Mulangirire Wonna Obulungi bwa Yakuwa
1. Kiki ekituleetera okulangirira wonna obulungi bwa Yakuwa?
1 “Obukulu bubwo n’amaanyi n’ekitiibwa n’okuwangula n’okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi (bibyo) . . . ai Mukama.” (1 Byom. 29:11) Okwagala n’okusiima kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera kukola ki? Kutuleetera ‘okulangirira wonna ebirungi by’oyo eyatuyita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.’ (1 Peet. 2:9) Tetuyinza kulekera awo kubuulira balala ebikwata ku Katonda waffe ow’ekitalo! Tujja kuba n’omukisa gwa maanyi nnyo okulangirira obulungi bwa Yakuwa mu mwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi.
2. Kaweefube ki ategekeddwa okulangirira Ekijjukizo, era baani abayinza okumwenyigiramu?
2 Kaweefube ow’Okulangirira Ekijjukizo: Ku Bbalaza, nga Apuli 2, tujja kweyongera okufumiitiriza ku bulungi bwa Yakuwa nga tuli ku mukolo ogw’okukwata eky’Ekiro kya Mukama waffe. Obupapula obuyita abantu okubeerawo ku mukolo ogwo omukulu bujja kugabibwa mu nsi yonna okuva nga Maaki 17 okutuuka nga Apuli 2. Bonna bakubirizibwa okwenyigira mu kaweefube ono mu bujjuvu. Kino kyandibadde kiseera kirungi nnyo eri abappya okutandika okubuulira amawulire amalungi bwe kiba nti batuukiriza ebisaanyizo. Bw’oba olina abayizi ba Baibuli oba abaana abatuukiriza ebisaanyizo, yogerako n’abakadde.
3. Kiki kye tuyinza okwogera nga tuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo?
3 Kaweefube ono ajja kufaananako n’oyo eyakolebwa okuyita abantu okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwalina omutwe “Okununulibwa Kuli Kumpi.” Ebibiina bijja kuweerezebwa obupapula obumala kisobozese buli mubuulizi okufuna obupapula 50 ate buli payoniya afune obupapula 150. Kozesa ennyanjula ennyimpimpi, oboolyawo oyinza okugamba nti: “Kano ke kapapula ko akakuyita okubaawo ku mukolo omukulu ogubaawo buli mwaka. Ojja kwanirizibwa nnyo. Ebisingawo biri ku kapapula kano.” Kya lwatu, omuntu oyo bw’aba ng’alina ebibuuzo, osaanidde okuwaayo ebiseera okumuddamu. Ekitundu ekitandikira ku lupapula 206 mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza ekyogera ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe, kiyinza okuba eky’omuganyulo mu kunnyonnyola ensonga eno. Ku nnaku za wiikendi tujja kugabanga magazini empya awamu n’obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo. Wandiika abo bonna abaagala okumanya ebisingawo era okole enteekateeka okubaddira.
4. Obupapula obuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo bujja kugabibwa butya?
4 Bwe kiba kisoboka, akapapula kano akayita abantu okubaawo ku Kijjukizo kawe nnyinimu butereevu. N’olwekyo, wandiika abo b’oba tosanze waka era okole enteekateeka okuddayo omulundi omulala. Ab’oluganda abali mu bibiina ebikyalina obupapula obuwerako obuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo bayinza okubuleka mu maka gye baba tebasanze bantu mu wiiki esembayo ng’Ekijjukizo tekinnatuuka. Kakasa nti okawa n’abo b’oddiŋŋana, abayizi ba Baibuli, ab’eŋŋanda zo, bakozi banno, baliraanwa bo, n’abalala b’omanyi.
5. Lwaki twanditandise kati okukola enteekateeka ez’okuweereza nga bapayoniya abawagizi?
5 Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi: Osobola okulangirira obulungi bwa Yakuwa mu ngeri esingawo ng’okola nga payoniya omuwagizi mu mwezi gwa Maaki, Apuli ne Maayi? Okusobola okukola ekyo, kiyinza okukwetaagisa okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zo eza buli lunaku. (Bef. 5:15-17) Osobola okuba omukakafu nti bw’ofuba okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa, kijja kukuviirako okufuna essanyu n’emikisa gye. (Nge. 10:22) Okuva bwe kiri nti ekiseera ky’Ekijjukizo kiri kumpi okutuuka, twanditandikiddewo kati okukola enteekateeka.—Nge. 21:5.
6. Kiki kye tusobola okuyigira ku kyokulabirako kya mwannyinaffe ow’emyaka 90 eyaweereza nga payoniya omuwagizi omwaka oguwedde?
