Ssaayo Omwoyo ku ‘Kuyigiriza’ Kwo
“Buuliranga ekigambo; . . . nenyanga, buuliriranga n’okugumiikirizanga kwonna n’okuyigiriza.”—2 TIM. 4:2.
1. Kiragiro ki Yesu kye yawa abayigirizwa be, era kyakulabirako ki kye yabateerawo?
WADDE nga mu buweereza bwe obw’oku nsi Yesu yawonyanga abantu mu ngeri ey’ekyamagero, okusingira ddala yali amanyiddwa ng’omuyigiriza so si ng’omukozi w’ebyamagero. (Mak. 12:19; 13:1) Okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gwe gwali omulimu gwe ogusinga obukulu, era bwe kityo bwe kiri n’eri abagoberezi be leero. Abakristaayo balina okwongera okukola omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa nga bayigiriza abantu okukwata byonna Yesu bye yalagira.—Mat. 28:19, 20.
2. Twetaaga kukola ki okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
2 Okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abalala abayigirizwa, twetaaga bulijjo okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu. Omutume Pawulo yalaga obukulu bw’ensonga eyo bwe yali awandiikira mukozi munne Timoseewo. Yagamba nti: “Ssaayo omwoyo ku kuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.” (1 Tim. 4:16, NW) Okuyigiriza Pawulo kwe yali ayogerako kusingawo ku kubuulira omuntu ebyo by’atamanyi. Ababuulizi abalungi bafuba okutuuka ku mitima gy’abantu era n’ebabakubiriza okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Ekyo kyetaagisa obukugu. Kati olwo tusobola tutya okulongoosa mu ngeri gye ‘tuyigirizaamu’ abalala bwe tuba tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda?—2 Tim. 4:2.
Funa Obukugu mu ‘Kuyigiriza’
3, 4. (a) Tusobola tutya okufuna obukugu mu ‘kuyigiriza’? (b) Essomero ly’Omulimu gwa Katonda lituyamba litya okufuuka abasomesa abalungi?
3 Obukugu bwe bumanyirivu omuntu bw’afuna okuyitira mu kwesomesa, okussa mu nkola by’ayiga oba okukoppa abalala. Twetaaga okussaayo omwoyo ku bintu ebyo byonna ebisatu okusobola okufuuka abayigiriza abalungi ab’amawulire amalungi. Okutegeera obulungi kye twagala okuyigiriza abalala, tulina okusooka okusaba n’okukyesomesa. (Soma Zabbuli 119:27, 34.) Okwetegereza engeri ababuulizi abalina obumanyirivu gye bayigirizaamu kijja kutuyamba okuyiga engeri zaabwe. Era bwe tufuba okussa mu nkola bye tuyiga kijja kutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.—Luk. 6:40; 1 Tim. 4:13-15.
4 Yakuwa ye Muyigiriza waffe Omukulu. Okuyitira mu kibiina kye wano ku nsi, awa abaweereza be obulagirizi ku ngeri gye basaanidde okutuukirizaamu omulimu gw’okubuulira gw’abawadde. (Is. 30:20, 21) Bwe kityo, ebibiina byonna bibeera n’olukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda buli wiiki, eryateekebwawo okuyamba abo bonna abalirimu okufuuka abalangirizi b’Obwakabaka bwa Katonda abalungi. Ekitabo ekikulu ekikozesebwa mu ssomero lino ye Baibuli. Ekigambo kya Yakuwa ekyaluŋŋamizibwa kitubuulira bye tulina okuyigiriza. Ate era, kiraga engeri ennungi ez’okuyigiriza era ezisaana okukozesebwa. Essomero ly’Omulimu gwa Katonda bulijjo litujjukiza okusobola okufuuka abasomesa abalungi tulina okwesigamya bye tuyigiriza ku Kigambo kya Katonda, okukozesa obulungi ebibuuzo, okuyigiriza mu ngeri ennyangu okutegeera, n’okulaga nti tufaayo ku balala. Ka twetegereze ensonga ezo emu ku emu. Ate era tulabe n’engeri gye tusobola okutuuka ku mutima gw’omuyizi.
