Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Agusito 2010, ebibiina ebisinga obungi byafuba okuwaayo lipoota zaabyo era baatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 24,515. Ate era baatuuka ku ntikko empya eya bapayoniya aba bulijjo 2,557.
Tanzania: Omwaka oguwedde, kyali kya ssanyu nnyo okufuna entikko empya ey’ababuulizi 15,091, era n’okweyongerayongera kw’abantu babiri ku buli kikumi. Abantu 22,284 be baayigirizibwa Bayibuli. Abaaliwo ku Kijjukizo baali 47,844, era ng’omuwendo ogwo gukubisaamu ogw’ababuulizi emirundi 3!
Uganda: Omwaka gw’obuweereza we gwaggwerako, twalina ababuulizi 5,271 era ng’eno yali ntikko mpya. Mu mwaka ogwo gwonna, okutwalira awamu, abantu 12,780 be baayigirizibwanga Bayibuli buli mwezi.