Ekitundu 1—Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Omuyizi wa Baibuli y’Ani?
1 Okwetooloola ensi, abantu ba Katonda bayigiriza Baibuli abantu abawera ng’obukadde mukaaga buli mwezi. Bwe tukozesa engeri ennungi ez’okuyigiriza, tusobola okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulana ne batuuka ku ddaala ery’okwewaayo n’okubatizibwa, era oluvannyuma nabo baba ‘basobola okuyigiriza abalala.’ (2 Tim. 2:2) Wandyagadde okuyamba omuyizi wo okutuuka ku kukulaakulana ng’okwo? Okutandika n’omwezi guno, mu Obuweereza bw’Obwakabaka mujja kubeerangamu ebitundu ebinnyonnyola engeri enkulu ze tunaakozesa okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulana.
2 Ddi lwe Twanditandise Okuwaayo Lipoota Ekwata ku Muyizi wa Baibuli?: Singa okubaganya ebirowoozo n’omuntu obutayosa ng’okozesa Baibuli n’ebitabo bye tweyambisa okuyigiriza, wadde ng’omala akabanga katono, omuntu oyo aba muyizi wa Baibuli. Kino kiba bwe kityo k’obe ng’omusanze waka oba ng’okozesa essimu. Singa osoma n’omuyizi emirundi egiwera ebiri oluvannyuma lw’okumulaga engeri gye tusomamu, osobola okuwaayo lipoota ekwata ku muyizi oyo bw’oba olaba ng’aneeyongera mu maaso okusoma.
3 Abayizi ba Baibuli abasinga obungi bayigirizibwa mu brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya. Bwe babumalako era n’ebalabika nga bakulaakulana, wadde mpolampola, basobola okweyongera okusoma akatabo Sinza Katonda. Eri abo abatasobola kusoma bulungi oba abalina obuyigirize obutono, akatabo Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda! kasobola okukozesebwa.
4 Omulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli guyambye obukadde n’obukadde okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo. (Mat. 28: 19, 20) Bw’onooteeka mu nkola ebirowoozo ebinaatuweebwa mu bitundu ebinaddako, ojja kusobola okuyamba omuyizi okukulaakulana.