Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjanwali 1
“Olowooza ensi yandibadde nnungi okusingawo singa abantu bonna baali bakolera ku kubuulirira okuli mu Kyawandiikibwa kino? [Soma Abaruumi 12:18. Era omuleke abeeko ky’addamu.] Naye ate wali weebuuzizzaako ensonga lwaki emirundi egimu Katonda yalagiranga abantu be okulwana entalo mu biseera eby’edda? Ekitundu kino kiwa eky’okuddamu ekitegeerekeka obulungi okuva mu Baibuli.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 13.
Awake! Jjanwali
Soma Ebikolwa 17:31a. Oluvannyuma gamba nti: “Abantu bangi bwe bawulira ebikwata ku Lunaku olw’Omusango beeraliikirira. Ggwe oyisibwa otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eyigiriza nti Olunaku olw’Omusango lujja kuleeta emikisa mingi ku nsi. Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga eno.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Febwali 1
“Abantu bangi basuubira okugenda mu Ggulu nga bafudde. Naawe bw’otyo bw’osuubira? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze empeera Baibuli gy’eyogerako abantu abalungi abasinga obungi gye bajja okufuna. [Soma Zabbuli 37:29.] Magazini eno ennyonnyola ekyo Baibuli ky’eyogera ku abo abajja okugenda mu Ggulu n’ekyo kye banaakolayo.”
Awake! Febwali
“Okugattululwa mu bufumbo kweyongedde nnyo leero. Olowooza abafumbo abasinga obungi balowooza ku ebyo byonna ebizingirwamu nga tebannasalawo kugattululwa? [Muleke abeeko ky’addamu. Era soma Engero 14:15.] Magazini eno eyogera ku bintu bina abafumbo bye basaanidde okulowoozaako nga tebannasalawo kugattululwa.”