6 Mwannyinaffe omu ow’emyaka 90 yafuna enkizo ey’okuweereza nga payoniya omuwagizi omwaka oguwedde. Yagamba: “Wadde nga njagala nnyo okulima era nga nnali njagala okutandika okusiga, nnakitegeera nti kinneetaagisa okukulembeza ebisinga obukulu mu bulamu bwange. Olw’okuba nnayagala okukulembeza eby’Obwakabaka, nnasalawo okuweereza nga payoniya omuwagizi mu mwezi gwa Maaki.” Yafuna emikisa olw’okufuba kwe? Agamba nti, “Mpulira nga nneeyongedde okuba awamu n’ekibiina era kino kindeetedde okweyongera okuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa.” Naffe tuyinza okwekenneenya ebyo bye tutwala ng’ebikulu ne tukola enkyukakyuka ze zimu nga bwe kiba kyetaagisizza?
7. Kizibu okuweereza nga payoniya omuwagizi?
7 Okutuukiriza essaawa 50 ezeetaagisibwa payoniya omuwagizi kiyinza obutaba kizibu nga bw’olowooza. Saba Yakuwa era weekenneenye ebyo by’okola buli lunaku, kola enteekateeka gy’onoogoberera ng’obuulira era ogiteeke ku programu yo ey’ebintu eby’eby’omwoyo. Ggw’osinga okuteegera embeera gy’olimu. Embeera y’obulamu bwo bw’eba nga si nnungi era nga tosobola kubuulira kumala banga ddene, oboolyawo oyinza okubuulira essaawa entonotono buli lunaku. Bw’oba ng’okola ekiseera kyonna oba ng’osoma, oyinza okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’obuulira mu biseera eby’akawungeezi oba ku wiikendi.
8. Kiki ekyasobozesa omugogo ogumu ogw’abafumbo okuweereza nga bapayoniya abawagizi?
8 Bangi basobodde okuweereza nga bapayoniya abawagizi bonna awamu ng’amaka. Mu myaka egiyise, omugogo ogumu ogw’abafumbo baali batya okukola nga bapayoniya abawagizi kubanga baalowooza nti embeera yaabwe yali tebasobozesa. Kiki kye baakola? Baagamba: “Twasaba Yakuwa atuyambe tusobole okutuukiriza ekyo kye twali tumaze ekiseera ekiwanvu nga twagala okukikolera awamu.” Baakola enteekateeka ennungi era ne basobola okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe. Era baagamba nti: “Twannyumirwa nnyo era twafuna emikisa mingi. Ekirowoozo kye tukuwa kiri nti, naawe gezaako. Nga bwe twasobola okukikola, naawe wandisobola okukikola.”
9. Kiki kye muyinza okukola mu kusoma kwammwe okw’amaka okunaddako okusobola okwetegekera emyezi egijja egy’obuweereza obw’enjawulo?
9 Muyinza okuffisaawo akadde mu kusoma kwammwe okw’amaka okunaddako mwogere ku ngeri mwenna gye muyinza okugaziya ku buweereza bwammwe mu myezi egijja. Ne bwe kiba nti ab’omu maka mwenna okutwalira awamu temusobola kuweereza nga bapayoniya abawagizi, oboolyawo omu ku mmwe ayinza okukikola singa mumuyamba era ne mumuwagira. Ekyo bwe kiba nga tekisoboka, oboolyawo amaka gammwe gayinza okussaawo ebiruubirirwa okwongera ku budde bwe munaamala nga mubuulira mu myezi egyo egy’obuweereza obw’enjawulo.
10. Lwaki twandyogedde n’abalala ku nteekateeka yaffe ey’okukola nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo?
10 Muyambagane: Omuntu bw’aba omunyiikivu asobola okuleetera abalala nabo okuba abanyiikivu. Yogerako n’abalala ku nteekateeka yo ey’okukola nga payoniya omuwagizi. Kino kiyinza okubakubiriza okusaba okukola nga bapayoniya abawagizi. Okugatta ku ekyo, abo abaali baweerezzaako nga bapayoniya abawagizi bayinza okukuwa ebirowoozo ebinaakuyamba okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka ku biruubirirwa byo. (Nge. 15:22) Bw’oba ng’osobola okukola nga payoniya omuwagizi, lwaki tosaba omubuulizi omulala, oboolyawo oyo ali mu mbeera ezifaanagana n’ezizo, akwegatteko mu buweereza buno obw’essanyu?
