LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/03 lup. 3-4
  • Buulira era Owe Obujulirwa mu Bujjuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buulira era Owe Obujulirwa mu Bujjuvu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Mulangirire Wonna Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Ekiruubirirwa Ekirungi mu Mwaka gw’Obuweereza Omupya
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi?
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 2/03 lup. 3-4

Buulira era Owe Obujulirwa mu Bujjuvu

1 Nga “omukulembeze era omudduumizi,” Yesu yatendeka abagoberezi be mu mulimu ogw’amaanyi ennyo ogw’okubuulira mu biseera eby’omu maaso. (Is. 55:4; NW, Luk. 10:1-12; Bik. 1:8) Omutume Peetero yannyonnyola omulimu Yesu gwe yabawa mu bigambo bino: ‘Yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa nti oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w’omusango gw’abalamu n’abafu.’ (Bik. 10:42) Kiki ekizingirwa mu kuwa obujulirwa mu bujjuvu?

2 Tusobola okuyiga bingi nga twekenneenya ekyokulabirako ky’omutume Pawulo. Bwe yasisinkana abakadde b’omu kibiina ky’omu Efeso yabajjukiza: “Sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n’okubayigiririzanga mu maaso g’abantu ne mu buli nju, nga ntegeeza [“mpa obujulirwa mu bujjuvu,” NW] Abayudaaya era n’Abayonaani okwenenya eri Katonda n’okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.” Newakubadde nga yayolekagana n’okugezesebwa, Pawulo yafuba nnyo okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka amawulire amalungi. Teyali mumativu kubuulira abaali bamuwuliriza amazima agasookerwako gokka, naye yafuba okubabuulira “okuteesa kwa Katonda kwonna.” Okusobola okutuukiriza ekyo, yali mwetegefu okufuba ennyo era n’okubaako bye yeefiiriza. Ate yagamba: “Obulamu bwange si bulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n’okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu okutegeeza [“okubuulira mu bujjuvu,” NW] enjiri ey’ekisa kya Katonda.”​—Bik. 20:20, 21, 24, 27.

3 Tusobola tutya okukkopa ekyokulabirako kya Pawulo leero? (1 Kol. 11:1) Nga tunoonya abasaana ne bwe kiba nti twolekaganye n’embeera enzibu, nga tubuulira abantu aba buli bika n’ennimi amawulire amalungi, era nga tufuba okuyamba abo be tusanga abaagala okuyiga. (Mat. 10:12, 13) Kino kyetaagisa ebiseera, okufuba, n’okwagala abantu.

4 Osobola Okukola nga Payoniya Omuwagizi? Maaki ne Apuli gyandibadde myezi mirungi nnyo gy’oli okuwa obujulirwa mu bujjuvu ng’okola nga payoniya omuwagizi. Nga kyatuzzaamu nnyo amaanyi okulaba nti omwaka oguwedde bangi baafuba mu ngeri ey’enjawulo okukola nga bapayoniya abawagizi!

5 Mwannyinaffe ow’emyaka 80 eyali atawaanyizibwa obulwadde, yakwatibwako nnyo okukubirizibwa okwava eri entegeka ya Yakuwa. Yawandiika: “Kwakuma omuliro mu kwagala kwe nnalina mu mutima okumala ekiseera, era kwandeetera okwewulira nti nnali nteekwa okukola nga payoniya omuwagizi waakiri omulundi omulala gumu.” Yasalawo okutuukiriza ekiruubirirwa kye mu mwezi gwa Maaki. Yagamba: “Kye nnasooka okukola kwe kutuula wansi ne mbalirira ebizingirwamu. Nnayogerako ne muwala wange kubanga nnali nneetaaga obuyambi bwe. Yanneewuunyisa nnyo naye bwe yajjuzaamu foomu okukola nga payoniya omuwagizi.” Mu mwezi ogwo mwannyinaffe oyo nnamukadde yamala essaawa 52 mu buweereza. “Emirundi mingi nnasaba Yakuwa okunnyongera amaanyi buli lwe nnawuliranga nga gaweddemu. Ku nkomerero y’omwezi nnali musanyufu era mumativu, era nneebazizza Yakuwa emirundi mingi olw’okunnyamba. Nnandyagadde okuddamu okukola nga payoniya omuwagizi.” Ekyokulabirako kye ekirungi kiyinza okukubiriza abalala abaagala ennyo okukola nga bapayoniya abawagizi wadde nga batawaanyizibwa obulwadde.

