Ekiruubirirwa Ekirungi mu Mwaka gw’Obuweereza Omupya
1. Kiruubirirwa ki kye tuyinza okweteerawo mu mwaka gw’obuweereza omupya?
1 Tuteekwa okweteerawo ebiruubirirwa bwe tuba twagala okukulaakulana mu by’omwoyo. Biruubirirwa ki bye weeteereddewo mu mwaka gw’obuweereza omupya? Ekiruubirirwa ekirungi ennyo kye ky’okuweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu oba n’okusingawo. Okuva bwe kiri nti kyetaagisa okweteekateeka nga bukyali okusobola okukola omulimu guno ogw’essanyu, kino ky’ekiseera okutandika okukola enteekateeka. Lwaki wandyeteereddewo ekiruubirirwa eky’okukola nga payoniya omuwagizi?
2. Lwaki twandyeteereddewo ekiruubirirwa eky’okukola nga payoniya omuwagizi?
2 Ensonga Lwaki Wandikoze nga Payoniya Omuwagizi: Okukola nga payoniya omuwagizi kitusobozesa okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza, bwe kityo ne ‘tweyongera’ okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. (1 Bas. 4:1) Bwe tulowooza ku ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde, emitima gyaffe gitukubiriza okubuulira abalala ebimukwatako. (Zab. 34:1, 2) Yakuwa asiima nnyo bw’alaba nga twerekereza tusobole okukola ekisingawo mu buweereza. (Beb. 6:10) Kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tukimanya nti okufuba kwaffe kusanyusa Yakuwa.—1 Byom. 29:9.
3, 4. Tuganyulwa tutya mu kukola nga bapayoniya abawagizi?
3 Emirundi egisinga obungi, gy’okoma okukola ekintu, gye kikoma okukwanguyira n’okukunyumira. Okwongera ku biseera by’omala mu buweereza kijja kukuyamba obutatya kubuulira nnyumba ku nnyumba. Era kijja kukuyamba okufuna obumanyirivu mu kukozesa Baibuli ne mu kutandika okukubaganya ebirowoozo n’abantu. Gy’okoma okubuulira, gy’okoma okuba omunywevu mu kukkiriza. Bangi basobodde okufuna abayizi ba Baibuli nga bakola nga bapayoniya abawagizi.
4 Okuweereza nga payoniya omuwagizi kisobola okuyamba omuntu okukulaakulana mu by’omwoyo. Ow’oluganda omu eyaweerezaako nga payoniya owa bulijjo mu biseera eby’emabega, yakizuula nti yali yeemalidde nnyo ku mulimu gwe omuva ssente, bw’atyo n’asalawo okukola nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu. Yagamba bw’ati: “Mazima ddala n’addamu amaanyi mu by’omwoyo olw’okuweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwezi ogwo ogumu gwokka! Nnasalawo okweyongera okuweereza nga payoniya omuwagizi era nga kino kyansobozesa okuddamu okuweereza nga payoniya owa bulijjo.”
5. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ky’okwetya?
5 Okuvvuunuka Ebyo Ebitukugira: Abamu batya okukola nga bapayoniya abawagizi kubanga muli bawulira nga tebalina bumanyirivu mu kubuulira. Kino bwe kiba nga kye kikulemesa, Yakuwa asobola okukuyamba nga bwe yayamba Yeremiya. (Yer. 1:6-10) Wadde nga Musa yali ‘tayogera mangu, nga n’olulimi lwe luzito,’ Yakuwa yamukozesa okutuukiriza ebyo By’ayagala. (Kuv. 4:10-12) Bw’oba owulira nga weetya, saba Yakuwa akuwe obuvumu.
6. Oyinza otya okukola nga payoniya omuwagizi ne bwe kiba nti olina obunafu mu mubiri oba eby’okukola bingi?
6 Olonzalonza okukola nga payoniya omuwagizi olw’embeera y’obulamu bwo oba olw’okuba olina eby’okukola bingi? Bw’oba olina obunafu mu mubiri, okubuulira essaawa entonotono okusinziira ku busobozi bwo kiyinza okukusobozesa okukola nga payoniya omuwagizi. Bw’oba olina eby’okukola bingi, osobola okwerekereza ebintu ebimu ebitali bikulu nnyo n’obikola mu mwezi omulala. Abamu abalina omulimu ogw’ekiseera kyonna basobodde okukola nga bapayoniya abawagizi nga bakozesa ezimu ku nnaku zaabwe ez’okuwummula.—Kol. 4:5.
