Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kiseera ky’Ekijjukizo
1. Kiki ekinaakusobozesa okweyongera okufuna essanyu mu kiseera ky’Ekijjukizo?
1 Wandyagadde okweyongera okufuna essanyu mu Maaki, Apuli, ne Maayi? Emu ku ngeri gy’oyinza okukikolamu kwe kwongera ku biseera by’omala mu buweereza, era bwe kiba kisoboka, okuweereza nga payoniya omuwagizi. Ekyo kinaakusobozesa kitya okwongera okufuna essanyu?
2. Okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza kinaatusobozesa kitya okwongera okufuna essanyu?
2 Weeyongere Okufuna Essanyu: Bwe tusinza Yakuwa era ne tukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, tusobola okuba abasanyufu (Mat. 5:3) Ate era tusobola okufuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Okubuulira kutusobozesa okusinza Katonda n’okuyamba abantu. N’olwekyo, bwe twongera ku biseera bye tumala mu buweereza, essanyu lyaffe lyeyongera. Okugatta ku ekyo, gye tukoma okubuulira gye tukoma okufuna obumanyirivu n’okuba abavumu. Ate era ekyo kitusobozesa okuwa abantu bangi obujulirwa n’okufuna abayizi ba Bayibuli abawerako. Ebyo byonna bituyamba okwongera okufuna essanyu mu buweereza.
3. Lwaki kirungi okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki ne Apuli?
3 Kirungi okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki ne Apuli kubanga tujja kuba tusobola okuwaayo essaawa 30 oba 50. Okugatta ku ekyo, okutandika n’Olwomukaaga, nga Maaki 22, okutuukira ddala ku lunaku lw’Ekijjukizo, Bbalaza Apuli 14, tujja kuba ne kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ebibiina bijja kufuna essanyu lingi kubanga bangi bajja kukolera wamu okusobola okumalako ekitundu kyabwe.—Zef. 3:9.
4. Bwe tuba twagala okuweereza nga bapayoniya abawagizi, kiki kye tusaanidde okukola?
4 Weeteeketeeke Kati: Bw’oba tonnakikola, lowooza ku nkyukakyuka ze weetaaga okukola okusobola okwongera ku biseera by’omala mu buweereza omwezi gumu oba egisingawo. Saba Yakuwa akuyambe. (Yak. 1:5) Kyogereko n’ab’omu maka go era n’abalala mu kibiina. (Nge. 15:22) Ojja kukiraba nti wadde ng’embeera y’obulamu bwo si nnungi nnyo, oba wadde ng’olina eby’okukola bingi, naawe osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi ne weeyongera okufuna essanyu.
5. Bwe tunaayongera ku biseera bye tumala mu buweereza mu kiseera ky’Ekijjukizo, tunaaganyulwa tutya?
5 Yakuwa ayagala abaweereza be babe basanyufu. (Zab. 32:11) Bwe tunaafuba okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza, tujja kweyongera okufuna essanyu era n’okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu.—Nge. 23:24; 27:11.