Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi?
1. Lwaki mu kiseera ky’Ekijjukizo twandyongedde ku biseera bye tumala mu buweereza?
1 Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza. Kye kiseera lwe tufumiitiriza ku kwagala okw’ekitalo Yakuwa kwe yatulaga bwe yawaayo Omwana we ng’ekinunulo. (Yok. 3:16) Kino kituleetera okwongera okusiima ekinunulo n’okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebyo by’akoledde abantu bonna. (Is. 12:4, 5; Luk. 6:45) Ate era kye kiseera lwe twenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okuyita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Omukolo bwe guggwa, tufuba okuddayo okuyamba abo abaaliwo. Mu mwezi gwa Maaki, Apuli, oba Maayi, onoofuba okwongera ku biseera by’omala mu buweereza?
2. Lwaki omwezi gwa Maaki gujja kuba mulungi okuweererezaamu nga payoniya omuwagizi?
2 Omwezi gwa Maaki Gujja Kuba gwa Njawulo: Omwezi gwa Maaki gujja kuba mulungi nnyo okuweererezaamu nga payoniya omuwagizi. Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, bajja kuba basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50. Omulabirizi w’ekitundu bw’anaaba akyalidde ekibiina kyammwe mu Maaki, abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi basobola okubaawo mu lukuŋŋaana lwonna lw’anaaba nalwo ne bapayoniya aba bulijjo awamu ne bapayoniya ab’enjawulo. Ku luno tujja kumala ebbanga erisinga ku eryo lye tubadde tumala emyaka egiyise mu kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo ekinaabaawo ku Lwokubiri nga Maaki 26, 2013. Tujja kutandika okubugaba nga Maaki 1. Okugatta ku ebyo, omwezi gwa Maaki gulimu wiikendi ttaano nnambirira. Ebyo byonna tebyandituleetedde kwongera ku biseera bye tunaamala mu buweereza mu mwezi ogwo ogw’enjawulo?
3. Tuyinza tutya okukola eteekateeka ezinaatusobozesa okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza?
3 Tandikirawo Okukola Enteekateeka: Kino kye kiseera okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okuweereza nga payoniya omuwagizi. Ab’omu maka bwe banaakolera awamu kijja kubayamba. N’olwekyo mu kusinza kwammwe okw’amaka mukubaganye ebirowoozo ku biruubirirwa byammwe ng’amaka era mukole enteekateeka eneebasobozesa okubituukako. (Nge. 15:22) Bw’oba toosobole kuweereza nga payoniya omuwagizi, toggwaamu maanyi. Oyinza okukyusakyusa mu nteekateeka zo osobole okwongera ku biseera by’omala ng’obuulira. Ate era osobola okufunayo olunaku olulala mu wiiki olw’okubuulira.
4. Bwe tunaayongera ku biseera bye tunaamala mu buweereza mu Maaki, Apuli, ne Maayi,tunaafuna miganyulo ki?
4 Mu mwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi, bwe tunaayongera ku biseera bye tumala mu buweereza, tujja kwongera okufuna essanyu eriva mu kuweereza Yakuwa n’okuyamba abalala. (Yok. 4:34; Bik. 20:35) N’ekisinga obukulu, tujja kusanyusa Yakuwa.—Nge. 27:11.