emu, era zisanyusa Mukama Afuga Byonna. N’olwekyo, bw’oba oyagala okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, musabenga buli lunaku. Mweyabize; totya kumutegeeza byonna ebikuli ku mutima. (Zabbuli 62:8) Tegeeza Kitaawo ow’omu ggulu ebikweraliikiriza, ebikusanyusa, ne by’oyagala okumwebaza. Ekyo kijja kuviirako enkolagana yo naye okweyongera okunywera.

Okusinza Yakuwa

13, 14. Kitegeeza ki okusinza Yakuwa, era lwaki kisaanira okumusinza?

13 Bwe tuwuliziganya ne Yakuwa Katonda, tuba tetuwuliriza buwuliriza oba okwogera naye nga bwe twandyogedde ne mukwano gwaffe oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. Tuba tusinza Yakuwa, nga tumuwa ekitiibwa ekimugwanidde. Okusinza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Okusinza okwo ye ngeri gye tulagamu nti twagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna era nti tumwemaliddeko. Era okusinza okwo kugatta wamu ebitonde bya Yakuwa byonna ebyesigwa ebiri ku nsi n’ebiri mu ggulu. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yawulira malayika ng’alangirira nti: “Musinze Oyo eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.”—Okubikkulirwa 14:7.

14 Lwaki tusaanidde okusinza Yakuwa? Lowooza ku ngeri ze twogeddeko mu katabo kano, gamba ng’obutukuvu, amaanyi, okwefuga, obwenkanya, obuvumu, obusaasizi, amagezi, obwetoowaze, okwagala, ekisa, obwesigwa, n’obulungi. Tulabye nti Yakuwa ayoleka buli emu ku ngeri ezo ku kigero ekisingirayo ddala okuba ekya waggulu. Bwe tutegeera engeri ze zonna awamu, tumanya nti wa kitiibwa nnyo era atusingira wala nnyo. (Isaaya 55:9) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa y’agwanidde okuba Omufuzi waffe, era tuteekeddwa okumusinza. Naye tusaanidde kumusinza tutya?

15. Tuyinza tutya okusinza Yakuwa “mu mwoyo n’amazima,” era kakisa ki ke tufuna nga tuzze mu nkuŋŋaana?

15 Yesu yagamba nti: “Katonda Mwoyo, n’abo abamusinza bateekwa okumusinza mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Okusinza Katonda mu “mwoyo” tulina okuba n’omwoyo gwe era nga tukolera ku bulagirizi bwagwo. Era okusinza okwo kulina okuba nga kutuukagana n’okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda. Tulina enkizo ya maanyi nnyo okusinza Yakuwa “mu mwoyo n’amazima” buli lwe tukuŋŋaana awamu ne basinza bannaffe. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe tuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa, ne tusaba nga tuli wamu, ne tuwuliriza era ne tukubaganya ebirowoozo ku Kigambo kye, tuba tumusinza mu ngeri gy’ayagala tumusinzeemu.

Mu nkuŋŋaana tufuna akakisa okukiraga nti twagala Yakuwa era nti tumussaamu ekitiibwa

16. Ekimu ku biragiro ebisingayo obukulu ebyaweebwa Abakristaayo ab’amazima kye kiruwa, era lwaki tulina okukigondera?

16 Ate era, tuba tusinza Yakuwa bwe tubuulira abalala ebimukwatako. (Abebbulaniya 13:15) Mu butuufu, okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Yakuwa kye kimu ku biragiro ebisingayo obukulu ebyaweebwa Abakristaayo ab’amazima. (Matayo 24:14) Tugondera etteeka eryo kyeyagalire kubanga twagala Yakuwa. Bwe tulowooza ku ngeri Sitaani Omulyolyomi, “katonda w’ensi eno,” ‘gy’azibyemu amaaso g’abatakkiriza,’ ng’ayogera eby’obulimba ku Yakuwa, tuba twagala okuwa obujulirwa ku Katonda, tukirage nti Sitaani by’ayogera bya bulimba. (2 Abakkolinso 4:4; Isaaya 43:10-12) Era bwe tulowooza ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo, tuwulira nga twagala okubuulira abalala ebimukwatako. Mazima ddala, tewali nkizo esinga okuyamba abalala okumanya n’okwagala Kitaffe ow’omu ggulu nga ffe bwe tumumanyi.