Weesigamye by’Oyigiriza ku Kigambo kya Katonda
5. Bye tuyigiriza tusaanidde kubyesigamya ku ki, era lwaki?
5 Yesu, nga ye muntu eyasingirayo ddala okuyigiriza obulungi, yeesigamyanga enjigiriza ze ku Byawandiikibwa. (Mat. 21:13; Yok. 6:45; 8:17) Teyayogeranga bibye ku bubwe, wabula eby’Oyo eyamutuma. (Yok. 7:16-18) Ekyo ky’ekyokulabirako kye tugoberera. N’olwekyo, bye twogera nga tubuulira nnyumba ku nnyumba oba nga tuyigiriza abantu Baibuli, tusaanidde okubyesigamya ku Kigambo kya Katonda. (2 Tim. 3:16, 17) Ebigambo eby’amagezi bye tuyinza okukozesa okunnyonnyola tebiyinza kwenkana Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa maanyi. Obubaka obuli mu Baibuli bulina amaanyi. N’olwekyo, ka ebeere nsonga ki gye tuba tufuba okuyamba omuyizi okuteegera, engeri esingayo obulungi kwe kumusaba okusoma ekyo Ebyawandiikibwa kye bigyogerako.—Soma Abaebbulaniya 4:12.
6. Oyo ayigiriza ayinza atya okukakasa nti omuyizi ategeera bulungi by’asoma?
6 Kino tekitegeeza nti omubuulizi talina kweteekateeka ng’alina gw’agenda okuyigiriza Baibuli. Wabula, alina okusalawo n’obwegendereza byawandiikibwa ki ku ebyo ebiweereddwa ebijja okusomebwa ng’ayigiriza omuyizi Baibuli. Bulijjo kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa ebiwagira obutereevu enjigiriza yaffe. Era kyetaagisa okuyamba omuyizi okutegeera obulungi buli kyawandiikibwa ky’aba asomye.—1 Kol. 14:8, 9.
Kozesa Bulungi Ebibuuzo
7. Lwaki okukozesa ebibuuzo ngeri nnungi ey’okuyigiriza?
7 Okukozesa obulungi ebibuuzo kireetera omuntu okulowooza era kiyamba n’omusomesa okutuuka ku mutima gw’omuyizi. N’olwekyo, mu kifo ky’okunnyonnyola omuyizi ebyawandiikibwa, musabe ye y’aba abikunnyonnyola. Oluusi kiyinza okukwetaagisa okumubuuza ekibuuzo ekirala oba ebibuuzo ebiweerako okusobola okumuyamba okutegeera obulungi ensonga. Bw’okola bw’otyo, oba oyamba omuyizi okutegeera nsonga lwaki ky’omuyigiriza kiri bwe kityo era naye kennyini okulaba lwaki ekyo kye kituufu.—Mat. 17:24-26; Luk. 10:36, 37.
8. Tuyinza tutya okutegeera ekiri ku mutima gw’omuyizi?
8 Bwe tuba tukozesa ebitabo byaffe okusomesa abalala tukozesa ebibuuzo. Kya lwatu nti abantu abasinga be tuyigiriza Baibuli kibanguyira okuddamu ebibuuzo ebyo ebiri mu butabo nga bakozesa ebyo ebiri mu butundu obuweereddwa. Wadde kiri kityo, omusomesa afaayo okutuuka ku mutima gw’omuyizi, taba mumativu olw’okuba omuyizi by’aba azzeemu bituufu. Ng’ekyokulabirako, omuyizi ayinza okunnyonnyola bulungi ekyo Baibuli ky’eyogera ku bukaba n’obwenzi. (1 Kol. 6:18) Kyokka, ebibuuzo ebikozesebwa mu ngeri ey’amagezi biyinza okulaga endowooza gy’alina ku by’ayiga. Bwe kityo, omusomesa ayinza okumubuuza nti: “Lwaki Baibuli evumirira okwetaba wabweru w’obufumbo? Kiki ky’olowooza ku teeka lya Katonda eryo? Olowooza waliwo emiganyulo gyonna egiri mu kugondera emitindo gya Katonda egy’empisa?” Omuyizi by’addamu mu bibuuzo ebyo biyinza okulaga ekiri ku mutima gwe.—Soma Matayo 16:13-17.
Yigiriza mu Ngeri Ennyangu Okutegeera
9. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tuyigiriza omuntu Baibuli?
9 Enjigiriza ezisinga eziri mu Kigambo kya Katonda nnyangu okutegeera. Kyokka, kiyinza okuba nti abantu b’oyigiriza Baibuli baali baabuzaabuzibwa enjigiriza z’amadiini ag’obulimba. Omulimu gwaffe ng’abasomesa kwe kunnyonnyola Baibuli mu ngeri ennyangu okutegeera. Abayigiriza abalungi bayigiriza ebintu ebituufu era mu ngeri ennyangu okutegeera. Singa tukolera ku bulagirizi obwo, kijja kutuyamba okwewala okunnyonnyola ebintu mu ngeri enzibu okutegeera. Weewale okujjayo kalonda yenna ateetaagisa. Tekyetaagisa kwogera ku buli kamu akali mu kyawandiikibwa ekiba kisomeddwa. Yogera ku ekyo kyokka ekyetaagisa okuggyayo obulungi ensonga eba eyogerwako. Omuyizi bw’anagenda akulaakulana ajja kweyongera okutegeera amazima g’omu Byawandiikibwa.—Beb. 5:13, 14.
