Bayambe Baleme ‘Kusagaasagana mu Kukkiriza’
Abantu abasukka mu mitwalo abiri mu etaano be babatizibwa buli mwaka. Ekyo kitusanyusa nnyo kubanga kiraga nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira Yakuwa aguwa omukisa. (Ma. 28:2) Omuyizi bw’amala okubatizibwa, oluusi omubuulizi alekera awo okumuyigiriza ne yeemalira ku kuyamba abalala. Omuyizi naye ayinza okwagala okulekera awo okuyiga asobole okwemalira ku buweereza. Kyokka, kikulu nnyo abayizi okufuna omusingi omunywevu mu mazima. Beetaaga okuba ‘abanywevu’ mu Kristo era nga ‘tebasagaasagana mu kukkiriza.’ (Bak. 2:6, 7; 2 Tim. 3:12) N’olwekyo, omuyizi bw’amala okubatizibwa, asaanidde okweyongera okuyiga okutuusa lw’amalako obutabo bwombi, Baibuli Ky’Eyigiriza ne “Kwagala kwa Katonda.”—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 2011, olupapula 2.