Yamba Abalala Okugondera Ekyo Baibuli Ky’Eyigiriza
“N’ezo ez’omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n’okugumiikiriza.”—LUKKA 8:15.
1, 2. (a) Lwaki akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kaakubibwa? (b) Mu myaka egyakayita, Yakuwa awadde atya omukisa omulimu gw’abantu be ogw’okufuula abalala abayigirizwa?
“AKATABO kano kayitirivu. Abayizi bange bakanyumirwa era nange bwe ntyo. Kayamba nnyo mu kutandikirawo okuyigiriza omuntu Baibuli nga mwakasisinkana.” Bw’atyo Omujulirwa wa Yakuwa akola nga payoniya bwe yayogera ku katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?a Akatabo ke kamu, ow’oluganda amaze emyaka mingi nga mulangirizi wa Bwakabaka yakoogerako bw’ati: “Nnyambye abantu bangi okumanya Yakuwa mu myaka 50 gye mmaze nga mbuulira. Naye mu butabo bwonna bwe nnali nkozesezza, kano ka njawulo nnyo. Kalimu ebyokulabirako n’ebifaananyi ebirungi.” Naawe akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza bw’otyo bw’okasanze? Akatabo kano ak’okukozesa okuyigiriza abalala Baibuli kaakubibwa okukuyamba okutuukiriza ekiragiro kya Yesu: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.”—Matayo 28:19, 20.
2 Awatali kubuusabuusa omutima gwa Yakuwa gusanyuka bw’alaba Abajulirwa nga 6,600,000 nga bagondera ekiragiro kya Yesu eky’okufuula abalala abayigirizwa. (Engero 27:11) Mazima ddala Yakuwa awa omukisa okufuba kwabwe. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gw’obuweereza 2005, amawulire amalungi gaabuulirwa mu nsi 235, era abantu abayigirizibwa Baibuli baasukka 6,061,500. N’ekyavaamu, abantu bangi ‘baawulira ekigambo kya Katonda ne bakikkiriza si ng’ekigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.’ (1 Abasessaloniika 2:13, NW) Mu myaka ebiri egiyise, abantu abasukka mu mitwalo ataano baakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne beewaayo eri Yakuwa.
3. Bibuuzo ki ebikwata ku nkozesa y’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
3 Gye buvuddeko awo, ofunye omukisa okubaako ne gw’oyigiriza Baibuli? Okwetooloola ensi, wakyaliyo abantu ‘ab’omutima omugolokofu era omulungi,’ era nga bwe banaaba bawulidde ekigambo kya Katonda bajja ‘kukinyweza, era babale ebibala n’okugumiikiriza.’ (Lukka 8:11-15) Ka twetegereze engeri gye tuyinza okukozesaamu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu mulimu gw’okufuula abalala bayigirizwa. Tugenda kwekenneenya ebibuuzo bisatu: (1) Osobola otya okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli? (2) Ngeri ki ez’okuyigiriza ezisingayo obulungi? (3) Osobola otya okuyamba omuyizi okuyiga okusomesa abalala Ekigambo kya Katonda Baibuli?
Engeri y’Okutandikamu Okuyigiriza Omuntu Baibuli
4. Lwaki abamu bayinza okutya okuyiga Baibuli, era oyinza kubayamba otya?
4 Singa bakugamba obuuke omwala omugazi, oyinza okutya okukikola. Naye singa bakuteerawo amayinja kw’osobola okuyitira, tojja kusanga buzibu kugusomoka. Mu ngeri y’emu, omuntu alina eby’okukola ebingi ayinza okutya nti okuyiga Baibuli kujja kumwetaagisa okufuba ennyo n’okuwaayo ebiseera bingi. Omuntu ng’oyo oyinza kumuyamba otya okuyiga Ekigambo kya Katonda? Osobola okukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, nga buli lwe musoma okozesa akaseera katono naye nga akaganyulwamu. Singa oteekateeka bulungi, buli lwe musoma ojja kuba ng’amuteereddewo ejjinja ery’okuyitirako okufuna omukwano ne Yakuwa.
5. Lwaki kikwetaagisa okusoma akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
5 Wabula okusobola okuyamba omuntu okuganyulwa mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, gwe kennyini olina okuba ng’okamanyi bulungi. Wali okasomye n’okamalako? Omwami omu ne mukyala we abaali bagenze okulambula, baali basoma akatabo kano ne wajja omukazi eyalina by’aguza abalambuzi. Bwe yalaba omutwe gw’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, yabagamba nti yali yakamala okusaba Katonda amuwe eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kye nnyini. Ne ssanyu lingi baamufunira kopi eyiye. Wali ‘weegulidde ebiseera’ okuddamu okusoma akatabo kano, oboolyawo ng’olina gw’olinda okulaba oba ng’owumuddemu ku mulimu oba ku ssomero? (Abaefeso 5:15, 16) Bw’okola bw’otyo, ojja kutegeera bulungi ebikalimu era kikusobozese okulaba engeri gy’oyinza okubikozesa okwogera n’abalala.