10. Bintu ki ebituyamba okutegeera obungi bw’ebyo bye tusobola okuyigiriza omuyizi buli lwe tumusomesa?
10 Omuyizi tusaanidde kumuyigiriza kyenkana wa buli lwe tumusomesa? Okusobola okusalawo obulungi kyetaagisa amagezi. Embeera y’omuyizi n’eyoyo amuyigiriza n’obusobozi bwabwe bya njawulo, naye tusaanidde okujjukira nti ekigendererwa kyaffe ng’abasomesa kwe kuyamba abayizi baffe mu okuzimba okukkiriza okunywevu. N’olwekyo, kyetaagisa okumuwa ekiseera ekimala okusoma, okutegeera obulungi, n’okukkiriza amazima agayigirizibwa mu Kigambo kya Katonda. Tetwagala kumuyigiriza bingi nnyo ne kiba nti bimuzibuwalira okutegeera. Mu kiseera kye kimu tetusaanidde kugenda mpola nnyo. Omuyizi kasita aba ng’ensonga agitegedde bulungi, tweyongereyo ku ndala.—Bak. 2:6, 7.
11. Kiki kye tuyigira ku ngeri Omutume Pawulo gye yayigirizangamu?
11 Omutume Pawulo yabuulira amawulire amalungi mu ngeri ennyangu okutegeera bwe yabanga ayogera n’abantu abapya. Wadde nga yali muyigirize nnyo, yeewala okukozesa ebigambo ebizibu okutegeera. (Soma 1 Abakkolinso 2:1, 2.) Bwe tuyigiriza amazima g’omu Byawandiikibwa mu ngeri ennyangu okutegeera kisikiriza era ne kireetera abantu abeesimbu okugasiima. N’olwekyo, omuntu tekimwetaagisa kuba muyivu nnyo okusobola okugategeera.—Mat. 11:25; Bik. 4:13; 1 Kol. 1:26, 27.
Yamba Abayizi Okusiima Bye Bayiga
12, 13. Kiki ekiyinza okuleetera omuyizi okukolera ku ebyo by’ayiga? Waayo ekyokulabirako.
12 Okusobola okuyigiriza obulungi tulina okutuuka ku mutima gw’omuyizi. Omuyizi alina okutegeera engeri ebyo by’ayiga gye bimukwatako, gye bimuganyulamu, n’engeri obulamu bwe gye busobola okulongooka singa akolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa.—Is. 48:17, 18.
13 Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga twogera ku Abaebbulaniya 10:24, 25, awakubiriza Abakristaayo okukuŋŋaana awamu okusobola okuzziŋŋanamu amaanyi nga beeyambisa Ebyawandiikibwa. Omuyizi bw’aba tannatandika kujja mu nkuŋŋaana, tusobola okumunnyonnyola engeri gye zikubirizibwamu n’ebiyigirizibwayo. Oyinza okumutegeeza nti enkuŋŋaana z’ekibiina kiba kitundu kya kusinza kwaffe era n’omulaga nti zituganyula kinnoomu. Awo nno tuyinza okumuyita okuzibeeramu. Okwagala okusanyusa Yakuwa kye kisaanidde okumukubiriza okugondera ebiragiro ebiri mu Byawandiikibwa, so si kwagala kusanyusa oyo amuyigiriza.—Bag. 6:4, 5.
14, 15. (a) Kiki omuyizi wa Baibuli ky’ayinza okuyiga ku Yakuwa? (b) Okutegeera engeri za Katonda kiyinza kuganyula kitya omuyizi wa Baibuli?
14 Omuganyulo ogusinga obukulu abayizi gwe bafuna mu kuyiga Baibuli n’okukolera ku misingi gyayo guli nti bafuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. (Is. 42:8) Ng’oggyeko okuba nti ye Kitaffe omwagazi, Omutonzi era Nannyini butonde, amanyisa abo abamwagala era abamuweereza engeri ze. (Soma Okuva 34:6, 7.) Musa bwe yali anaatera okukulembera eggwanga lya Isiraeri okubaggya mu buwambe e Misiri, Yakuwa yeeyogerako ng’agamba nti: “N[n]inga bwe ndi.” (Kuv. 3:13-15) Kino kyali kitegeeza nti Yakuwa yandifuuse kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye ebikwata ku bantu be abalonde. Bwe kityo, Abaisiraeri baategeera nti Yakuwa yali asobola okubalokola, okubalwanirira, okubalabirira, otuukiriza ebisuubizo bye n’okubakolera ebintu ebirala bingi.—Kuv. 15:2, 3; 16:2-5; Yos. 23:14.
