Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 14
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 14
Oluyimba 72 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 30 ¶18-23, akas. ku lup. 309 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Nekkemiya 9-11 (Ddak. 10)
Na. 1: Nekkemiya 11:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Matayo 1:23 Walaga nti Yesu Bwe Yali ku Nsi Yali Katonda?—rs-E lup. 214 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Engeri ez’Enjawulo Katonda mw’Ayolekera Ekisa eky’Ensusso—1 Peet. 4:10 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 12: Engeri y’Okunyumyamu n’Abantu Be Tutamanyi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, lupapula 62-64. Mu bufunze buuza omubuulizi alina obumanyirivu mu kutandika emboozi ng’abuulira embagirawo oba nnyumba ku nnyumba.
Ddak. 18: “Ekiseera ky’Ekijjukizo—Kiseera kya Kubuulira na Bunyiikivu!” Kubuuza bibuuzo na kuddamu nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Ng’ekitundu kiwedde, bategeeze enteekateeka ezikoleddwa ez’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira mu Maaki, Apuli, ne Maayi. Yogera ku nteekateeka eziyinza okusobozesa ababuulizi abali mu mbeera ez’enjawulo okuweza essaawa 50 omwezi. Buuza ababuulizi babiri oba basatu abaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo omwaka oguwedde wadde nga baalina eby’okukola bingi oba ebizibu ebirala.
Oluyimba 8 n’Okusaba