Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower January 1
Soma Olubereberye 2:16, 17 era ogambe nti: “Abantu abamu bagamba nti Katonda yakimanya nti Adamu yandyonoonye. Abalala balowooza nti okulabula Katonda kwe yawa Adamu kwandibadde kwa bunnanfuusi singa yali amanyi ebyandivuddemu. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino ekitandikira ku lupapula 13 kinnyonnyola engeri Katonda gy’akozesaamu obusobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu maaso.”
Awake! January
“Abamu balowooza nti enzikiriza z’eddiini zeesigamiziddwa nnyo ku ndowooza z’abantu mu kifo ky’okwesigama ku bukakafu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti tetulina kumala gakkiririza mu njigiriza za ddiini. [Soma 1 Yokaana 4:1.] Ekitundu ekitandikira ku lupapula 28 kinnyonnyola engeri gye tuyinza okukakasa nti okukkiriza kwaffe kwesigamiziddwa ku bukakafu.”
The Watchtower February 1
“Okugattulula obufumbo kucaase nnyo leero. Ggwe olowooza kiki ekiviirako abafumbo okugattuluwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze amagezi gano agayambye abafumbo bangi. [Soma 1 Abakkolinso 10:24.] Magazini eno eyogera ku bintu mukaaga abaami n’abakyala bye batera okwemulugunyako era eraga engeri okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli gye kiyinza okuyamba abafumbo.”
Awake! February
“Kirabika abantu bangi leero bettanira nnyo abafuusa, n’abalogo. Ggwe olowooza si kya bulabe okwenyigira mu by’obusamize? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze okulabula kuno Katonda kwe yawa Isiraeri ey’edda. [Soma Ekyamateeka 18:10-12.] Magazini eno eraga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku by’obusamize.”