15 Abayizi baffe bayinza obutafuna buyambi kuva eri Yakuwa mu ngeri ey’ekyamagero nga Musa. Wadde kiri kityo, bwe bagenda beeyongera okunywera mu kukkiriza n’okusiima ebyo bye bayiga era n’okutandika okubissa mu nkola, bajja kulaba nti kyetaagisa okwesiga Yakuwa okubawa obuvumu, amagezi, n’obulagirizi. Bwe bakola bwe batyo, nabo bajja kutegeera nti kya muganyulo okukolera ku magezi ga Yakuwa, era nti asobola okubakuuma, n’okubawa byonna bye beetaaga.—Zab. 55:22; 63:7; Nge. 3:5, 6.
Laga nti Ofaayo ku Balala
16. Lwaki okuba n’obusobozi bw’okuyigiriza si kye kisinga obukulu mu kuba omusomesa omulungi?
16 Singa owulira nti tosobola kuyigiriza bulungi nga bwe wandyagadde, ekyo tokikkiriza kukumalamu maanyi. Yakuwa ne Yesu balabirira omulimu gw’okuyigiriza ogukolebwa mu nsi yonna. (Bik. 1:7, 8; Kub. 14:6) Basobola okuwa omukisa okufuba kwaffe ne kiba nti ebigambo byaffe bisobola okukwata ku mitima gy’oyo ayagala amazima. (Yok. 6:44) Ne bwe kiba nti omusomesa alina obusobozi bw’okuyigiriza butono, bw’alaga omuyizi we okwagala, kirina kinene nnyo kye kiyinza okumukolako. Omutume Pawulo yakiraga nti yali amanyi bulungi obukulu bw’okulaga okwagala abo b’oba oyigiriza.—Soma 1 Abasessaloniika 2:7, 8.
17. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku buli muyizi wa Baibuli?
17 Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okulaga nti tufaayo ku buli muyizi nga tufuba okumanya ebimukwatako. Bwe tugenda tukubaganya naye ebirowoozo ku misingi gy’omu Byawandiikibwa, tuyinza okweyongera okumanya ebimukwatako. Tuyinza okukiraba nti ebintu ebimu by’ayize atandise okubissa mu nkola. Ate era tuyinza n’okulaba nti alina enkyukakyuka endala ze yeetaaga okukola. Bwe tuyamba omuyizi okulaba engeri gy’ayinza okussa mu nkola by’ayiga, tuba tumuyamba okufuuka omuyigirizwa wa Yesu owa nnamaddala.
18. Lwaki kikulu okusaba n’omuyizi ate era n’okumusabira?
18 Ekisingira ddala obukulu, kwe kusaba n’omuyizi waffe, era n’okumusabira. Tusaanidde okumuyamba okukitegeera nti ekigendererwa kyaffe kwe kumuyamba okumanya Omutonzi we, okufuna enkolagana ey’okulusegere naye, n’okuganyulwa mu bulagirizi bw’awa. (Soma Zabbuli 25:4, 5.) Bwe tusaba Yakuwa okuyamba omuyizi okussa mu nkola by’ayiga, kisobola okuyamba omuyizi okulaba obukulu bw’okuba ‘omukozi w’ekigambo.’ (Yak. 1:22) Omuyizi bw’awuliriza engeri gye tusabamu mu bwesimbu, naye ajja kuyiga engeri y’okusabamu. Nga kiba kya ssanyu okuyamba omuyizi wa Baibuli okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa!
19. Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
19 Kizzaamu amaanyi okukimanya nti okwetooloola ensi Abajulirwa abasukka mu bukadde omukaaga n’ekitundu bafuba okufuna obukugu mu ‘kuyigiriza’ nga balina ekigendererwa eky’okuyamba abantu abalina emitima emirungi okukwata byonna Yesu bye yalagira. Biki ebivudde mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira? Ekitundu ekiddako kijja kuwa eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.
Ojjukira?
• Lwaki Abakristaayo beetaaga okufuna obukugu mu ‘kuyigiriza’?
• Ngeri ki ezisobola okutuyamba okuyigiriza obulungi?
• Kiki ekisobola okutuyamba bwe tuwulira nti obusobozi bwaffe obw’okuyigiriza butono?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Oli mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Lwaki kikulu okujuliza omuyizi wo mu Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Saba n’omuyizi wo era musabire