ESSUULA 30
“Mutambulirenga mu Kwagala”
1-3. Kiki ekivaamu bwe tukoppa Yakuwa ne tulaga abalala okwagala?
“OKUGABA kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Ebigambo bya Yesu ebyo bituyigiriza ekintu kino ekikulu: Tuganyulwa bwe tulaga abalala okwagala okwa nnamaddala. Wadde ng’okuweebwa kireeta essanyu lingi, okugaba oba okulaga abalala okwagala kuleeta essanyu erisingawo.
2 Tewali amanyi ekyo okusinga Kitaffe ali mu ggulu. Nga bwe twalaba mu ssuula ezaasooka mu kitundu kino, Yakuwa y’ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka okwagala. Tewali n’omu alaze kwagala mu ngeri esingawo oba okumala ekiseera ekiwanvu okumusinga. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yakuwa ayitibwa “Katonda omusanyufu.”—1 Timoseewo 1:11.
3 Katonda waffe ow’okwagala ayagala tubeere nga ye, naddala bwe kituuka ku kulaga abalala okwagala. Abeefeso 5:1, 2 wagamba nti: “Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala.” Bwe tukoppa Yakuwa ne tulaga abalala okwagala, tufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Era tufuna essanyu bwe tumanya nti tusanyusa Yakuwa, kubanga Ekigambo kye kitukubiriza ‘okwagalananga.’ (Abaruumi 13:8) Naye waliwo ensonga endala lwaki ‘twanditambulidde mu kwagala.’
Ensonga Lwaki Okwagala Kukulu Nnyo
Okwagala kutuleetera okwesiga baganda baffe
4, 5. Lwaki kikulu okulaga bakkiriza bannaffe okwagala okw’okwerekereza?
4 Lwaki kikulu okulaga bakkiriza bannaffe okwagala? Kubanga okwagala ye ngeri esingayo obukulu Abakristaayo ab’amazima gye booleka. Awatali kwagala tetuyinza kubeera na nkolagana nnungi na bakkiriza bannaffe, era n’ekisingawo n’obukulu, tetuba na nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa. Weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kyogera ku nsonga eyo.
5 Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:34, 35) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, tulina okulaga okwagala ng’okwo Yesu kwe yalaga. Mu Ssuula 29, twalaba nti Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga okwagala okw’okwerekereza, ng’akulembeza ebyetaago by’abalala. Naffe tuteekwa okulaga abalala okwagala okw’okwerekereza ne kiba nti n’abo abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo ekyo bakiraba. Bwe tulagaŋŋana okwagala nga Yesu bwe yatulagira, tuba tulaga nti tuli Bakristaayo ab’amazima.
6, 7. (a) Tumanya tutya nti Bayibuli eraga nti kikulu okulaga abalala okwagala? (b) Okusingira ddala kiki Pawulo kye yayogerako mu 1 Abakkolinso 13:4-8?
6 Kiba kitya singa tetuba na kwagala? Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Bwe mba sirina kwagala, mba nfuuse ng’ekide ekivuga oba ekitaasa ekisaala.’ (1 Abakkolinso 13:1) Ekide ekivuga n’ebitaasa ebisaala biba bivuga bubi. Ebyokulabirako ebyo nga bituukirawo bulungi! Omuntu atalina kwagala alinga ekyuma ekivaamu eddoboozi eritasikiriza. Omuntu ng’oyo tayinza kubeera na nkolagana nnungi na balala. Pawulo era yagamba nti: “[Bwe mba] nga nnina okukkiriza okunsobozesa okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba sirina kye ngasa.” (1 Abakkolinso 13:2) Kirowoozeeko, omuntu atalina kwagala ‘taba na mugaso,’ k’abe ng’akoze bikolwa ki! Mazima ddala, Bayibuli ekyoleka bulungi nti Yakuwa ayagala tulage abalala okwagala.
7 Kati olwo, tuyinza tutya okulaga okwagala nga tukolagana n’abalala? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 13:4-8. Ensonga enkulu mu nnyiriri zino si ye ngeri Katonda gy’atwagalamu oba engeri ffe gye tumwagalamu, wabula ye ngeri gye tulina okulagaŋŋanamu okwagala. Yayogera ku bintu ebimu ebiraga okwagala kye kuli ne kye kutali.
