LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/03 lup. 3-6
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • ‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Weeyongere Okubuulira Abalala Ebikolwa bya Yakuwa eby’Ekitalo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Tuyinza Okufuula Apuli 2000 Omwezi Gwaffe Ogukyasinzeeyo Okuba Omulungi?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 3/03 lup. 3-6

Nyiikira Okukola Ebirungi!

1 Nga tuyingira ekiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka 2003, tulina ensonga nnyingi ezituleetera ‘okunyiikira okukola ebirungi.’ (1 Peet. 3:13) Emu ku nsonga ezo esinga obukulu kye kinunulo kya Yesu Kristo. (Mat. 20:28; Yok. 3:16) Ku nsonga eyo, omutume Peetero yawandiika: “Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu . . . Wabula n’omusaayi ogw’omuwendo omungi, ng’ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo.” (1 Peet. 1:18, 19) Olw’okusiima ekikolwa ekyo ekyoleka okwagala okungi, tunyiikira okukola ebirungi, nga tukitegeera nti Yesu “yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.”​—Tit. 2:14; 2 Kol. 5:14, 15.

2 Bwe tukola ebisanyusa Katonda, tufuna enkolagana ennungi naye era ne tufuna obukuumi bwe. Peetero yeeyongera n’agamba: “[Oyo] ayagala okwegomba obulamu, n’okulaba ennaku ennungi, . . . yeewalenga obubi, akolenga obulungi; anoonyenga emirembe, agigobererenga. Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.” (1 Peet. 3:10-12) Mu biseera bino ebizibu, nga nkizo ya maanyi okumanya nti Yakuwa atutaddeko eriiso lye era nti mwetegefu okutuyamba ‘okutukuuma ng’emmunye y’eriiso lye.’​—Ma. 32:10; 2 Byom. 16:9.

3 Wadde nga bayolekagana n’ebigezo, Abakristaayo abaasooka Peetero be yawandiikira baalina ebbugumu n’obunyiikivu obw’amaanyi era baalangirira amawulire amalungi mu bifo bingi. (1 Peet. 1:6; 4:12) Bwe kityo bwe kiri eri abantu ba Katonda leero. Wadde tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku,’ okusiima obulungi bwa Yakuwa kutuleetera okunyiikira okukola by’ayagala. (2 Tim. 3:1; Zab. 145:7) Ka tulabe ebimu ku bikolwa ebirungi bye tunaakola mu kiseera ky’Ekijjukizo.

4 Yita Abalala Okujja ku Kijjukizo: Engeri emu mwe tuyinza okulagira okusiima kwaffe eri ekirabo eky’ekitalo eky’ekinunulo, kwe kubaawo ku kijjukizo ky’okufa kwa Yesu ekibaawo buli mwaka, era ng’omwaka guno kijja kubaawo ku Lwokusatu, Apuli 16, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. (Luk. 22:19, 20) Omwaka ogwayita, lipoota y’ebibiina 94,600 yalaga nti abantu bonna abaaliwo ku kijjukizo baali 15,597,746! Omuwendo ogwo gwasinza ogw’omwaka ogwayita abantu 220,000.

5 Bameka abanaabaawo omwaka guno? Ekyo kijja kwesigama ku kufuba kwaffe okuyita abantu okubaawo. Tandika ng’okola olukalala lw’abo b’oyagala okuyita. Abandisoose ku lukalala olwo be b’omu maka go. Munno bw’ataba mukkiriza, mulage nti oyagala nnyo abeerewo naawe ku mukolo. Omwami omu atali mukkiriza yagamba nti yaliwo ku Kijjukizo omwaka ogwayita kubanga yamanya nti okubeerawo kwe kwandisanyusizza nnyo mukyala we. Abalala b’oyinza okussa ku lukalala lwo be b’eŋŋanda, baliraanwa bo, b’okola nabo, oba b’osoma nabo. Kakasa nti oyita abayizi bo aba Baibuli.

6 Oluvannyuma lw’okukola olukalala lwo, tegekawo ebiseera okuyita buli omu ku bo. Kozesa obupapula obwaniriza abantu ku Kijjukizo. Wandiika ekifo n’ekiseera omukolo we gunaabeererawo wansi w’akapapula ako abantu basobole okubijjukira. Nga Apuli 16, lugenda lusembera, jjukiza abo abali ku lukalala lwo ng’obatuukirira ggwe kennyini oba ng’obakubira essimu. Ka tuyambe bangi nga bwe kisoboka okubaawo ku mukolo guno ogw’ekitiibwa ennyo.

