Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza—Kye ky’Okukozesa Ekikulu nga Tuyigiriza Abantu Baibuli
1 Nga twasanyuka nnyo bwe twafuna akatabo akapya akalina omutwe, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? mu lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Obuwulize eri Katonda”! Buli eyaliwo ku lukuŋŋaana luno yasanyuka okufuna kopi ye ey’akatabo kano ku nkomerero ya programu ey’olw’Omukaaga. Akatabo kano akapya kanaakozesebwa katya? Kye ky’okukozesa ekikulu ekyategekebwa okuyigiririzaamu abantu Baibuli. Wadde ng’akatabo kano kajja kugabibwa mu mwezi ogwa Maaki, ababuulizi bakubirizibwa okutandikirawo okukakozesa nga bayigiriza abantu Baibuli.
2 Abayizi ba Baibuli Be Tulina: Ababuulizi abalina be bayigiriza Baibuli nga bakozesa akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa, balina okukozesa amagezi nga basalawo ddi era mu ngeri ki gye bayinza okutandika okukozesa akatabo akapya. Bw’oba ng’obadde waakatandika okuyigiriza omuntu Baibuli, oyinza okukyusa n’otandika okumuyigiririza mu katabo akapya ng’otandikira ku ssuula esooka. Bwe muba nga mutuuse wala mu katabo Okumanya, muyinza okukyusa ne mudda mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu ssuula ekwatagana n’eyo gye mubadde musoma. Ate bwe muba nga munaatera okumalako akatabo Okumanya, oyinza okusalawo ne mukamalirako ddala.
3 Awatali kubuusabuusa bangi ku ffe tumanyi abo abayinza okuganyulwa mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Lwaki totandika kubayigiriza Baibuli ng’okozesa akatabo kano? Ng’ekyokulabirako, abo abaamala okusoma brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya kyokka ne batakulaakulana kutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa, bayinza okwagala okuddamu okusoma Baibuli nga bakozesa akatabo kano akapya. N’abazadde bayinza okukozesa akatabo kano nga bayigiriza abaana baabwe Katonda by’ayagala.—Bak. 1:9, 10.
4 Okusoma Akatabo ak’Okubiri: Waliwo enteekateeka omuyizi wa Baibuli okusoma akatabo ak’okubiri ng’amazeeko akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Yee. Singa olaba nti omuyizi asiima by’ayiga era ng’akulaakulana, oyinza okweyongera okumuyigiriza Baibuli ng’okozesa akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima. Tuli bakakafu nti akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kajja kuba kya kukozesa kirungi nga tutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.