6, 7. Osobola otya okukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli?
6 Bw’oba ogaba akatabo kano ng’oli mu kubuulira, kozesa ebifaananyi, ebyawandiikibwa, n’ebibuuzo ebiri ku lupapula 4, 5, ne 6. Ng’ekyokulabirako, oyinza okutandika ng’obuuza omuntu nti, “Tuyinza kugya wa obulagirizi obusobola okutuyamba okugonjoola ebizibu bye twolekagana nabyo leero?” Ng’omaze okuwuliriza ky’agamba soma 2 Timoseewo 3:16, 17, era omunnyonnyole nti Baibuli eraga engeri ebizibu abantu bye balina gye bijja okuggwaawo. Oluvannyuma mutwale ku lupapula 4 ne 5, era omubuuze nti: “Ku mbeera z’olaba wano, eruwa esinga okukweraliikiriza?” Bw’anokolayo emu ku zo, mukwase akatabo era omusomere ekyawandiikibwa ekikwatagana n’ekizibu ekyo. Bw’omala, soma ebiri ku lupapula 6, era omubuuze, “Kibuuzo ki ku bino omukaaga kye wandyagadde okufuna eky’okuddamu?” Ekibuuzo kyonna ky’aba alonze, mulage essuula omuli eky’okuddamu, mulekere akatabo era kola naye enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekyo.
7 Ennyanjula eyo waggulu eyinza okutwala eddakiika nga ttaano. Kyokka mu ddakiika ezo entono, ojja kuba otegedde ekimweraliikiriza, ng’omusomedde ebyawandiikibwa bibiri, ng’omulaze engeri gye bimuganyulamu, era ng’okoze n’enteekateeka okuddayo. Omuntu oyo ayinza okuba ng’abadde aludde okuwulira ebigambo ebizzaamu amaanyi ng’ebyo by’oba oyogedde naye mu kaseera akatono. Bwe kityo, n’omuntu awulira nti alina ebiseera bitono, ayinza okwesunga akaseera lwe muliddamu okusoma ng’omuyamba okulaba ‘ekkubo erituusa mu bulamu.’ (Matayo 7:14) Omuntu oyo bw’agenda yeeyongera okwagala okuyiga ebisingawo, n’ekiseera kye mumala nga muyiga kirina okugenda nga kyeyongerako. Osobola okumusaba ne mubaako we mutuula era ne musoma okumala akaseera akasingako.
Engeri ez’Okuyigiriza Ezisingayo Obulungi
8, 9. (a) Osobola otya okuyamba omuyizi wa Baibuli okwolekagana n’okugezesebwa? (b) Tuyinza kugya wa eby’okuzimbisa eby’omuwendo ebituyamba okunyweza okukkiriza?
8 Omuntu bw’atandika okugondera Baibuli ky’eyigiriza, ayinza okufuna ebiyinza okumulemesa okukulaakulana. Omutume Pawulo yagamba nti: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Okugezesebwa kuno Pawulo yakugeraageranya ku muliro ogusobola okwonoona ebintu ebitali bigumu ebikozesebwa mu kuzimba naye ne gulekawo ebintu nga zaabu, ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo. (1 Abakkolinso 3:10-13; 1 Peetero 1:6, 7) Omuyizi wa Baibuli okusobola okwolekagana n’okugezesebwa, weetaaga okumuyamba okukulaakulanya engeri eziringa eby’okuzimbisa ebitasobola kukwata muliro.
9 Omuwandiisi wa zabbuli yageraageranya ‘ebigambo bya Yakuwa’ ku “ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, erongoosebwa emirundi omusanvu.” (Zabbuli 12:6) Mazima ddala, Baibuli erimu eby’omuwendo byonna bye tusobola okukozesa okuzimba okukkiriza okunywevu. (Zabbuli 19:7-11; Engero 2:1-6) Era akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kakulaga engeri gy’oyinza okukozesa Ebyawandiikibwa obulungi.