7 Yamba Abo Abajja ku Kijjukizo: Ekiseera ekijjukizo we kibeererawo kiba kya ssanyu. Tuba n’omukisa okwaniriza abantu abatatera kubaawo mu nkuŋŋaana zaffe. Kola enteekateeka okujja amangu era osigalewo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana ng’embeera bw’eba ekusobozesezza. Fuba okumanya abappya abazze. Balage omukwano era bafeeko.​—Bar. 12:13.

8 Abamu abajja ku Kijjukizo bayinza okuyambibwa okukulaakulana mu by’omwoyo nga bayigirizibwa Baibuli? Fuba okufuna amannya n’endagiriro ey’abagenyi abazze kyokka nga tebalina abakyalira osobole okubakyalira. Bwe bayambibwa, abamu ku bano basobola okukulaakulana ne batuuka n’okufuuka ababuulizi abatali babatize ng’Ekijjukizo ky’omwaka ogujja tekinnatuuka. Ng’okyalira abazze ku Kijjukizo, bayite okubaawo ku mboozi ey’enjawulo eneebaawo nga Apuli 27.

9 Osobola Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Kiseera Kino eky’Ekijjukizo? Buli mwaka, olw’okwagala Yakuwa, tufuba nnyo mu buweereza mu myezi gino egy’enjawulo. Okufuba okwawamu okw’ekibiina kyonna okubuulira amawulire amalungi mu kiseera ky’Ekijjukizo kuyinza okuvaamu ebibala ebirungi.

10 Ekibiina ekimu ekirimu ababuulizi 107 ne bapayoniya aba bulijjo 9 kyagamba nti Apuli eyayita gwali “mwezi gwa njawulo,” kubanga ab’oluganda 53 baaweereza nga bapayoniya abawagizi, nga mw’otwalidde abakadde n’abaweereza bonna. Abakadde baasobola batya okukuma omuliro mu b’oluganda ne baweereza nga bapayoniya abawagizi omwezi ogwo? Baatandika nga bukyali okukubiriza ab’oluganda okuweereza nga bapayoniya. Enkuŋŋaana z’obuweereza zaategekebwa mu bifo eby’enjawulo mu lunaku okusobozesa bonna mu kibiina okwenyigira mu buweereza.

11 Abakadde bafundikira lipoota yaabwe nga bagamba: “Twafuna ekiseera eky’essanyu era tusiima nnyo enkizo ez’obuweereza n’emikisa Yakuwa gy’atuwadde kinnoomu.” Bwe mukola enteekateeka ennungi n’ekibiina kyammwe kiyinza okufuna emikisa ng’egyo.

12 Ababuulizi Mwenna Mufube Okwenyigira mu Buweereza: Okwagala kwe tulina eri Katonda ne muliraanwa kutukubiriza okugula ebiseera buli mwezi tusobole okubuulira abalala amawulire amalungi. (Mat. 22:37-39) Abalabirizi abakubiriza okusoma Ekitabo okw’Ekibiina n’ababeezi baabwe bandifubye okuyamba abali mu kibinja kyabwe okwenyigira mu buweereza buli mwezi. Engeri ennungi ey’okukola kino kwe kukola enteekateeka nga bukyali okubuulira n’ab’oluganda mu kibinja kyo. Mu kifo ky’okulinda enkomerero y’omwezi okukola ekyo, tandika nga bukyali. Kino kijja kukusobozesa okubayamba mu ngeri esingawo.

13 Mu kibinja kyammwe mulimu ababuulizi abalwadde oba abalina obunafu obulala obw’amaanyi abakisanga nga kizibu okwenyigira mu buweereza? Bwe kiba nti abamu tebasobola na kuva waka, mu butuufu baba tebayinza kubuulira kinene. Naye bwe bakozesa omukisa omutono gwe balina okuleka ekitangaala kyabwe okwaka, bayinza okusikiriza abo abalaba ebikolwa byabwe ebirungi eri amazima. (Mat. 5:16) Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okukakasa nti abalinga abo bakitegeera nti bayinza n’okuwaayo eddakiika 15 ze bakoze mu buweereza bw’ennimiro. Okuwaayo lipoota y’eddakiika ezo ze bamala nga bawa obujulirwa kizzaamu nnyo amaanyi ababuulizi ng’abo abeesigwa, era kibaleetera essanyu n’okumatira. Era kisobozesa ne lipoota ey’ensi yonna ey’omulimu gw’abantu ba Katonda okuba entuufu.

14 Abavubuka Abanyiikira Okukola Ebirungi! Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba abavubuka Abakristaayo nga bakozesa amaanyi gaabwe mu buweereza bwa Yakuwa! (Nge. 20:29) Bw’oba omuto, oyinza otya okulaga okwagala kw’olina eri Yakuwa mu myezi gino egy’enjawulo?

