Kozesa Bulungi Ebitundu Ebiri mu Katabo Baibuli Ky’Eyigiriza
Omuyizi wa Bayibuli bw’ayiga ebyo Bayibuli by’eyigiriza era n’abikolerako, ajja kukulaakulana mu by’omwoyo. (Zab. 1:1-3) Tusobola okuyamba abayizi baffe okukulaakulana nga tukozesa bulungi ebitundu ebiri mu katabo Bayibuli Ky’Eyigiriza.
Ebibuuzo Ebiri ku Ntandikwa ya Buli Ssuula: Buli ssuula etandika n’ebibuuzo, era ng’ebibuuzo ebyo biddibwamu mu ssuula eyo. Oyinza okusomera omuyizi ebibuuzo ebyo asobole okwesunga ebiri mu ssuula eyo. Oba oyinza okugamba omuyizi abeeko ky’ayogera mu bufunze ku buli kibuuzo. Bw’addamu ekintu ekitali kituufu, ekyo si kye kiba ekiseera okumugolola. Ebyo by’ayogera bikuyamba okumanya ensonga z’ojja okwetaaga okuggumiza.—Nge. 16:23; 18:13.
Ebyongerezeddwako: Bwe kiba nti omuyizi ategedde bulungi ebyo ebiri mu ssuula era ng’abikkiriza, oyinza okumusaba yeesomere ebyo ebyongerezeddwako. Omulundi gw’oddamu okusoma naye, oyinza okukozesa eddakiika ntonotono okulaba obanga yategedde bye yasomye. Kyokka bw’olaba nga kyetaagisa, soma naye ekitundu kyonna eky’ebyongerezeddwako, oba musome obumu ku butundu obuli mu kitundu ekyo era omuyambe okubutegeera ensonga enkulu ng’okozesa ebibuuzo bye wategese.
Okwejjukanya: Ku nkomerero ya buli ssuula waliwo eby’okuddamu mu bibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essuula eyo. Osobola okukozesa eby’okuddamu ebyo okulaba obanga omuyizi ategedde ensonga enkulu. Musomere wamu buli kyakuddamu awamu n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa. Oluvannyuma lwa buli kyakuddamu, saba omuyizi akozese ebyawandiikibwa ebiweereddwa okunnyonnyola lwaki eky’okuddamu ekyo kituufu.—Bik. 17:2, 3.