Okwagala Kye Kuli
8. Obugumiikiriza buyinza butya okutuyamba nga tukolagana n’abalala?
8 “Okwagala kugumiikiriza.” Okuba n’okwagala kizingiramu okugumiikiriza abalala. (Abakkolosaayi 3:13) Twetaaga obugumiikiriza ng’obwo. Lwaki? Olw’okuba tuli bantu abatatuukiridde ate nga tukolera wamu, emirundi egimu, bakkiriza bannaffe bayinza okutunyiiza oba naffe tuyinza okubanyiiza. Naye obugumiikiriza buyinza okutuyamba okubuusa amaaso obusobi obutonotono obubaawo nga tukolagana n’abalala, awatali kutabangula mirembe gya kibiina.
9. Tuyinza tutya okulaga abalala ekisa?
9 “Okwagala . . . kwa kisa.” Ekisa kiragibwa ng’oyamba abalala era ng’oyogera ebigambo ebibazzaamu amaanyi. Okwagala kutuleetera okunoonya engeri y’okulagamu abalala ekisa, naddala abo ababa mu bwetaavu. Ng’ekyokulabirako, mukkiriza munnaffe akaddiye ayinza okuba alina ekiwuubaalo era nga yeetaaga okumukyalira okumuzzaamu amaanyi. Maama ali obwannamunigina oba mwannyinaffe ali mu maka agatali bumu mu kukkiriza ayinza okuba nga yeetaaga obuyambi. Omulwadde oba oyo alina ebizibu eby’amaanyi ayinza okwetaaga mukwano gwe okumuzzaamu amaanyi. (Engero 12:25; 17:17) Bwe tulaga ekisa mu ngeri ng’ezo, kiraga nti okwagala kwaffe kwa nnamaddala.—2 Abakkolinso 8:8.
10. Okwagala kutuyamba kutya okunywerera ku mazima n’okwogera amazima, wadde nga kiyinza obutaba kyangu kukikola?
10 “Okwagala . . . kusanyukira wamu n’amazima.” Enkyusa endala egamba nti: “Okwagala . . . kusanyuka okubeera ku ludda lwa mazima.” Okwagala kutuleetera okunywerera ku mazima ‘n’okwogera amazima buli omu eri munne.’ (Zekkaliya 8:16) Ng’ekyokulabirako, singa omuntu gwe twagala akola ekibi eky’amaanyi, okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri oyo ayonoonye, kujja kutuyamba okunywerera ku mitindo gya Katonda mu kifo ky’okukweka ekibi, okubaako kye twekwasa, oba okulimba. Kya lwatu, kiyinza obutatubeerera kyangu kukkiriza nti omuntu gwe twagala yakoze ekibi. Naye bwe tuba nga ddala twagala omuntu oyo, twandyagadde Katonda amukangavvule. (Engero 3:11, 12) Ate era olw’okuba tulina okwagala, “twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”—Abebbulaniya 13:18.
11. Olw’okuba okwagala “kugumira ebintu byonna,” kiki kye twandikoze bwe kituuka ku nsobi za bakkiriza bannaffe?
11 “Okwagala . . . kugumira ebintu byonna.” Ebigambo ebyo obutereevu bitegeeza nti ‘kubikka ku bintu byonna.’ (Kingdom Interlinear) Peetero Ekisooka 4:8 wagamba nti: “Okwagala kubikka ku bibi bingi.” Omukristaayo alina okwagala tayanguwa kwanika nsobi za bakkiriza banne. Emirundi egisinga, ensobi za bakkiriza bannaffe ziba ntono nnyo era okwagala kusobola okuzibikka.—Engero 10:12; 17:9.
12. Omutume Pawulo yalaga atya nti yali mukakafu nti Firemooni yandikoze ekisingayo obulungi, era kiki kye tuyigira ku Pawulo?