10. Osobola otya okuteeka essira ku Byawandiikibwa ng’osoma n’omuyizi?
10 Bwe muba musoma, teeka essira ku byawandiikibwa ebiri mu ssuula eyo. Kozesa ebibuuzo okuyamba omuyizi okutegeera ebyawandiikibwa ebikulu n’engeri gye biyinza okumuganyula. Weewale okumusalirawo eky’okukola. Mu kifo ky’ekyo, goberera ekyokulabirako kya Yesu. Omusajja eyali amanyi Amateeka bwe yamubuuza ekibuuzo, Yesu yamuddamu: “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?” Omusajja bwe yakozesa Ebyawandiikibwa okuddamu, Yesu yakozesa ekyokulabirako okumuyamba okulaba engeri gy’asobola okweyambisa emisingi egibirimu. (Lukka 10:25-37) Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kalimu ebyokulabirako bingi ebyangu okutegeera by’oyinza okukozesa okuyamba omuyizi okussa mu nkola emisingi egiri mu Byawandiikibwa.
11. Omuyizi osaanidde kumusomesa kyenkana wa buli mulundi?
11 Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kannyonnyola Ekigambo kya Katonda mu ngeri ennyangu, nga ne Yesu bwe yannyonnyolanga ebintu ebizibu okutegeera mu ngeri ennyangu. (Matayo 7:28, 29) Goberera ekyokulabirako kya Yesu ekyo. Nnyonnyola ensonga mu ngeri ennyangu okutegeera. Omuyizi tomusomesa bingi ng’oluubirira kumalako mangu ssuula. Wabula sinziira ku mbeera ye n’obusobozi bwe obw’okutegeera okumanya obutundu bwe musobola okusoma buli mulundi. Yesu yali amanyi obusobozi bw’abayigirizwa be, era bw’atyo yabayigiriza bitonotono bye baali basobola okuteegera mu kiseera ekyo.—Yokaana 16:12.
12. Ebyongerezeddwako bisaanidde kukozesebwa bitya?
12 Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kalina ebyongerezeddwako nga biri wansi w’emitwe 14. Okusinziira ku bwetaavu bw’omuyizi, gwe amusomesa olina okulaba engeri gye biyinza okukozesebwa okuganyula omuyizi. Gamba, singa abaako n’ensonga gy’atategedde bulungi oba singa abuuza ekibuuzo ekikwata ku njigiriza enkyamu z’abadde akkiririzaamu, oyinza okumulaga ekitundu mu byongerezeddwako ekiddamu ekibuuzo kye ne yeesomereyo. Ku luuyi olulala, kiyinza okwetaagisa okubiyitamu mwembi. Ebyongerezeddwako byogera ku bintu ebikulu eby’omu Byawandiikibwa nga, “Ddala Abantu Balina Omwoyo Ogutafa?” ne “Okutegeera ‘Babulooni Ekinene.’” Oyinza okukubaganya ebirowoozo n’omuyizi wo ku mitwe ng’egyo. Okuva bwe kiri nti tewali bibuuzo biweereddwa ku ebyo ebiri mu byongerezeddwako, kijja kukwetaagisa okuba ng’omanyi bulungi ebitundu bino okusobola okubuuza ebibuuzo ebisaanidde.
13. Okusaba kuyamba kutya omuyizi okunyweza okukkiriza kwe?
13 Zabbuli 127:1 egamba nti: “Mukama bw’atazimba nnyumba, abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw’atakuuma kibuga, omukuumi atunuulirira bwereere.” N’olwekyo, bw’oba oteekateeka okuyigiriza omuntu Baibuli, saba obuyambi bwa Yakuwa. By’osaba nga mutandika era nga mumaliriza buli lwe musoma bisaanidde okukiraga nti olina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kubiriza omuyizi okusaba Yakuwa amuyambe okutegeera Ekigambo Kye n’okufuna amaanyi okussa mu nkola by’ayiga. (Yakobo 1:5) Bw’akola bw’atyo, ajja kusobola okugumira okugezesebwa, era kijja kwongera okunyweza okukkiriza kwe.
Muyambe Abayizi ba Baibuli Okuyiga Okusomesa
14. Kukulaakulana ki omuyizi kwe yeetaaga okutuukako?
14 Abayizi baffe aba Baibuli bwe baba ab’okugondera “byonna” Yesu bye yalagira abayigirizwa be, beetaaga okuyiga okusomesa abalala Ekigambo kya Katonda. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 1:6-8) Kiki ky’oyinza okukola okuyamba omuyizi okukulaakulana n’atuuka ku kino?
