Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ddi lwe twandirekedde awo okuyiga n’omuyizi wa Bayibuli akulaakulana?
Kiba kirungi okweyongera okusoma n’omuyizi wa Bayibuli akulaakulana okutuusa ng’amazeeko obutabo obubiri—Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? ne “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda.” Bwe kityo bwe kirina okuba omuyizi ne bw’aba ng’abatiziddwa nga tannamalako butabo bwombi. Oluvannyuma lw’omuyizi okubatizibwa tuyinza okweyongera okubala ebiseera, okuddiŋŋana, n’okumubala ng’omuyizi. Singa omubuulizi atuwerekerako era ne yeenyigira mu kuyigiriza omuyizi oyo, naye asobola okubala ebiseera.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2009, olupapula 2.
Kikulu nnyo abapya okusooka okufuna omusingi omulungi mu mazima nga tetunalekera awo kuyiga nabo. Beetaaga okuba ‘abanywevu’ mu Kristo era ‘abatasagaasagana mu kukkiriza’ kibasobozese okugumira okugezesebwa kwe bajja okwolekagana nakwo. (Bak. 2:6, 7; 2 Tim. 3:12; 1 Peet. 5:8, 9) Okugatta ku ekyo, okusobola okuyigiriza abalala obulungi, balina okusooka ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Bwe tuyigiriza abayizi ne bamalako obutabo bwombi, tuba tubayamba okunywerera mu ‘kkubo eridda mu bulamu.’—Mat. 7:14.
Ng’abakadde tebannasalawo obanga omuntu atuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa, basaanidde okukakasa nti ategeera bulungi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era ng’obulamu bwe abutuukaganya n’enjigiriza ezo. Abakadde basaanidde okuba abeegendereza naddala bwe baba beekenneenya ebisaanyizo by’omuyizi atannamalako akatabo akasooka ke tukozesa okuyigiriza abayizi ba Bayibuli. Omuyizi bw’aba nga tatuukiriza bisaanyizo eby’okubatizibwa, abakadde bajja kukakasa nti afuna obuyambi bwe yeetaaga asobole okufuna ebisaanyizo ebinaamusobozesa okubatizibwa mu biseera eby’omu maaso.—Laba akatabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 217-218.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 2]
Kikulu nnyo abapya okusooka okufuna omusingi omulungi mu mazima