12 “Okwagala . . . kukkiriza ebintu byonna.” Enkyusa ya Moffat egamba nti okwagala “bulijjo kusuubira ebirungi.” Tetwekengera bakkiriza bannaffe nga tubuusabuusa ebiruubirirwa byabwe. Okwagala kutusobozesa ‘okusuubira ebirungi’ mu baganda baffe era n’okubeesiga.a Weetegereze ensonga eyo mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Firemooni. Pawulo yawandiikira Firemooni ng’amukubiriza okwaniriza n’ekisa Onesimo, omuddu eyali adduse, kyokka kati eyali afuuse Omukristaayo. Mu kifo ky’okuwaliriza Firemooni okukola ekyo kye yali amugamba, Pawulo yamusaba mu ngeri ey’okwagala. Yeesiga Firemooni nti yali ajja kukola ekituufu, ng’agamba nti: “Ndi mukakafu nti ojja kukola kye nkusabye. N’olwekyo, nkuwandiikira nga nkimanyi nti ojja kukola n’ekisingawo ku bye ŋŋambye.” (Olunyiriri 21) Okwagala bwe kutuleetera okussa obwesige ng’obwo mu baganda baffe, kibaviirako okukola ekisingayo obulungi.
13. Tuyinza tutya okulaga nti tusuubira ebirungi mu bakkiriza bannaffe?
13 “Okwagala . . . kusuubira ebintu byonna.” Ng’okwagala bwe kutuleetera okwesiga abalala, era kutuleetera okubasuubiramu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, singa ow’oluganda ‘akwata ekkubo ekyamu,’ tusuubira nti ajja kukkiriza okuyambibwa. (Abaggalatiya 6:1) Ate era tuba tusuubira nti abanafu mu kukkiriza bajja kunywera. Tugumiikiriza abalinga abo, nga tukola kyonna kye tusobola okubayamba okuddamu okuba abanywevu mu kukkiriza. (Abaruumi 15:1; 1 Abassessalonika 5:14) Omuntu gwe twagala ne bw’awaba, tusigala tusuubira nti lumu ajja kwekuba mu kifuba akomewo eri Yakuwa, okufaananako omwana omujaajaamya ayogerwako mu lugero lwa Yesu.—Lukka 15:17, 18.
14. Mu ngeri ki obugumiikiriza bwaffe gye buyinza okugezesebwa mu kibiina, era okwagala kunaatuyamba kutya?
14 “Okwagala . . . kugumiikiriza ebintu byonna.” Obugumiikiriza butusobozesa okubeera abanywevu nga twolekaganye n’ebintu ebimalamu amaanyi oba ebizibu. Ebizibu ebigezesa okukkiriza kwaffe tebiva bweru wa kibiina wokka. Emirundi egimu tugezesebwa okuva mu kibiina mwennyini. Olw’okuba baganda baffe tebatuukiridde, emirundi egimu bayinza okutumalamu amaanyi. Omuntu omu ayinza okutulumya olw’okwogera nga tasoose kulowooza. (Engero 12:18) Oboolyawo ensonga emu mu kibiina eyinza obutakolwako nga bwe twandisuubidde. Engeri ow’oluganda assibwamu ekitiibwa gye yeeyisaamu eyinza okutunyiiza, n’etuleetera okwebuuza nti, ‘Omukristaayo ayinza atya okweyisa bw’atyo?’ Bwe twolekagana n’embeera ng’ezo, tunaava mu kibiina ne tulekera awo okuweereza Yakuwa? Bwe tuba n’okwagala tetuyinza kukivaamu! Mu butuufu, bwe tuba n’okwagala, obunafu bwa muganda waffe tebujja kutuziba maaso tuleme n’okulaba ekirungi kyonna ky’akola oba ebirungi ebiri mu kibiina kyonna okutwalira awamu. Okwagala kutusobozesa okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda era n’okuwagira ekibiina ka kibe ng’abantu boogedde ki oba bakoze ki.—Zabbuli 119:165.