7. Lwaki kirungi okusaba Yakuwa bw’oba oyagala okukola nga payoniya omuwagizi?
7 Engeri y’Okukikolamu: Yakuwa mutegeeze nti oyagala okuweereza nga payoniya omuwagizi. Musabe awe omukisa enteekateeka zo ez’okugaziya ku buweereza bwo. (Bar. 12:11, 12) Asobola okukuyamba okusalawo n’amagezi ku ngeri y’okukolamu enkyukakyuka mu nteekateeka zo. (Yak. 1:5) Bw’oba owulira nga toyagala kukola nga payoniya omuwagizi, saba Yakuwa akuyambe okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira.—Luk. 10:1, 17.
8. Okussa mu nkola ebyo ebiri mu Engero 15:22 kiyinza kitya okukuyamba okukola nga payoniya omuwagizi?
8 Mukubaganye ebirowoozo ng’amaka ku kiruubirirwa eky’okukola nga payoniya omuwagizi. (Nge. 15:22) Oboolyawo muyinza okuwagira omu ku mmwe n’akola nga payoniya omuwagizi. Tegeezaako abalala mu kibiina ku kiruubirirwa kyo eky’okukola nga payoniya omuwagizi, naddala abo abali mu mbeera efaananako n’eyiyo. Kino kiyinza okuleetera n’abalala okwagala okukola nga bapayoniya abawagizi.
9. Myezi ki gy’oyinza okukoleramu nga payoniya omuwagizi?
9 Ddi lw’oyinza okukola nga payoniya omuwagizi mu mwaka gw’obuweereza omupya? Bw’oba olina omulimu ogw’ekiseera kyonna oba ng’osoma, oyinza okulowooza ku myezi omuli ennaku ez’okuwummula oba egyo egirina ennaku ettaano ez’Olwomukaaga oba eza Ssande. Ng’ekyokulabirako, Ssebutemba, Ddesemba, Maaki, ne Agusito girina wiikendi ttaano. Omwezi gwa Maayi gulimu ennaku z’Olwomukaaga ttaano, ate ogwa Jjuuni gulimu Ssande ttaano. Bwe kiba nti embeera y’obulamu bwo si nnungi, oyinza okulowooza ku myezi egirina obudde obulungi. Ate era oyinza okukola nga payoniya omuwagizi mu mwezi omulabirizi w’ekitundu mw’anaakyalira ekibiina kyammwe. Bw’anaaba akyalidde ekibiina kyammwe, ojja kuba n’enkizo endala ey’okubaawo mu kitundu ekisooka eky’olukuŋŋaana lwe ne bapayoniya aba bulijjo. Okuva bwe kiri nti Ekijjukizo kijja kubaawo nga Maaki 22 omwaka ogujja, Maaki, Apuli, ne Maayi gijja kuba myezi mirungi okukoleramu nga payoniya omuwagizi. Ng’omaze okusalawo ddi lw’onookola nga payoniya omuwagizi, tandika okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuukiriza essaawa ezeetaagisibwa.
10. Kiki ky’oyinza okukola bw’oba tosobola kukola nga bapayoniya omuwagizi?
10 Ne bwe kiba nti tosobola kukola nga payoniya omuwagizi mu mwaka gw’obuweereza ogujja, osobola okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Weeyongere okukola kyonna ky’osobola mu buweereza, ng’oli mukakafu nti Yakuwa asanyuka nnyo bw’omuweereza n’omutima gwo gwonna. (Bag. 6:4) Wagira abo abasobola okukola nga bapayoniya abawagizi era obazzeemu amaanyi. Oboolyawo oyinza okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zo ez’obuweereza n’osobola okufunayo olunaku olulala mu wiiki okubuulirako awamu ne bapayoniya.
11. Lwaki tusaanidde okumanya obukulu bw’ebiseera bye tulimu?
11 Ng’abantu ba Yakuwa, tumanyi obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Waliwo omulimu ogulina okukolebwa—okubuulira amawulire amalungi. Obulamu bw’abantu buli mu katyabaga, era nga n’ekiseera ekisigaddeyo kiyimpawadde. (1 Kol. 7:29-31) Okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri muliraanwa waffe kujja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola mu buweereza. Bwe tufuba era ne tukola enteekateeka ennungi, tuyinza okukola nga bapayoniya abawagizi waakiri omwezi gumu mu mwaka gw’obuweereza ogujja, era nga kino kiruubirirwa kirungi nnyo!