15 Bw’oba oli mubuulizi atannabatizibwa, oyinza okuluubirira okutuuka ku nkizo eyo? Weebuuze ebibuuzo bino ebiddirira: ‘Manyi amazima ga Baibuli agasookerwako? Njagala okwenyigira mu buweereza bw’Obwakabaka? Ntaddewo ekyokulabirako ekirungi mu mpisa? Nsobola okwoleka okukkiriza kwange nga ntegeeza abalala amawulire amalungi? Nkubirizibwa okuva mu mutima gwange okukola ekyo?’ Bw’oba osobola okuddamu nti yee mu bibuuzo ebyo, tegeeza bazadde bo nti oyagala okufuuka omubuulizi. Bazadde bo bayinza okutuukirira omu ku bakadde ali ku kakiiko k’ekibiina ak’obuweereza.

16 Bw’oba wafuuka dda omubuulizi w’amawulire amalungi, oyinza okukozesa oluwummula okugaziya ku buweereza bwo mu nnimiro? Nga bakola enteekateeka ennungi era nga bayambibwako bazadde baabwe n’abalala, abavubuka bangi ababatize basobodde okukola nga bapayoniya abawagizi. Ekyo bwe kiba nga tekisoboka, beera mumalirivu okwongera ku buweereza bwo mu nnimiro. Weeteerewo ekiruubirirwa. Ng’oggyeko ekiruubirirwa eky’okutuukiriza essaawa z’otegese okubuulira, weeteerewo ekiruubirirwa ekirala eky’okulongoosa mu buweereza bwo. Oboolyawo oyinza okukozesa ekyawandiikibwa mu nnyanjula, okukola okudiŋŋana, okufuna gw’oyigiriza Baibuli, oba okugaziya ku buweereza bwo osobole okwenyigira mu ngeri endala ez’obuweereza. Ate kiri kitya ku kiruubirirwa eky’okujja ne muliraanwa wo, gw’osoma naye oba ow’eŋŋanda ku Kijjukizo omwaka guno? Okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu ng’egyo kiganyula era kijja kuzzaamu amaanyi abalala mu kibiina.​—1 Bas. 5:11.

17 Yamba Abappya Okukulaakulana: Mu mwaka gw’obuweereza ogwayita, abantu abasukka mu 60,000 bayigirizibwa Baibuli buli mwezi mu Afirika ow’Ebuggwanjuba Oluvannyuma lw’ekiseera, bangi ku bayizi bano bajja kukulaakulana batuuke n’okwewaayo n’okubatizibwa. Kyokka, nga tebannatuuka ku kiruubirirwa ekyo, twetaaga okubayamba okufuna ebisanyizo by’okubeera ababuulizi b’amawulire amalungi. Lino ddaala kkulu mu kuyamba abappya okufuuka abagoberezi ba Yesu Kristo. (Mat. 9:9; Luk. 6:40) Olina omuyizi wa Baibuli omwetegefu okutuuka ku kiruubirirwa ekyo?

18 Bw’oba tomanyi bulungi obanga omuyizi wo akulaakulana, saba akubiriza okusoma ekitabo kw’ekibiina oba omulabirizi w’obuweereza okukuyamba. Oboolyawo oyinza okumuyita n’abeegattako ng’omuyigiriza. Olw’okuba ab’oluganda bano balina obumanyirivu bayinza okukuyamba okumanya obanga omuyizi wo akulaakulana mu by’omwoyo. Bayinza okuba n’ebirowoozo ebirungi ebiyinza okuyamba omuyizi wo okweyongera okulaakulana mu by’omwoyo.

19 Omuyizi wo bw’alaga nti ayagala okufuuka omubuulizi atali mubatize era nga naawe olaba nti alina ebisaanyizo, yogera n’omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde. Ajja kukola enteekateeka abakadde babiri bakusisinkane n’omuyizi wo balabe obanga alina ebisaanyizo, nga beeyambisa ebiri mu Our Ministry ku mpapula 98-9. (Laba The Watchtower aka November 15, 1988, olupapula 17.) Omuyizi bw’asembebwa okufuuka omubuulizi, tandikirawo okumutendeka. Bw’anaawaayo lipoota, ekibiina kijja kutegeezebwa nti omuyizi afuuse omubuulizi atali mubatize. Twagala enkumi n’enkumi z’ababuulizi abappya, abato n’abakulu, okutuuka ku ddaala lino ekkulu mu myezi gino egy’enjawulo.

20 Enteekateeka Ennungi Esobozesa Okukola Ekisingayo Obulungi: Okuteekateeka nga bukyali kijja kutusobozesa okukola obulungi mu kiseera kino eky’Ekijjukizo. (Nge. 21:5) Waliwo ensonga nnyingi ezeetaagisa okukolebwako abakadde.