17. Okusinza Yakuwa kuzingiramu ki, era lwaki twandisinzizza Yakuwa mu bwesimbu?

17 Waliwo n’ebirala ebizingirwa mu kusinza Yakuwa. Okusinza okwo kukwata ku mbeera z’obulamu bwaffe zonna. (Abakkolosaayi 3:23) Bwe tuba nga ddala tukkiriza Yakuwa okuba Omufuzi waffe, tujja kufuba okukola by’ayagala mu maka gaffe, ku mirimu, mu ngeri gye tuyisaamu abalala, ne bwe tuba nga tuli ffekka. Tujja kufuba okumuweereza ‘n’omutima gwaffe gwonna.’ (1 Ebyomumirembe 28:9) Bwe tumusinza mu ngeri eyo, tetujja kutambulira mu bulamu bwa mirundi ebiri, nga tulabika ng’abaweereza Yakuwa, kyokka nga ate tukola ebibi eby’amaanyi mu kyama. Bwe tubeera abeesimbu tetuyinza kubeera bannanfuusi. Okwagala kutuleetera okwewala okuba bannanfuusi. Okutya Katonda nakwo kujja kutuyamba. Bayibuli eraga nti abo bokka abatya Yakuwa be basobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.—Zabbuli 25:14.

Okukoppa Yakuwa

18, 19. Lwaki tugamba nti abantu abatatuukiridde basobola okukoppa Yakuwa Katonda?

18 Buli kitundu ekiri mu katabo kano kikomekkereza n’essuula ekwata ku ngeri ‘y’okukoppamu Katonda ng’abaana abaagalwa.’ (Abeefeso 5:1) Kikulu okukijjukira nti wadde tetutuukiridde, tusobola okukoppa engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge, gy’alagamu obwenkanya, gy’ayolekamu amagezi, era n’engeri gy’alagamu okwagala. Tuyinza tutya okumanya nti ddala kisoboka okukoppa Omuyinza w’Ebintu Byonna? Jjukira nti amakulu g’erinnya lya Yakuwa galaga nti asobola okubeera ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Kyo kituufu nti ekyo bwe tukirowoozaako kiyinza okutuwuniikiriza. Naye ekyo kitegeeza nti tetusoboala kumukoppa? Nedda.

19 Twakolwebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Olubereberye 1:26) Bwe kityo, abantu ba njawulo ku bitonde ebirala ebiri ku nsi. Amagezi agaatutonderwamu, enkula yaffe, oba embeera ezitwetooloodde tebituwaliriza kukola bintu bye tukola. Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo, eddembe ery’okwesalirawo. Wadde nga tetutuukiridde, tulina eddembe okusalawo kye tunaabeera. Ate era tusaanidde okukijjukira nti erinnya lya Katonda era litegeeza nti aleetera abaweereza be okubeera ekyo ky’aba ayagadde babeere. Oyagala okubeera omuntu alaga okwagala, ow’amagezi, omwenkanya era akozesa obulungi obuyinza bwe? Omwoyo omutukuvu, gusobola okukuyamba okubeera omuntu bw’atyo! Lowooza ku birungi by’oyinza okukola ng’oli bw’otyo.