6 Ow’oluganda eyawummuzibwa ku mulimu nga teyeeyagalidde, yeeyambisa embeera eyo okukola nga payoniya omuwagizi. Mu mwezi ogwo yabuulira n’obunyiikivu era ku nkomerero yaagwo, yali afunye omuyizi wa Baibuli omuppya. Bw’alowooza ku ekyo, agamba: “Ogwo nga gwali mwezi mulungi nnyo!” Nga yasanyuka nnyo okufuna obulagirizi n’obuyambi bwa Yakuwa! Yee, Yakuwa yawa emikisa okufuba ow’oluganda oyo kwe yateeka mu buweereza, era naawe ajja kukuwa emikisa.​—Mal. 3:10.

7 Eri ababuulizi bangi, si kyangu okukola nga payoniya omuwagizi. Wadde nga balina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe beetisse ku mirimu ne mu maka, era n’ebizibu ebitali bimu baganda baffe ne bannyinaffe bangi basobodde okukola nga bapayoniya abawagizi. Okuwa obujulirwa mu bujjuvu, emirundi mingi kuzingiramu okwefiiriza ebiseera byaffe, n’amaanyi, naye emikisa egivaamu tegyenkanika.​—Nge. 10:22.

8 Maaki ne Apuli myezi mirungi nnyo okukola nga payoniya omuwagizi. Omwezi gwa Maaki gulimu wiikendi ttaano. Okubuulira ku wiikendi ne mu biseera eby’olweggulo kuyinza okusobozesa abamu abakola ekiseera kyonna, okukola nga bapayoniya abawagizi. Okugatta ku ekyo, oyinza okukozesa ennaku ez’okuwummula eziri mu mwezi gwa Apuli. Abamu bayinza okweyambisa ennaku ez’oluwummula oba ezitali za kukola ne kibasobozesa okukola essaawa 50 ezeetaagibwa. Okusobola okutuukiriza essaawa 50 mu buweereza, mu mwezi gwa Maaki oba Apuli, oyinza okukozesa emu ku nteekateeka z’okukola nga payoniya omuwagizi eziteekeddwa mu kitundu kino? Kubaganya ebirowoozo n’abalala ku nteekateeka yo; awatali kubuusabuusa abamu bajja kukwegattako mu buweereza. Bw’oba tosobola kukola nga payoniya omuwagizi, teekawo ekiruubirirwa eky’enjawulo mu myezi gino, era kolako n’abo abakola nga bapayoniya. Kola entegeka kati ez’okubuulira ekisingawo mu Maaki ne Apuli.

9 Siima Ekijjukizo: Buli mwaka mu biseera by’Ekijjukizo, okusiima ekinunulo kuleetera enkumi n’enkumi ‘okwegulira ebiseera’ ne bakola nga bapayoniya abawagizi. (Bef. 5:15, 16) Mu ttabi lyaffe omwaka oguwedde, abaakola nga bapayoniya abawagizi mu Maaki baali 2,878 ate mu Apuli baali 2,180. Okutwalira awamu, abaakola nga bapayoniya abawagizi mu myezi gyombi baali 2,529. Abo bageraageranye ne 1,340 abaakola nga bapayoniya abawagizi buli mwezi mu myezi emirala egy’omwaka gw’obuweereza. Ekiseera kino eky’ekijjukizo, kituwa nate omukisa okulaga nti tusiima ekinunulo kya Kristo nga tukola ekisingawo mu buweereza bw’ennimiro.

