Koppa Omuyigiriza Omukulu ng’Okozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
1. Yesu yayigirizanga atya?
1 Omuyigiriza Omukulu, Yesu, yannyonnyolanga ebintu mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. Okusobola okuyamba abaali bamuwuliriza okulowooza, emirundi egimu yasookanga kubabuuza bibuuzo ng’ayagala okumanya endowooza yaabwe. (Mat. 17:24-27) Yajulizanga Ekigambo kya Katonda. (Mat. 26:31; Mak. 7:6) Abayigirizwa be teyabayigirizanga bintu bingi nnyo, ng’akimanyi nti bandyeyongedde okuyiga ebisingawo. (Yok. 16:12) Yesu era yayagalanga okumanya obanga abayigirizwa be baali bakkiriza era nga bategeera bye yali abayigiriza. (Mat. 13:51) Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kategekeddwa okutuyamba okuyigiriza mu ngeri efaananako bw’etyo.
2. Tusobola tutya okukozesa ebibuuzo ebyanjula essuula?
2 Ebibuuzo Ebyanjula Essuula: Bwe muba mugenda kutandika okusoma essuula, kiba kirungi okusooka okwekenneenya ebibuuzo ebiri wansi w’omutwe ogwo. Buuza ebibuuzo ebyo okuyamba omuyizi okulowooza n’okwesunga by’agenda okusoma. Oba oyinza okumusaba abeeko ky’ayogera mu bufunze ku bibuuzo ebyo. Tekikwetaagisa kwogera nnyo ku ebyo by’aba azzeemu oba okugolola buli kikyamu ky’aba ayogedde. Oyinza okumwebaza obwebaza olw’okuwa endowooza ye, awo ne mutandika okusoma essuula eyo. Ebyo by’anaaba azzeemu mu bibuuzo ebyanjula essuula, bijja kukuyamba okutegeera ensonga z’osaanidde okuteekako ennyo essira nga musoma.
3. Tuyinza tutya okuyigiriza mu ngeri ennyangu?
3 Ebyawandiikibwa: Bye musoma bisaanidde okwesigamizibwa ku Byawandiikibwa. (Beb. 4:12) Kyokka, tekyetaagisa kusoma buli kyawandiikibwa ekiba kiragiddwa. Essira liteeke ku ebyo ebyesigamiziddwako enjigiriza zaffe. Ebyawandiikibwa ebirala ebyekuusa ku nsonga eyo biyinza obutasomebwa. Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kannyonnyola amazima mu ngeri ennyangu okutegeera. Yigiriza mu ngeri ennyangu. Essira liteeke ku nsonga enkulu, era weewale okulandagga oba okwogera ku bintu ebirala ebitakwatagana na kye muyigako.
4. Bwe tuba tusoma n’omuyizi, twandisinzidde ku ki okusalawo obanga twandyekenneenyezza ebyo ebyongerezeddwako?
4 Ebyongerezeddwako: Ekitundu kino kirimu emitwe 14 egyongera okunnyonnyola ebyo ebiri mu ssuula ezimu eziri mu katabo ako. Kiri eri oyo ayigiriza okusalawo obanga banaakubaganya ebirowoozo ku mitwe egyo nga basoma. Mu essuula ezimu, oyinza okukubiriza omuyizi wo okwesomera ku bubwe ebyo ebyongerezeddwako, naddala singa aba ategeera era nga akkiriza ebyo ebiri mu ssuula eyo gye muba musoma. Ng’ekyokulabirako, bwe muba musoma essuula ey’okuna egamba nti “Yesu Kristo y’Ani?” era ng’omuyizi wo akkiriza nti Yesu ye Masiya, kiyinza obutakwetaagisa kukubaganya naye birowoozo ku mutwe ogugamba nti “Yesu Kristo—Masiya Eyasuubizibwa.” Emirundi egimu, kiyinza okuba eky’omuganyulo okuffisaawo akadde nga musoma ne mukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebyongerezeddwako oba ebimu ku byo.
5. Bwe tusalawo okwekenneenya ebyo ebyongerezeddwako, tuyinza kukikola tutya?
5 Bw’osalawo okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebyongerezeddwako, oyinza okutegekawo ebibuuzo nga bukyali era ne musoma obutundu nga bwe mukola nga musoma essuula eziri mu katabo ako. Oba, okusinziira ku byetaago by’omuyizi, oyinza okusalawo okukozesa eddakiika entonotono nga musoma ne mwekenneenya ebyo ebyongerezeddwako. Ekyo kijja kukusobozesa okukakasa nti ategeera ebyo bye yasoma ku bubwe.
6. Ebyo ebiri mu kasanduuko ak’okwejjukanya biyinza kukozesebwa bitya buli lwe muba mufundikira okusoma?
6 Akasanduuko Akalimu eby’Okwejjukanya: Akasanduuko akali ku nkomerero ya buli ssuula kalimu eby’okuddamu mu bibuuzo ebyanjula essuula. Oyinza okubikozesa okwejjukanya ensonga enkulu eziri mu ssuula eyo. Ababuulizi abamu bakisanze nga kya muganyulo okusoma n’omuyizi ebyo ebiri mu kasanduuko awamu n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa. Oluvannyuma, basaba omuyizi okunnyonnyola mu bufunze engeri ebyawandiikibwa ebyo gye biwagiramu ebyo ebiri mu kasanduuko. Kino kisobozesa ayigiriza okumanya obanga omuyizi ategeera bulungi ensonga enkulu eziri mu ssuula eyo n’engeri Baibuli gy’eziwagiramu, era kimuyamba okumanya obanga akkiriziganya nazo. Okwongereza ku ekyo, kitendeka omuyizi okukozesa Baibuli ng’annyonnyola abalala amazima.
7. Twandikozesezza tutya akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe?
7 Engeri esingayo obulungi ey’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okuyigiriza abantu n’okubafuula abayigirizwa, kwe kukoppa engeri Yesu gye yayigirizangamu. (Mat. 28:19, 20) Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kayinza okutuyamba okukola kino. Kakozese bulungi okuyigiriza abalala amazima mu ngeri etegeerekeka obulungi, ennyangu, era esikiriza.