Oluyimba 48
Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku
Printed Edition
1. Twekwatenga ku Yakuwa,
Tubenga tutambula naye.
Ekisa nga kya nsusso nnyo
Ky’alaga ’batambula naye!
Akoze enteekateeka
Tukwat’o mukono gwe,
Era twewaddeyo gy’ali.
Tunyweredde ku Yakuwa.
2. ’Nnaku zino ze tulimu,
Ng’enkomerero esembera,
Tulina ’batuziyiza;
Bagezaako ’kutulemesa.
Naye Yakuwa ’tukuuma;
Tubenga kumpi naye,
Era tumuweerezenga.
Tumunywerereko ddala.
3. Atuyamba ng’ayitira
Mu mwoyo gwe n’Ekigambo kye;
Ayitira mu kibiina;
Addamu okusaba kwaffe.
Bw’atyo n’aba ng’atuyamba,
Tukole ebirungi,
Tukoppenga ekisa kye,
Era tube beetoowaze.
(Era laba Lub. 5:24; 6:9; 1 Bassek. 2:3, 4.)