10 Nga Apuli 16 lusembera, fumiitiriza ku ki Ekijjukizo kye kitegeeza gy’oli. Lowooza ku bintu ebyatuuka ku Yesu ng’anaatera okuttibwa era n’ebirowoozo eby’amaanyi ebyamuli ku mutima. Era lowooza ku ssanyu eryateekebwa mu maaso ga Yesu n’engeri gye lyamuyambamu okugumiikiriza okubonaabona. Lowooza ku kifo kye kati ng’Omutwe gw’ekibiina alabirira omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (1 Kol. 11:3; Beb. 12:2; Kub. 14:14-16) N’olwekyo laga okusiima kwo olw’ebyo byonna Kristo by’akoze nga weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira ng’embeera zo bwe zikusobozesa.

11 Kubiriza Abalala Okubuulira mu Bujjuvu: Bwe bakola nga bapayoniya abawagizi, abakadde n’abaweereza basobola bulungi okukubiriza abalala. Bwe baba bakolera awamu n’ababuulizi mu buweereza bw’ennimiro, oba nga bakyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi, baba n’omukisa okuyamba abalala okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogw’enjawulo. Ka fenna tukiteeke mu kusaba, bwe kityo tusobole okukolera awamu mu kuwa obujulirwa mu bujjuvu.

12 Wadde ng’abakadde bonna n’abaweereza bajja kuwagira nnyo enteekateeka z’ekibiina ez’okukola ekisingawo mu myezi gya Maaki ne Apuli, omulabirizi w’obuweereza, y’avunaanyizibwa okukola enteekateeka ez’okubuulira. Asaanidde okuteekateeka ebifo, ennaku, n’ebiseera by’enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro ebinaayanguyira ababuulizi abasinga obungi, era n’okukakasa nti birangibwa mu nkuŋŋaana z’obuweereza obutayosa. Entegeka ziyinza okukolebwa, enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro ne zibaawo mu ssaawa ez’enjawulo mu lunaku ne kisobozesa bonna mu kibiina okwenyigira mu kuwa obujulirwa mu ngeri ez’enjawulo. Zino ziyinza okuzingiramu ebitundu omukolebwa emirimu, okubuulira ku nguudo, nnyumba ku nnyumba, okuddiŋŋana n’okubuulira ng’okozesa essimu. Okugatta ku ekyo, alina okukakasa nti waliwo magazini n’ebitabo ebimala ssaako n’ekitundu eky’okubuuliramu mu myezi egyo.

13 Akatabo Okumanya ke kajja okugabibwa mu Maaki nga tulina ekiruubirirwa eky’okufuna abayizi ba Baibuli. Bye tuyinza okwogera nga tugaba akatabo ako, bisangibwa mu lupapula olw’omunda oluli mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002. Mu Apuli tujja kugaba magazini za Watchtower ne Awake! Gezaako okukozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu, “Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini.” Ffenna tusaanidde okutegeka obulungi okusobola okuwa obujulirwa mu bujjuvu.

14 Nga twesiimye okukolera wansi w’obulagirizi bw’Omutwe gw’ekibiina, Yesu Kristo, era n’okuba n’enkizo ey’okubuulira abalala amawulire amalungi! Ng’emyezi gya Apuli ne Maaki gisembera, ka tufube nate okukola ekisingiridde mu myezi egyo nga tugondera etteeka lya Kristo ery’okubuulira n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Engeri ez’Enjawulo ez’Okukola nga Payoniya Omuwagizi mu Maaki ne Apuli 2003

Olunaku Essaawa

Bbalaza 1 2 — — 2 —

Lwakubiri 1 — 3 — — —

Lwakusatu 1 2 — 5 — —

Lwakuna 1 — 3 — — —

Lwakutaano 1 2 — — — —

Lwamukaaga 5 4 3 5 6 7

Ssande 2 2 3 2 2 3

Maaki 56 56 54 55 50 50

Apuli 50 50 51 53 — —

Emu ku nteekateeka ezo eneeba nnungi gy’oli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share