Nyumirwa Okusoma Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
1 Ekimu ku bintu ebyatusanyusa ennyo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Obuwulize eri Katonda” kwe kufulumizibwa kw’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Tuli kumpi okutandika okukakozesa ennyo mu buweereza bw’ennimiro, naddala nga tuyigiriza abayizi ba Baibuli. N’olwekyo, tusaanidde okutegeera obulungi ebiri mu katabo kano akapya. Kino kijja kusoboka kubanga tujja kukasoma mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo okutandika nga Apuli 17, 2006.
2 Oyo akubiriza Olukuŋŋaana olwo, ajja kutandika ng’asoma ebibuuzo ebiri ku ntandikwa ya buli ssuula. Oluvannyuma ajja kukubiriza olukuŋŋaana ng’akozesa ebibuuzo ebiri ku nkomerero ya buli lupapula. Ebyawandiikibwa ebiwagira ensonga enkulu bijja kusomebwa era bikubaganyizibweko ebirowoozo. Ate ko akasanduuko akalina omutwe “Baibuli Ky’Eyigiriza,” akali ku nkomerero ya buli ssuula kajja kutuyamba okwejjukanya bye tuyize kubanga kaddamu ebibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essuula nga keesigama ku byawandiikibwa. Ojja kunyumirwa okubaako ky’oddamu mu lukuŋŋaana luno, kubanga akatabo kano kalimu ensonga ezinnyonnyoddwa mu ngeri ennyangu okutegeera.
3 Ekitundu ekirina omutwe, Ebyongerezeddwako, kyongera okunnyonnyola ebyo ebiri mu ssuula z’akatabo kano. Ebyo ebiri mu kitundu ekyo tujja kubikozesa singa abo be tuyigiriza Baibuli baagala okumanya ebisingawo ku nsonga gye tuba tukubaganyaako ebirowoozo. Emirundi egimu ebyo ebiri mu kitundu ekyo bijja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo. Oyo aba asoma, alina okusoma ebyo byonna ebiri mu kitundu ekirina omutwe Ebyongerezeddwako, ebituukagana n’omutwe gwe tuba tukubaganyaako ebirowoozo. Naye ekitundu bwe kiba nga kiwanvu nnyo, kiyinza okukutulwamu ebitundu. Ekitundu ekyo tekiriiko bibuuzo. Oyo akubiriza okusoma ekitabo ayinza okubuuza abawuliriza ebibuuzo ebiggyayo ensonga enkulu eziri mu kitundu ekyo ekiba kisomeddwa.
4 Bwe tunaaba tusoma Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo tetujja kulandagga nnyo. Naye ate mu kuyigiriza abantu Baibuli tetujja kukola bwe tutyo, naddala abo abagimanyiiko ekitono oba abatagimanyiddeko ddala. (Bik. 26:28, 29) Bwe tunaaba tubayigiriza, kijja kutwetaagisa okunnyonnyola obulungi ebyawandiikibwa, ebyokulabirako, n’ebirala. N’olwekyo kifuule kiruubirirwa kyo okubeerawo mu nkuŋŋaana buli wiiki era n’okwenyigira mu kusoma akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?