15. Lwaki osaanidde okukubiriza omuyizi wo owa Baibuli okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
15 Nga mwakatandikira ddala okusoma, mukubirize okujja mu nkuŋŋaana. Munnyonnyole nti mu nkuŋŋaana gye tufuna okutendekebwa okufuuka abasomesa b’Ekigambo kya Katonda. Okumala wiiki eziwerako, ku buli nkomerero y’okusoma mala eddakiika ntono okumunnyonnyola ebibeera mu nkuŋŋaana entono n’ennene. Yogera n’ebbugumu ku migaso gye tufuna mu nkuŋŋaana zino. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Omuyizi bw’atandika okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa, kijja kumwanguyira okufuuka omusomesa w’Ekigambo kya Katonda.
16, 17. Biruubirirwa ki omuyizi wa Baibuli by’ayinza okweteerawo?
16 Yamba omuyizi wa Baibuli okweteerawo ebiruubirirwa. Ng’ekyokulabirako, mukubirize okubuulirako mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze ku by’ayiga. Ate era, mukubirize okweteerawo ekiruubirirwa eky’okusoma Baibuli yonna. Singa omuyamba okweteerawo enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku, kijja kumuyamba nnyo naddala ng’amaze okubatizibwa. Okugatta ku ekyo, mulage obukulu bw’okujjukira waakiri Ekyawandiikibwa kimu ekiddamu ekibuuzo ekikulu mu buli ssuula y’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kino kijja kumuyamba okufuuka “omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.”—2 Timoseewo 2:15, NW.
17 Mu kifo ky’okuyigiriza omuyizi wa Baibuli okuddamu obuteerevu ebiri mu byawandiikibwa oba okubyogerako obwogezi, mukubirize okunnyonnyola engeri gye bikwataganamu n’ensonga eba eyogerwako oba engeri gy’ayinza okubikozesa okuddamu oyo aba alina ky’abuuzizza ku nzikiriza ye. Musobola okwegezaamu, nga ggwe okola ng’omu ku b’eŋŋanda ze oba mukozi munne amubuuzizza ekibuuzo ekikwata ku nzikiriza ye. Mulage engeri y’okuddamu ‘n’obuwoombeefu era nga assa ekitiibwa mu balala.’—1 Peetero 3:15, NW.
18. Omuyizi wa Baibuli bw’afuuka omubuulizi atali mubatize, tuyinza kweyongera kumuyamba tutya?
18 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omuyizi ayinza okutuukiriza ebisaanyizo by’okubuulirira wamu n’ekibiina. Kiggumize nti obuweereza bw’ennimiro nkizo ya maanyi. (2 Abakkolinso 4:1, 7) Abakadde bwe balaba nti omuyizi atuukiriza ebisaanyizo by’okuba omubuulizi atali mubatize, muyambe okuteekateeka ennyanjula ennyangu era oluvannyuma mugende mwembi mu buweereza. Weeyongere okukolangako naye mu ngeri ez’okubuulira ezitali zimu, era omuyigirize okweteekerateekera okuddayo eri abaalaga okusiima. Ekyokulabirako kyo ekirungi kijja kumuyamba nnyo.—Lukka 6:40.
‘Weerokole Wekka era n’Abo Abakuwuliriza’
19, 20. Kiruubirirwa ki kye tusaanidde okweteerawo, era lwaki?
19 Awatali kubuusabuusa, okuyamba omuntu ‘okutegeera amazima’ kyetaagisa okufuba. (1 Timoseewo 2:4) Wadde nga kiri kityo, essanyu eriva mu kuyamba omuntu okugondera ekyo Baibuli ky’eyigiriza, terigeraageranyizika. (1 Abasessaloniika 2:19, 20) Mu butuufu, eba nkizo ya maanyi ‘okukolera awamu ne Katonda’ mu mulimu gw’okuyigiriza ogukolebwa mu nsi yonna!—1 Abakkolinso 3:9.
20 Ng’akozesa Yesu Kristo ne bamalayika ab’amaanyi, mangu ddala Yakuwa ajja kuzikiriza abo bonna “abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.” (2 Abasessaloniika 1:6-8) Obulamu bw’abantu buli mu kabi. Osobola okukifuula ekiruubirirwa kyo waakiri okubaako n’omuntu omu gw’oyigiriza Baibuli mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Nga bwe weenyigira mu mulimu guno, ojja kusobola ‘okwerokola wekka era n’abo abakuwulira.’ (1 Timoseewo 4:16.) Kyetaagisa nnyo kati okusinga ne bwe kyali kibadde, okuyamba abantu okugondera ekyo Baibuli ky’eyigiriza.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Kiki ky’Oyize?
• Lwaki akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kaakubibwa?
• Osobola otya okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
• Ngeri ki ez’okuyigiriza ezisingayo obulungi?
• Osobola otya okuyamba omuyizi okufuuka omusomesa w’Ekigambo kya Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Akatabo kano okakozesa bulungi?