Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 18
WIIKI ETANDIKA APULI 18
Oluyimba 17 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 2 ¶11-17 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yobu 28-32 (Ddak. 10)
Na. 1: Yobu 30:1-23 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu bw’Akugamba nti: “Temukkiririza mu Yesu”—rs-E lup. 219 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Kirungi Okulowooza nga Tetunnayogera—(Nge. 16:23) (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Bwe Wabaawo Abaagala Okubannyonnyola. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 177, akatundu 2, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 178. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi abuuzibwa mukozi munne atali mukkiriza ekibuuzo ekikwata ku nzikiriza zaffe. Omubuulizi addako ku bbali ne yeewuunaganya ng’asengeka mu birowoozo bye ensonga z’agenda okwogerako ng’amuddamu era oluvannyuma addamu ekibuuzo ekyo.
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kukubaganya birowoozo nga kwa kukubirizibwa mukadde.
Ddak. 10: Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi—Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 92, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 95, akatundu 2. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri ababuulira nnyumba ku nnyumba wadde nga balina obuzibu, gamba ng’obulwadde oba ensonyi. Birungi ki ebivudde mu kufuba kwabwe?
Oluyimba 26 n’Okusaba