Okwagala Kye Kutali
15. Obuggya kye ki, era okwagala kutuyamba kutya okwewala engeri eyo embi?
15 “Okwagala tekukwatibwa buggya.” Tuyinza okukwatirwa abalala obuggya olw’ebyo bye balina, gamba ng’ebintu byabwe, enkizo zaabwe, oba obusobozi bwabwe. Obuggya ng’obwo bubi nnyo, era singa tebufugibwa, buyinza okutabangula emirembe gy’ekibiina. Kiki ekinaatuyamba obutakwatibwa buggya? (Yakobo 4:5) Kwe kwagala. Engeri eno ey’omuwendo eyinza okutuyamba okusanyukira awamu n’abo abalina enkizo ffe ze tutalina. (Abaruumi 12:15) Okwagala kutuyamba obutayisibwa bubi singa omuntu omu atenderezebwa olw’ekitone ky’alina oba olw’ekintu ky’akoze.
16. Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe, lwaki tetwandyewaanye olw’ebyo bye tukola mu buweereza bwaffe?
16 “Okwagala . . . tekwewaana, tekwegulumiza.” Okwagala kutuleetera obuteewaana olw’ebitone bye tulina oba olw’ebyo bye tuba tukoze. Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe, tetwewaana olw’ebyo bye tukoze mu buweereza oba olw’enkizo ze tulina mu kibiina. Okwewaana kusobola okumalamu abalala amaanyi, ne kubaleetera okuwulira nga ba wansi. Okwagala kutuziyiza okwewaanawaana olw’enkizo z’obuweereza Katonda z’atuwadde. (1 Abakkolinso 3:5-9) Okugatta ku ekyo, okwagala “tekwegulumiza,” oba ng’enkyusa emu bw’egamba nti, “tekwetwala nga kwa kitalo nnyo.” Okwagala tekutuleetera kwetwala nti tuli ba waggulu.—Abaruumi 12:3.
17. Okwagala kutukubiriza kufaayo tutya ku balala, era nneeyisa ki gye tulina okwewala?
17 “Okwagala . . . tekweyisa mu ngeri etesaana.” Omuntu akola ebitasaana yeeyisa bubi oba akola ebintu ebyesittaza. Bwe tweyisa mu ngeri eyo tekyoleka kwagala kubanga tuba tetufuddeeyo ku ngeri abalala gye bawuliramu, oba engeri gye bakwatibwako olw’enneeyisa yaffe. Okwawukana ku ekyo, okwagala kutuleetera okufaayo ku balala. Okwagala kutuleetera okuba n’empisa ennungi ezisiimibwa Katonda, era n’okussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe. Bwe kityo, okwagala kutuziyiza ‘okweyisa mu ngeri eswaza,’ kwe kugamba, engeri yonna eyinza okusasamaza oba okwesittaza Bakristaayo bannaffe.—Abeefeso 5:3, 4.
18. Lwaki omuntu alina okwagala takaka balala kukola ye by’ayagala?
18 “Okwagala . . . Tekwenoonyeza byakwo.” Enkyusa endala egamba nti: “Okwagala tekukalambira ku kye kwagala.” Omuntu alina okwagala takaka balala kukola ye by’ayagala, nga gy’obeera nti y’aba omutuufu buli kiseera. Takozesa buyinza bwe kunyigiriza balina ndowooza eyawukana ku yiye. Okweyisa mu ngeri eyo kyoleka amalala, ate nga Bayibuli egamba nti: “Amalala gaviirako omuntu okugwa.” (Engero 16:18) Bwe tuba nga ddala twagala baganda baffe tujja kussa ekitiibwa mu ndowooza zaabwe, era bwe kiba kisoboka, tukkirize okukola bye baagala. Okukkiriza abalala bye baagala kituukagana n’ebigambo bya Pawulo bino: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, wabula anoonye ebigasa abalala.”—1 Abakkolinso 10:24.
