Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Butabo ki obubiri bwe tusaanidde okusoma n’abayizi baffe aba Baibuli?
Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ky’eky’okukozesa ekisingayo obukulu mu kuyigiriza abantu Baibuli. Wadde nga tuyinza okweyambisa eky’okukozesa ekirala kyonna, gamba nga tulakiti, okutandika okuyigiriza abantu Baibuli, tusaanidde okufuba okubatwala mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza amangu ddala nga bwe kisoboka. Waliwo ebirungi bingi ebivuddemu mu kutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga tukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
Bwe muba mumazeeko akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era ng’omuyizi wo akulaakulana bulungi, musaanidde okusoma akatabo Sinza Katonda. (Bak. 2:7) Olupapula 2 lunnyonnyola ekigendererwa ky’akatabo ako: “Baibuli ekubiriza bonna abaagala Katonda ‘okutegeerera ddala obugulumivu n’obuziba’ bw’amazima ge ag’omuwendo. (Abaefeso 3:18) Ekitabo kino kitegekeddwa olw’ekigendererwa ekyo. Tusuubira nti kijja kukuyamba okukula mu by’omwoyo osobole okutambulira mu kkubo efunda erinaakutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu.”
Omuyizi wo owa Baibuli bw’atuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa nga tannamaliriza butabo buno bwombi, osaanidde okweyongera okusoma naye okutuusa ng’amazeeko akatabo ak’okubiri. Ne bwe kiba nti oyo gw’osoma naye Baibuli mubatize, oyinza okubala ebiseera by’omala ng’omuyigiriza, emirundi gy’omuddira, era asobola n’okumutwala ng’omuyizi wo owa Baibuli. Omubuulizi aba akuwerekeddeko ng’ogenda okusoma n’omuntu oyo Baibuli, naye ayinza okubala ebiseera bye mumala nga mumuyigiriza.