20. Birungi ki bye tunaakola nga tukoppye Yakuwa?

20 Ojja kusanyusa omutima gwa Kitaawo ow’omu ggulu. (Engero 27:11) Osobola n’okusanyusiza ddala Yakuwa mu bujjuvu, kubanga amanyi obunafu bwo. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Bw’oneeyongera okukulaakulanya engeri ennungi ng’okoppa Kitaawo akwagala, ojja kufuna enkizo ey’ekitalo. Abantu abali mu nzikiza olw’obutamanya Katonda, ojja kubamulisiza ekitangaala eky’amazima. (Matayo 5:1, 2, 14) Osobola okwoleka engeri za Yakuwa ennungi n’oyamba abantu okukimanya nti Yakuwa Katonda mulungi nnyo. Eyo nga nkizo ya kitalo nnyo!

“Musemberere Katonda Naye Anaabasemberera”

Ow’oluganda ng’atunuulira eggulu erirabika obulungi.

Ka weeyongere bulijjo okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa

21, 22. Lugendo ki olutakoma oluli mu maaso g’abo bonna abaagala Yakuwa lwe batambula?

21 Okubuulirira okwo okuli mu Yakobo 4:8 si kiruubirirwa buluubirirwa kye tulina okutuukako. Lugendo lwe tulina okutambula. Bwe tusigala nga tuli beesigwa, olugendo olwo terugenda kukoma. Tetugenda kulekera awo kunyweza nkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu butuufu, buli kiseera wajja kubaawo ebirala eby’okumuyigako. Tetusaanidde kulowooza nti akatabo kano katuyigirizza byonna bye tulina okumanya ku Yakuwa. Mu butuufu, twakatandika butandisi okumanya ebyo Bayibuli by’eyogera ku Katonda waffe! Ne Bayibuli yennyini tetubuulira byonna ebikwata ku Yakuwa. Omutume Yokaana yagamba nti singa byonna Yesu bye yakola ng’ali ku nsi byawandiikibwa, “ensi teyandisobodde kugyaamu mizingo egyandiwandiikiddwa.” (Yokaana 21:25) Bwe kiba nti ebigambo ebyo bisobola okwogerwa ku Mwana, ate kiri kitya ku Kitaffe!

22 Ne bwe tunaabeerawo emirembe gyonna tetujja kulekera awo kuyiga bikwata ku Yakuwa. (Omubuulizi 3:11) Lowooza ku ekyo kye kitegeeza. Oluvannyuma lw’okubeerawo ebikumi n’ebikumi, enkumi n’enkumi, obukadde n’obukadde, oba obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka, tujja kumanya bingi nnyo ebikwata ku Yakuwa Katonda okusinga bye tumanyi kati. Naye era wajja kubaayo ebintu ebirala bingi nnyo eby’ekitalo eby’okuyiga. Tujja kwagala okuyiga ebisingawo, kubanga buli lunaku tujja kuba n’ensonga ezituleetera okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli, eyagamba nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.” (Zabbuli 73:28) Obulamu obutaggwaawo bujja kuba bwa makulu era nga bulungi nnyo. Era okubeeranga n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kijja okusinga okutuleetera essanyu.

23. Okubirizibwa kukola ki?

23 Siima okwagala kwa Yakuwa ng’omwagala n’omutima gwo gwonna, obulamu bwo bonna, amagezi go gonna, era n’amaanyi go gonna. (Makko 12:29, 30) Okwagala kwo ka kubeere kunywevu. Mu ebyo byonna by’osalawo, ka bibe binene oba bitono, kyolekenga nti oyagala okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawo ow’omu ggulu. Okusingira ddala, weeyongerenga okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era naye ka yeeyongere okubeera mukwano gwo emirembe gyonna!

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Zabbuli 25:1-22 Tuyinza tutya okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, era biki ebijja okuvaamu?

  • Koseya 6:3 Olunyiriri luno lulaga lutya nti okumanya Yakuwa kyetaagisa okufuba era nti kivaamu emikisa?

  • Matayo 16:21-27 Bwe tuba ab’okukoppa Yakuwa, kyakulabirako ky’ani kye tuteekwa okukoppa, era ndowooza ki gye tulina okuba nayo?

  • Okubikkulirwa 21:3, 4 Okwatibwako otya bw’ofumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’anaatuwa mu biseera eby’omu maaso?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share