19. Okwagala kutuyamba kukola ki ng’abalala batunyiizizza?
19 “Okwagala . . . tekunyiiga era tekusiba kiruyi.” Okwagala tekunyiiga mangu olw’ebyo abalala bye boogera oba bye bakola. Kyo kituufu nti, kya mu butonde okunyiiga abalala bwe batuyisa obubi. Naye ne bwe tuba n’ensonga entuufu okunyiiga, okwagala tekusigala nga kunyiivu. (Abeefeso 4:26, 27) Tetusaanidde kukuumira mu birowoozo byaffe bigambo oba ebikolwa ebitulumizza, nga tulinga ababiwandiise mu kitabo tuleme okubyerabira. Mu kifo ky’ekyo, okwagala kutukubiriza okukoppa Katonda waffe. Nga bwe twalaba mu Ssuula 26, Yakuwa asonyiwa nga waliwo ensonga esinziirwako okusonyiwa. Bw’atusonyiwa, yeerabira, era tatuvunaana bibi ebyo mu biseera eby’omu maaso. Tuli basanyufu nti Yakuwa tasigala ng’ajjukira ebibi bye twakola.
20. Twandyeyisizza tutya singa mukkiriza munnaffe asobya n’agwa mu mitawaana?
20 “Okwagala . . . tekusanyukira bitali bya butuukirivu.” Enkyusa endala egamba nti: “Okwagala . . . tekusanyuka ng’abalala bakoze ensobi.” Enkyusa ya Moffat egamba: “Okwagala tekusanyuka abalala bwe bagwa mu mitawaana.” Olw’okuba okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, tetubikkirira bikolwa bya bugwenyufu. Singa mukkiriza munnaffe asobya n’agwa mu mitawaana, kiki kye tukola? Olw’okuba tumwagala tetujja kugamba nti ‘Alyose! Kibadde kimugwanira.’ (Engero 17:5) Kyokka tusanyuka singa ow’oluganda asobezza abaako ne kyakolawo okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa.
‘Ekkubo Erisingayo Obulungi’
21-23. (a) Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti “okwagala tekulemererwa”? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu ssuula esembayo?
21 “Okwagala tekulemererwa.” Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ebigambo ebyo? Okutwalira awamu Pawulo yali ayogera ku birabo eby’omwoyo ebyali mu Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Ebirabo ebyo byalaga nti Katonda yali asiima ekibiina ekyali kyakatandikibwawo. Naye Abakristaayo bonna baali tebasobola kuwonya, kwogera bunnabbi, oba okwogera mu nnimi. Kyokka ekyo tekyali kikulu, kubanga ebirabo ebyo eby’ekyamagero byali bya kukoma. Naye waaliwo ekyandisigaddewo buli Mukristaayo kye yali ayinza okukulaakulanya. Kyali kikulu nnyo okusinga ekirabo kyonna eky’ekyamagero. Mu butuufu, Pawulo yakiyita “ekkubo erisinga gonna.” (1 Abakkolinso 12:31) ‘Ekkubo eryo erisinga gonna’ lye liruwa? Lye kkubo ery’okwagala.
22 Mazima ddala, okwagala kw’Ekikristaayo Pawulo kwe yayogerako “tekulemererwa,” kwe kugamba, kujja kubaawo emirembe gyonna. N’okutuusa leero, okwagala okw’okwerekereza kwe kwawulawo abagoberezi ba Yesu ab’amazima. Okwagala ng’okwo tukulaba mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Okwagala ng’okwo kujja kubaawo emirembe gyonna, kubanga Yakuwa asuubiza okuwa abaweereza be abeesigwa obulamu obutaggwaawo. (Zabbuli 37:9-11, 29) Ka tukole kyonna ekisoboka ‘okutambuliranga mu kwagala.’ Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Ekisingawo ne ku ekyo, tujja kuba balamu, era tujja kweyongera okulaga okwagala okwo emirembe gyonna, nga tukoppa Yakuwa Katonda waffe ow’okwagala.
Okwagala kwe kwawulawo abantu ba Yakuwa
23 Mu ssuula eno ekomekkereza ekitundu ekyogera ku kwagala, tulabye engeri gye tuyinza okulagaŋŋanamu okwagala. Naye okuva bwe tuganyulwa ennyo mu kwagala kwa Yakuwa, amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’amagezi ge, tuyinza okwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okulaga Yakuwa nti ddala mwagala?’ Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu ssuula esembayo.
a Kya lwatu, okwagala kw’Ekikristaayo tekumala gakkiriza buli kimu. Bayibuli egamba nti: “[Mwetegereze] abo abaleetawo enjawukana n’ebintu ebyesittaza . . . era mubeewale.”—Abaruumi 16:17.