11. Abakadde basobola batya okuleetera abalala okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu myezi egijja?
11 Abakadde bangi bakoze enteekateeka ezeetaagisa okusobola okwenyigira mu buweereza buno obw’enjawulo. (Beb. 13:7) Nga kino kizzaamu nnyo ekibiina amaanyi! Abakadde era basobola okuleetera abalala okwenyigira mu buweereza obwo nga boogerako nabo. Abamu okusobola okukola nga bapayoniya abawagizi kiyinza okuba nga kyetaagisa kubazzaamu buzza maanyi oba okubawa ebirowoozo ebiyinza okubayamba. Omulabirizi w’obuweereza ayinza okutegekawo enkuŋŋaana endala ez’okugenda mu nnimiro, kisobozese bonna okubuulirira awamu ng’ekibiina ne bwe kiba nga bavudde ku mulimu oba ku ssomero. Enteekateeka zino zisaanidde okulangirirwanga mu nkuŋŋaana. Ate era alina okukakasa nti bonna baba n’ebitabo era n’ebifo eby’okubuuliramu ebimala.
12. Kiki ky’oyinza okukola bw’oba nga tosobola kuweereza nga payoniya omuwagizi?
12 Embeera z’olimu ne bwe ziba nga tezikusobozesa kuweereza nga payoniya omuwagizi, osobola okuzzaamu amaanyi era n’osabira abo abeewaddeyo okukola nga bapayoniya abawagizi. (Nge. 25:11; Bak. 4:12) Oboolyawo oyinza okukola enteekateeka n’ofunayo olunaku olulala mu wiiki okubuulirako awamu nabo oba n’omala ekiseera ekiwanvuko mu buweereza okusinga ku ekyo ky’otera okumala ng’obuulira.
13. Kiruubirirwa ki ekitekeddwawo mu nsi yo, era ekibiina kyammwe kiyinza kukolawo ki okusobola okukituukako?
13 Ekiruubirirwa Ekya Bapayoniya Abawagizi 6,400 mu Apuli: Entikko ya bapayoniya abawagizi eyali tebangawo eyatuukibwako mu Burundi yali 792, mu Kenya 2,601, mu Tanzania 1,297 ne mu Uganda 455. N’olwekyo, mu mwezi gwa Apuli, tulina ekiruubirirwa eky’okutuuka ku ntikko ya bapayoniya abawagizi 1,000 mu Burundi, 3,300 mu Kenya, 1,400 mu Tanzania, ne 700 mu Uganda. Entikko eyo tuyinza okugituukako singa ku buli babuulizi 6 abali mu kibiina, omu yeewaayo okuweereza nga payoniya omuwagizi. Kya lwatu, ebibiina ebimu biyinza okubaamu ababuulizi bangi n’okusingawo abasobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Ebibiina ebisinga obungi bisobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Lowooza ku ssanyu erinaaba mu kibiina kyammwe era n’engeri kino gye kijja okutumbulamu omulimu gw’okubuulira mu kitundu kyammwe.
14. Lwaki omwezi gwa Apuli gujja kuba mulungi okuweererezaamu nga payoniya omuwagizi?
14 Lwaki omwezi gwa Apuli gujja kuba mulungi okuweererezaamu nga payoniya omuwagizi? Ekijjukizo kijja kubaawo ku ntandikwa y’omwezi, era kino kijja kutusobozesa okuddiŋŋana abo bonna abanaaba bazze ku mukolo ogwo. Tujja kugabira abantu magazini, nga tulina ekiruubirirwa eky’okubaddira ku mulundi omulala tubawe akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tutandike n’okubayigiriza Baibuli. N’olwekyo, okuweereza nga payoniya omuwagizi mu mwezi gwa Apuli kijja kutuwa omukisa gwa maanyi okufuna abayizi ba Baibuli. Okugatta ku ekyo, omwezi gwa Apuli gulimu Ssande ttaano n’olunaku lumu olw’okuwummula mu nsi yonna, era ekyo kijja kukifuula kyangu eri abakozi n’abo abasoma okuweereza nga bapayoniya abawagizi.
15. Ng’ekiseera ky’Ekijjukizo kinaatera okutuuka, lwaki twandibadde beetegefu okubuulira n’obunyiikivu?
15 Buli lwe tumaliriza ekiseera ky’Ekijjukizo, tuba tweyongedde okusemberera enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno. Ekiseera ekisigadde okubuulira abalala ebikwata ku Katonda waffe kiyimpawadde. (1 Kol. 7:29) Ekiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka guno bwe kinaaba kiwedde, omukisa ogwo ogw’enjawulo gwe tunaaba tufunye okutendereza Kitaffe ow’omu ggulu, gujja kuba tegukyadda nate. Ka ffenna tukole kati enteekateeka okukola kyonna kye tusobola okulangirira wonna obulungi bwa Yakuwa mu mwezi ogwa Maaki, Apuli, ne Maayi!
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Tusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe mu Apuli ekya bapayoniya abawagizi?
Burundi 1,000
Kenya 3,300
Tanzania 1,400
Uganda 700
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
◼ Weekenneenye ebyo by’otwala ng’ebikulu mu bulamu bwo
◼ Mwogere ku biruubirirwa byammwe ng’amaka
◼ Yogerako n’abalala ku nteekateeka zo