21 Okuyamba ekibiina okukola ekisingawo mu buweereza bw’ennimiro, abakadde balina okuteekateeka enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro mu wiiki yonna ne ku wiikendi. Omulabirizi w’obuweereza yandiwomye omutwe mu kukola enteekateeka zino. Kisoboka enkuŋŋaana endala okubaawo ku makya, eggulo n’akawungeezi? Ekibiina kyanditegeezeddwa ku nteekateeka ezo. Kiba kirungi enteekateeka bwe zitimbibwa awatimbibwa amabaluwa.

22 Abakadde balina okukakasa nti enteekateeka z’Ekijjukizo zikolebwa nga bukyali, nga Apuli 16 lukyali wala. Ezo zitwaliramu okuteesa n’ebibiina ebirala ebikwatibwako ku nkozesa y’Ekizimbe ky’Obwakabaka, okukirongoosa, okulonda abaaniriza, abanaayisa obubonero era n’okufuna obubonero. Ekibiina kirina okutegeezebwa ekiseera n’ekifo Ekijjukizo we kinaabeera era n’enkyukakyuka zonna mu biseera by’enkuŋŋaana mu wiiki. Okukola ku bintu bino kijja kusobozesa omukolo ‘okutegekebwa obulungi.’​—1 Kol. 14:40.

23 Mu kusoma kwabwe okw’amaka, emitwe gy’amaka bayinza okukubaganya ebirowoozo ku ngeri ab’omu maka gaabwe gye bayinza okwongera ku buweereza bwabwe mu kiseera ky’Ekijjukizo. Ab’omu maka go bonna bayinza okukola nga bapayoniya abawagizi? Oba basobola okuwagira muntu omu oba n’okusingawo n’aweereza nga payoniya omuwagizi? Ekyo bwe kiba nga tekisoboka, musseewo ebiruubirirwa ng’amaka musobole okwongera ku kiseera kye mumala mu buweereza. Mu maka mulimu omuvubuka ayinza okuyambibwa okufuuka omubuulizi atali mubatize? Bameka be muyinza okuyita ku Kijjukizo omwaka guno? Enteekateeka ennungi ejja kuleetera amaka gammwe emikisa mingi n’essanyu.

24 Kozesa Bulungi Ekiseera Ekisigaddeyo: Mu kuwandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, omutume Peetero yabajjukiza obukulu bw’ekiseera kye baalimu kubanga enkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya yali esembedde. (1 Peet. 4:7) Leero obujulizi obuliwo bulaga nti enkomerero y’embeera z’ebintu eri kumpi. Engeri gye tweyisaamu buli lunaku yandibadde eraga nti tutegeera ensonga eyo. Ng’abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu, twandibadde twemalira ku mulimu omukulu ogw’okubuulira amawulire amalungi.​—Tit. 2:13, 14.

25 Kati kye kiseera okubeera abanyiikivu! Fumiitiriza ku ekyo Yakuwa ky’akukoledde, ky’akoledde amaka go era n’ekibiina. Wadde nga tetuyinza kumusasula olw’ebingi by’atukoledde, tuyinza okumusinza n’emmeeme yaffe yonna. (Zab. 116:12-14) Yakuwa ajja kutuwa emikisa olw’okufuba kwaffe. (Nge. 10:22) Ka fenna ‘tunyiikire okukola ebirungi’ mu kiseera kino eky’enjawulo eky’okukola ennyo, ‘Katonda alyoke agulumizibwe mu byonna okuyitira mu Yesu Kristo.’​—1 Peet. 3:13; 4:11.

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna

1999 14,088,751

2000 14,872,086

2001 15,374,986

2002 15,597,746

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Baani b’Onooyita ku Kijjukizo?

□ Ab’omu maka n’ab’eŋŋanda

□ Baliraanwa ne b’omanyi

□ B’okola nabo ne b’osoma nabo

□ B’odiŋŋana n’abayizi ba Baibuli

[Akasanduuko akali ku lupapula 5]

Yamba Abo Abajja ku Kijjukizo

□ Baanirize n’ebbugumu

□ Baddiŋŋane

□ Basabe okubayigiriza Baibuli

□ Bayite ku mboozi ey’enjawulo

[Akasanduuko akali ku lupapula 5]

Olina Biruubirirwa Ki mu Kiseera ky’Ekijjukizo?

□ Okulaba nti gw’oyise ajja ku Kijjukizo

□ Okufuuka omubuulizi w’amawulire amalungi

□ Okuwaayo essaawa eziwera mu nnimiro

□ Okulongoosaamu mu ngeri emu ey’obuweereza

□ Okuweereza nga payoniya omuwagizi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share